bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 2
Luke 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
1
Awo olwatuuka, mu nnaku ezo, Kayisaari Agusto n'afulumya ekirangiriro nti abantu bonna ab'omu matwale ge beewandiise, babalibwe.
2
Okwewandiisa kuno okubereberye, kwabaawo nga Kiriniyo ye afuga ekitundu eky'e Siriya.
3
Awo buli omu n'agenda okwewandiisa gy'asibuka.
4
Ne Yosefu n'ava mu kibuga Nazaareeti, eky'omu Galilaaya, n'agenda mu Buyudaaya, mu kibuga Dawudi kye yazaalibwamu, ekiyitibwa Betilehemu, kubanga Yosefu yali muzzukulu wa Dawudi.
5
Yagenda okwewandiisa awamu ne Mariya gwe yali ayogereza. Mariya yali lubuto,
6
era bwe baali bali eyo, ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka.
7
N'azaala omwana we omuggulanda, wa bulenzi, n'amubikka mu bugoye, n'amuzazika mu mmanvu ebisolo mwe biriira, kubanga mu nnyumba y'abagenyi tebaafunamu kifo.
8
Mu kitundu ky'ensi ekyo, mwalimu abasumba abaasulanga ku ttale, nga bakuuma amagana gaabwe ekiro, mu mpalo.
9
Awo malayika wa Mukama n'abalabikira, n'ekitiibwa kya Mukama ne kyakaayakana okubeetooloola. Ne batya nnyo!
10
Naye malayika n'abagamba nti: “Temutya, kubanga mbaleetera amawulire amalungi, ag'essanyu eringi eri abantu bonna.
11
Olwaleero, mu kibuga kya Dawudi, Omulokozi abazaaliddwa. Ye Kristo, Mukama.
12
Kano ke kabonero ke munaamutegeererako: mujja kusanga omwana omuwere abikkiddwa mu bugoye, ng'azazikiddwa mu mmanvu ebisolo mwe biriira.”
13
Amangwago awaali malayika oyo, ne wajjawo ne bamalayika abalala bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu. Ne batendereza Katonda nga bayimba nti:
14
“Ekitiibwa kibe eri Katonda mu ggulu! Ne ku nsi, emirembe gibe mu bantu Katonda b'asiima!”
15
Bamalayika bwe baamala okwawukana ku basumba, ne baddayo mu ggulu. Awo abasumba ne bagambagana nti: “Tugende e Betilehemu, tulabe ekintu kino ekibaddewo, Mukama ky'atutegeezezza.”
16
Ne bagendayo mangu, ne basanga Mariya ne Yosefu, n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu mmanvu ebisolo mwe biriira.
17
Bwe baamala okulaba omwana, ne bategeeza bonna ebyo ebyali bibabuuliddwa ku mwana oyo.
18
Bonna abaabiwulira ne beewuunya abasumba bye baayogera.
19
Naye Mariya ebigambo ebyo byonna n'abikuuma mu mutima gwe, era n'abirowoozangako nnyo.
20
Awo abasumba ne baddayo nga bagulumiza era nga batendereza Katonda, olw'ebyo bye bawulidde, ne bye balabye. Byonna byali ddala nga malayika bwe yali abibabuulidde.
21
Awo ennaku omunaana bwe zaatuuka omwana okukomolebwa, n'atuumibwa erinnya Yesu, malayika lye yayita omwana ono nga tannaba mu lubuto.
22
Awo Yosefu ne Mariya bwe baatuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwabwe, eziragirwa mu Mateeka ga Musa, ne batwala omwana Yesu e Yerusaalemu okumwanjula eri Mukama,
23
nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya Mukama nti: “Buli mwana ow'obulenzi omuggulanda, anaawongerwanga Mukama.”
24
Era baagenda okuwaayo eky'okutambira, ng'etteeka lya Mukama bwe liragira: enjiibwa bbiri oba amayiba amato abiri.
25
Mu Yerusaalemu mwalimu omuntu erinnya lye Simyoni. Yali muntu mulungi, ng'assaamu Katonda ekitiibwa, era ng'alindirira okununulwa kwa Yisirayeli. Era yali ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu.
26
Mwoyo Mutuukirivu yali amumanyisizza nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo wa Mukama.
27
Awo Simyoni n'ajja mu Ssinzizo, nga Mwoyo Mutuukirivu ye amugambye. Abazadde bwe baatuusa omwana Yesu mu Ssinzizo okutuukiriza etteeka,
28
Simyoni n'asitula omwana mu mikono gye, n'atendereza Katonda ng'agamba nti:
29
“Kaakano Mukama wange, kye wasuubiza okituukirizza. Leka omuddu wo ŋŋende mirembe,
30
kubanga amaaso gange galabye Omulokozi wo
31
gwe wategekera abantu bonna,
32
abe ekitangaala ekimulisa amawanga, era abe ekitiibwa ky'abantu bo, Abayisirayeli.”
33
Kitaawe ne nnyina w'omwana ne bawuniikirira olw'ebigambo ebimufaako, Simyoni bye yayogera.
34
Awo Simyoni n'abaagaliza emikisa, ate n'agamba Mariya, nnyina w'omwana nti: “Omwana ono ateekeddwawo, bangi mu Yisirayeli bagwe, ate bangi bayimuke. Era ajja kuba akabonero ke bajja okuwakanya,
35
bwe batyo balage ebirowoozo by'emitima gyabwe. Era naawe ennaku eri ng'ekitala ekyogi, erikufumita omutima.”
36
Era waaliwo omulanzi, omukazi erinnya lye Anna, muwala wa Fanuweli, ow'omu Kika kya Aseeri. Yali mukazi mukadde. Yafumbirwa nga muwala muto, n'amala emyaka musanvu mu bufumbo.
37
Okuva olwo yali yaakamala emyaka kinaana mu ena nga nnamwandu. Teyavanga mu Ssinzizo. Emisana n'ekiro yabeeranga mu kuweereza Katonda na mu kumwegayirira, era ng'asiiba.
38
Awo n'atuuka mu kiseera ekyo kyennyini, n'atendereza Katonda. Era abo bonna abaali balindirira okununulwa kwa Yerusaalemu, n'ababuulira ebifa ku mwana ono.
39
Bwe baamala okutuukiriza byonna ebiragirwa mu tteeka lya Mukama, ne baddayo e Galilaaya mu kibuga ky'ewaabwe, e Nazaareeti.
40
Awo omwana ne yeeyongera okukula, n'aba wa maanyi, ng'ajjudde amagezi n'emikisa gya Katonda.
41
Abazadde ba Yesu baagendanga buli mwaka e Yerusaalemu, ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
42
Yesu bwe yaweza emyaka ekkumi n'ebiri, ne bambuka e Yerusaalemu nga bwe baakolanga mu kiseera eky'Embaga.
43
Bwe baali baddayo ewaabwe, ng'ennaku ez'Embaga ziweddeko, omwana Yesu n'asigala mu Yerusaalemu, bazadde be nga tebategedde.
44
Bwe baamala okutambula olugendo lwa lunaku lulamba, nga balowooza nti ali mu kibiina ky'abantu be baali batambula nabo, olwo ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe.
45
Bwe bataamuzuula, ne baddayo e Yerusaalemu nga bamunoonya.
46
Waayitawo ennaku ssatu, ne bamuzuula mu Ssinzizo, ng'atudde n'abayigiriza, ng'abawuliriza era ng'ababuuza ebibuuzo.
47
Bonna abaamuwuliriza, beewuunya olw'amagezi ge n'okuddamu kwe.
48
Bazadde be bwe baamulaba, ne bawuniikirira. Nnyina n'amugamba nti: “Mwana wange, lwaki otukoze bw'oti? Kitaawo nange tubadde tukunoonya nga tweraliikirira.”
49
Ye n'abagamba nti: “Lwaki mubadde munnoonya? Temumanyi nti nteekwa okukola ku bya Kitange?”
50
Naye bo ne batategeera ky'abagambye.
51
Awo n'aserengeta nabo e Nazaareeti, era n'abawuliranga. Nnyina n'akuumanga bino byonna mu mutima gwe.
52
Awo Yesu ne yeeyongera okukula, era ne yeeyongera mu magezi n'okusiimibwa Katonda n'abantu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24