bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 21
Luke 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
1
Awo Yesu n'ayimusa amaaso n'alaba abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu kifo omuteekebwa ebirabo mu Ssinzizo.
2
N'alaba ne nnamwandu omwavu lunkupe ng'ateekamu bussente bubiri, obusembayo okuba obw'omuwendo omutono ddala.
3
N'agamba nti: “Mazima mbagamba nti nnamwandu ono omwavu ataddemu kinene nnyo okusinga abalala bonna,
4
kubanga bo abalala bonna batodde ku bingi bye balina ne bateeka mu birabo, kyokka ono omwavu ataddemu kyonna ky'abadde alina ekibadde eky'okuyamba obulamu bwe.”
5
Awo abamu bwe baali boogera ku Ssinzizo nga bwe lyazimbibwa n'amayinja amalungi, era nga bwe lyatimbibwa n'ebirabo ebirirabisa obulungi, Yesu n'agamba nti:
6
“Bino bye mulaba, ekiseera kirituuka, lwe wataliba jjinja na limu lirisigala nga lizimbiddwa ku linnaalyo. Gonna gagenda kusuulibwa wansi.”
7
Awo ne babuuza Yesu nti: “Muyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga nti binaatera okubaawo?”
8
Yesu n'agamba nti: “Mwerinde muleme kubuzibwabuzibwa; kubanga bangi balijja nga beeyita nze, era nga bagamba nti: ‘Ekiseera ekirindirirwa kituuse.’ Temubagobereranga.
9
Bwe muwuliranga entalo n'obwegugungo, temutyanga. Ebyo biteekwa okusooka okubaawo, naye enkomerero terituuka mangwago.”
10
Olwo n'agamba nti: “Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala.
11
Walibaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, n'enjala ne kawumpuli mu bitundu bingi. Era walibaawo eby'entiisa n'ebyamagero ennyo ebiriva mu ggulu.
12
Naye byonna nga tebinnabaawo, balibakwata, balibayigganya, ne babawaayo okuwozesebwa mu makuŋŋaaniro, n'okusibibwa mu makomera. Mulitwalibwa mu maaso ga bakabaka n'ag'abaami olw'erinnya lyange.
13
Kino kiribaviiramu okutuusa ku bantu Amawulire Amalungi.
14
Kale mumalirire obuteeraliikirira kya kuwoza.
15
Nze ndibawa ebigambo n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakanya wadde okugaana.
16
Muliweebwayo bazadde bammwe ne baganda bammwe, n'ab'ekika kyammwe, ne mikwano gyammwe. Era abamu ku mmwe balittibwa.
17
Abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange.
18
Naye newaakubadde olumu ku nviiri zammwe terulizikirira.
19
Olw'okugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu.
20
“Bwe muliraba Yerusaalemu nga kyetooloddwa eggye, olwo nga mumanya nti okuzikirira kwakyo kuli kumpi.
21
Olwo abo abaliba mu Buyudaaya, baddukiranga mu bitundu eby'ensozi, abo abalikibaamu bakivangamu, era abo abaliba mu byalo tebakiyingirangamu.
22
Ennaku ezo za kuwoolera ggwanga, okutuukiriza byonna ebyawandiikibwa.
23
Abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo, nga balibonaabona nnyo! Walibaawo okubonaabona kungi mu ggwanga, n'obusungu bwa Katonda ku bantu b'eggwanga lino.
24
Balittibwa n'ebitala ebyogi, balitwalibwa mu mawanga gonna nga basibe, era Yerusaalemu kiririnnyirirwa ab'amawanga amalala, okutuusa ebiseera by'amawanga amalala lwe biriggwaako.
25
“Walibaawo ebyamagero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye. Ku nsi amawanga galyeraliikirira nga gatya olw'okuwuuma kw'ennyanja n'okw'amayengo.
26
Abantu balizirika olw'entiisa n'olw'okweraliikirira ebigenda okubaawo ku nsi, kubanga eby'amaanyi mu bwengula bw'ebbanga birinyeenyezebwa.
27
Olwo ne balaba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu kire, ng'alina obuyinza bungi n'ekitiibwa kinene.
28
Naye ebyo bwe biritandika okubaawo, musituke era muyimuse emitwe gyammwe, kubanga okununulwa kwammwe kuli kumpi.”
29
Awo Yesu n'abagerera olugero nti: “Mulabire ku muti omutiini, oba ku muti omulala gwonna.
30
Bwe mulaba nga gutandise okuddako ebikoola, mumanya nti obudde obw'ekyeya buli kumpi.
31
Mu ngeri y'emu, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo, mumanyanga nti Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi.
32
Mazima mbagamba nti ebintu bino byonna bigenda kubaawo ng'abantu ab'omulembe guno tebannafa kuggwaawo.
33
Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
34
“Mwekuume, emitima gyammwe gireme okwemaliranga mu buluvu, ne mu kutamiira, ne mu kweraliikirira eby'obulamu buno, sikulwa ng'olunaku luli lubatuukako nga temwetegese,
35
kubanga lulituuka ku bantu bonna abali ku nsi, ng'omutego bwe gukwasa ekintu.
36
Kale nno mutunule nga mwegayirira Katonda ekiseera kyonna, mulyoke musobole okuyita mu ebyo byonna ebijja okubaawo, era musobole okulabika mu maaso g'Omwana w'Omuntu.”
37
Emisana Yesu yabeeranga mu Ssinzizo ng'ayigiriza, obudde bwe bwazibanga n'afuluma, n'amala ekiro ku Lusozi oluyitibwa olw'Emiti Emizayiti.
38
Abantu bonna baakeeranga ku makya ne bagenda gy'ali mu Ssinzizo okumuwuliriza.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24