bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 10
Luke 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
1
Ebyo bwe byaggwa, Mukama waffe n'alonda abalala nsanvu mu babiri, n'abatuma babiri babiri okumukulemberamu mu buli kibuga ne mu buli kifo ye yennyini gye yali anaatera okugenda.
2
N'abagamba nti: “Eby'okukungula bingi, naye abakozi batono. Kale musabe nnannyini byakukungula, asindike abakozi mu nnimiro ye.
3
Mugende. Mbatuma nga muli ng'endiga ento mu misege.
4
Temugenda na nsawo eterekebwamu nsimbi, newaakubadde ensawo ng'ey'abasabiriza, newaakubadde engatto. Era temulwa mu kkubo nga mulamusa abantu.
5
Buli nnyumba gye muyingirangamu, musookenga kugamba nti: ‘Emirembe gibe n'abantu b'omu nnyumba eno.’
6
Singa eribaamu omuntu asaanira okufuna emirembe, emirembe gye mubaagalizza girisigala naye. Bw'atalibaamu, giridda gye muli.
7
Mu nnyumba eyo, mwe mubanga musula. Mulyenga era munywenga bye babawa, kubanga omukozi asaanira empeera ye. Temukyusanga kisulo.
8
Bwe muyingiranga mu kibuga ne babaaniriza, mulyenga emmere gye babawa.
9
Muwonyanga abalwadde abali mu kibuga ekyo, era mugambanga abantu baamu nti: ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’
10
Naye bwe muyingiranga mu kibuga ne batabaaniriza, muyimiriranga mu nguudo zaakyo ne mugamba nti:
11
‘N'enfuufu ey'omu kibuga kyammwe etukutte ku bigere, tugibakunkumulira mmwe. Naye mumanye kino nti Obwakabaka bwa Katonda busembedde.’
12
Mbagamba mmwe nti: ku lunaku olw'okusalirwako emisango, Sodoma kiriddirwamu okusinga ekibuga ekyo.
13
“Oli wa kubonaabona ggwe Koraziini! Ennaku za kukulaba ggwe Betusayida! Ebyamagero ebyakolerwa mu mmwe singa byali bikoleddwa mu Tiiro ne mu Sidoni, abantu baayo bandibadde baayambala dda ebikutiya, ne beesiiga n'evvu, okulaga nti beenenyezza. Zek 9:2-4
14
Ku lunaku olw'okusalirwako emisango, Tiiro ne Sidoni biribonerezebwa katono okusinga mmwe.
15
Ate ggwe Kafarunawumu, oligulumira okutuuka mu bire? Nedda, ogenda kussibwa wansi emagombe.
16
“Awulira mmwe, ng'awulidde nze. Era anyooma mmwe, ng'anyoomye nze. Ate anyooma nze, ng'anyoomye oyo eyantuma.”
17
Awo abayigirizwa ensanvu mu ababiri ne bakomawo nga basanyuka, ne bagamba nti: “Mukama waffe, n'emyoyo emibi gyatuwuliranga nga tukozesezza erinnya lyo.”
18
Yesu n'abagamba nti: “Nalaba Sitaani bw'agwa, ng'ali ng'okumyansa okuva mu ggulu.
19
Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ez'obusagwa, era mbawadde okuwangula amaanyi gonna ag'omulabe. Tewali kintu na kimu kiribakolako kabi.
20
Naye muleme kusanyuka lwa kuba nti emyoyo emibi gibawulira, wabula musanyuke kubanga amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”
21
Mu kiseera ekyo kyennyini, Mwoyo Mutuukirivu n'ajjuza Yesu essanyu, Yesu n'agamba nti: “Nkutendereza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abategeera, n'obimanyisa abaana abato. Weewaawo Kitange, kubanga bw'otyo bwe wayagala.
22
“Kitange byonna yabimpa. Ate nze Mwana tewali ammanyi okuggyako Kitange. Era tewali amanyi Kitange okuggyako nze Mwana, n'oyo gwe mba njagadde amanye Kitange.”
23
Awo Yesu bwe yasigala n'abayigirizwa be bokka, n'abakyukira n'agamba nti: “Muli ba mukisa okulaba bino bye mulaba!
24
Mbagamba nti abalanzi bangi ne bakabaka beegomba okulaba bye mulaba, ne batabiraba. n'okuwulira bye muwulira, ne batabiwulira.”
25
Awo omunnyonnyozi w'amateeka n'asituka, n'agamba Yesu, ng'amukema, nti: “Muyigiriza, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?”
26
Yesu n'amugamba nti: “Kiki ekyawandiikibwa mu mateeka ga Katonda? Osoma otya?”
27
N'addamu nti: “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna. Era yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini.”
28
Yesu n'amugamba nti: “Ozzeemu bulungi. Kolanga bw'otyo, olifuna obulamu.”
29
Kyokka omunnyonnyozi w'amateeka olw'okwagala okulaga nti ky'abuuzizza kisaanidde, n'agamba Yesu nti: “Muntu munnange oyo, ye ani?”
30
Yesu n'addamu nti: “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemu, ng'aserengeta e Yeriko, n'agwa mu batemu, ne bamwambulamu engoye, ne bamukuba, ne bamuleka ng'abulako katono okufa, ne bagenda.
31
Ne wabaawo kabona, era naye eyaserengeta mu kkubo eryo, n'amulaba, n'amwebalama, n'ayitawo.
32
N'Omuleevi yakola bw'atyo. Bwe yatuuka mu kifo ekyo n'amulaba, n'amwebalama, n'ayitawo.
33
Naye Omusamariya eyali ku lugendo lwe, n'atuuka w'ali. Bwe yamulaba, n'amukwatirwa ekisa,
34
n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu, ng'amaze okubifukamu omuzigo n'omwenge ogw'emizabbibu, n'amussa ku nsolo ye eyeebagalwa, n'amutwala mu nnyumba y'abagenyi, n'amujjanjaba.
35
Ku lunaku olwaddirira, n'aggyayo denaari bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba, n'amugamba nti: ‘Mujjanjabe. Ssente zonna z'olikozesa nga zisukka ku zino, ndizikusasula amadda.’
36
“Ani ku abo abasatu, gw'olowooza nti ye yali munne w'oyo eyagwa mu batemu?”
37
Omunnyonnyozi w'amateeka n'addamu nti: “Oyo eyamukwatirwa ekisa.” Awo Yesu n'amugamba nti: “Naawe genda okolenga bw'otyo.”
38
Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali mu lugendo lwabwe, Yesu n'atuuka mu kyalo ekimu. Omukazi erinnya lye Marita n'amukyaza mu nnyumba ye.
39
Marita yalina muganda we ayitibwa Mariya. Mariya oyo n'atuula kumpi n'ebigere bya Mukama waffe, ng'awuliriza ekigambo kye.
40
Marita yali atawuka mu mirimu mingi, ng'aweereza. Marita n'agenda awali Yesu n'agamba nti: “Mukama wange, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? Kale mugambeko annyambe.”
41
Mukama waffe n'amuddamu nti: “Marita, Marita, weeraliikirira era otawaana mu bingi,
42
naye ekyetaagibwa kiri kimu. Mariya nno ye alonze omugabo omulungi ogutalimuggyibwako.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24