bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 9
Luke 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
1
Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ne bakuŋŋaanira w'ali, n'abawa amaanyi n'obuyinza okugoba emyoyo emibi gyonna ku bantu n'okuwonya endwadde.
2
N'abatuma bagende bategeeze abantu ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, era bawonye abalwadde.
3
N'abagamba nti: “Mu lugendo luno, temugenda na kantu konna, newaakubadde omuggo, newaakubadde ensawo ng'ez'abasabiriza, newaakubadde emmere, wadde ensimbi, era temuba na kkanzu yaakubiri.
4
Ennyumba gye muyingiramu ne babaaniriza, mwe mubanga musula okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo.
5
Mu kibuga gye bagaana okubaaniriza, muveeyo era bwe muba nga muvaayo, mwekunkumuleko n'enfuufu eba ebakutte ku bigere, olw'okulabula abantu abo.”
6
Awo abayigirizwa ne bagenda, ne batambula wonna wonna mu byalo, nga bategeeza abantu Amawulire Amalungi era nga bawonya abalwadde buli wantu.
7
Awo Herode, omufuzi wa Galilaaya, n'awulira byonna ebyaliwo, n'asoberwa nnyo, kubanga abantu abamu baagambanga nti: “Yowanne Omubatiza azuukidde!”
8
Abalala nga bagamba nti: “Eliya alabise”, n'abalala nti: “Omu ku balanzi ab'edda azuukidde.”
9
Herode n'agamba nti: “Yowanne nze nalagira n'atemwako omutwe, ate oyo ani gwe mpulirako ebyenkana awo?” N'agezaako okumulaba.
10
Abatume ne bakomawo, ne bategeeza Yesu byonna bye baakola. N'abatwala, ne bagenda naye bokka mu kibuga ekiyitibwa Betusayida.
11
Abantu bangi nnyo bwe baakimanya, ne bamugoberera. Bwe yamala okubaaniriza, n'ababuulira ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, era n'awonya abaali beetaaga okuwonyezebwa.
12
Obudde bwe bwali butandika okuwungeera, abayigirizwa ekkumi n'ababiri ne batuukirira Yesu, ne bamugamba nti: “Abantu basiibule bagende mu bubuga ne mu byalo ebiriraanye wano, bafune emmere ne we banaasula, kubanga wano tuli mu kifo kya ddungu.”
13
Kyokka Yesu n'abagamba nti: “Mmwe muba mubawa emmere balye.” Ne baddamu nti: “Tulinawo emigaati etaano gyokka, n'ebyennyanja bibiri. Mpozzi okuggyako nga tugenda ne tugulira abantu bano bonna emmere!”
14
Abasajja baali bawera ng'enkumi ttaano. Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mubatuuze mu bibinja nga buli kimu kirimu ng'amakumi ataano.”
15
Ne bakola bwe batyo, bonna ne babatuuza.
16
Yesu n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso ge eri eggulu, ne yeebaza Katonda, n'abimenyaamenyamu, n'abiwa abayigirizwa be babigabire abantu.
17
Bonna ne balya ne bakkuta. Obutundutundu obwalemerawo, ne bukuŋŋaanyizibwa, ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri.
18
Lwali lumu, Yesu yali asinza Katonda, nga n'abayigirizwa be weebali, n'ababuuza nti: “Abantu bwe baba banjogerako bampita ani?”
19
Ne baddamu nti: “Abamu bakuyita Yowanne Omubatiza, abalala Eliya, n'abalala bagamba nti omu ku balanzi ab'edda azuukidde.”
20
Awo Yesu n'ababuuza nti: “Naye mmwe, mumpita ani?” Peetero n'addamu nti: “Ggwe Kristo wa Katonda.”
21
Awo Yesu n'abakuutira nnyo ekyo obutakibuulirako muntu n'omu.
22
Era n'agamba nti: “Omwana w'Omuntu ateekwa okubonaabona ennyo, n'okwegaanibwa abantu abakulu mu ggwanga ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'okuttibwa, era n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.”
23
Awo n'agamba bonna nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yeetikka omusaalaba gwe buli lunaku, n'angoberera.
24
Buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Wabula buli afiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola.
25
Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate ne yeezikiriza, oba ne yeeretera okufiirwa obulamu bwe?
26
“Buli muntu akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi, n'Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne mu kitiibwa kya Kitaawe, ne mu kya bamalayika abatukuvu.
27
Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba Obwakabaka bwa Katonda.”
28
Bwe waayitawo ennaku nga munaana nga Yesu amaze okwogera ebyo, n'atwala Peetero ne Yowanne ne Yakobo, n'alinnya ku lusozi okusinza Katonda.
29
Bwe yali ng'akyasinza, endabika y'amaaso ge n'efuuka, era ebyambalo bye ne bitukula, ne byakaayakana.
30
Awo abasajja babiri, Musa ne Eliya, ne balabika nga boogera naye.
31
Baalabikira mu kitiibwa, era ne boogera ku ngeri y'okufa kwe, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemu.
32
Peetero ne banne be yali nabo, baali bakwatiddwa otulo, kyokka bwe baazuukuka, ne balaba ekitiibwa kya Yesu, n'abasajja ababiri abaali bayimiridde naye.
33
Abasajja bano bwe baali bava awali Yesu, Peetero n'amugamba nti: “Mukama waffe, kirungi tubeere wano. Leka tuzimbewo ensiisira ssatu, emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.” Yali tamanyi ky'agamba.
34
Bwe yali ng'akyayogera ebyo, ekire ne kijja ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo, awo abayigirizwa ne batya nga kibabikka.
35
Eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange, Omulonde wange, mumuwulirize.”
36
Eddoboozi bwe lyamala okwogera, abayigirizwa ne balaba Yesu ng'asigaddewo yekka. Kye baalaba ne bakisirikira, ne batakibuulirako muntu mulala mu nnaku ezo.
37
Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'abayigirizwa be abasatu bwe baava ku lusozi, ekibiina ky'abantu kinene ne kijja okusisinkana Yesu.
38
Awo omusajja eyali mu kibiina ky'abantu n'aleekaana nti: “Muyigiriza, nkwegayiridde, kwatirwa mutabani wange ekisa, ye mwana wange yekka!
39
Omwoyo omubi gumukwata, amangwago n'awowoggana, ne gumujugumiza, n'abimba ejjovu, era okumuvaako, gumala kumumaliramu ddala maanyi.
40
Neegayiridde abayigirizwa bo okugumugobako, ne balemwa.”
41
Yesu n'addamu nti: “Bantu mmwe ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza era omubi, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza?” Awo n'agamba kitaawe w'omulenzi nti: “Mutabani wo muleete wano.”
42
Omulenzi bwe yali ng'ajja, omwoyo omubi ne gumukuba ekigwo, era ne gumujugumiza. Yesu n'aguboggolera, n'awonya omulenzi era n'amuddiza kitaawe.
43
Bonna ne bawuniikirira olw'obuyinza bwa Katonda. Abantu baali bakyewuunya byonna Yesu by'akoze, ye n'agamba abayigirizwa be nti:
44
“Muwulirize n'obwegendereza ebigambo byange bino: Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu.”
45
Kyokka bo ne batategeera ky'agambye. Kyali kibakwekeddwa baleme kukitegeera, ate ne batya okumubuuza amakulu gaakyo.
46
Awo abayigirizwa ne bawakana nga beebuuzaganya nti ani asinga okuba oweekitiibwa mu bo.
47
Yesu n'amanya kye balowooza, n'aleeta omwana omuto, n'amuyimiriza kumpi naye.
48
N'abagamba nti: “Buli ayaniriza omwana ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze. Ate buli annyaniriza, aba ayanirizza Katonda eyantuma, kubanga oyo asinga okuba omwetoowaze mu mmwe mwenna, ye asinga okuba oweekitiibwa.”
49
Yowanne n'agamba nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi ku bantu ng'akozesa erinnya lyo, ffe ne tumuziyiza, kubanga takugoberera wamu naffe.”
50
Yesu n'amugamba nti: “Temumuziyiza, kubanga atabalwanyisa taba mulabe wammwe.”
51
Awo olwatuuka, ennaku za Yesu ez'okutwalibwa mu ggulu bwe zaali nga ziri kumpi okutuuka, n'amalirira okugenda e Yerusaalemu.
52
N'atuma ababaka bamukulemberemu, ne bagenda ne bayingira mu kabuga k'Abasamariya akamu, okumutegekera byonna.
53
Kyokka abantu baayo ne bagaana okumwaniriza, kubanga yali alabikira ddala nti agenda Yerusaalemu.
54
Abayigirizwa be, Yakobo ne Yowanne, bwe baalaba ekyo, ne bagamba nti: “Mukama waffe, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize?”
55
Yesu n'abakyukira n'abanenya.
56
Awo ne bagenda mu kabuga akalala.
57
Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali nga batambula, omuntu omu n'agamba Yesu nti: “Nnaayitanga naawe gy'onoogendanga yonna.”
58
Yesu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya, n'ebinyonyi birina ebisu, naye Omwana w'Omuntu talina w'assa mutwe.”
59
Ate n'agamba omulala nti: “Yitanga nange.” Kyokka oyo n'addamu nti: “Ssebo, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.”
60
Yesu n'amugamba nti: “Leka abo abali ng'abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda otegeeze abantu ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda.”
61
Omuntu omulala n'agamba nti: “Ssebo, nja kuyitanga naawe, naye nzikiriza mmale okusiibula ab'ewaffe.”
62
Yesu n'amugamba nti: “Buli akwata enkumbi okulima ate n'aba ng'akyatunula emabega, tayinza kuba wa mugaso mu Bwakabaka bwa Katonda.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24