bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 7
Luke 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
1
Yesu bwe yamaliriza ebigambo byonna bye yayagala okutegeeza abamuwuliriza, n'ayingira mu kibuga Kafarunawumu.
2
Waaliwo Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale, eyalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo. Omuddu oyo yali mulwadde, ng'ali kumpi okufa.
3
Omukulu w'ekitongole ky'abaserikale bwe yawulira ebifa ku Yesu, n'amutumira abamu ku Bayudaaya abakulu, ng'amusaba ajje awonye omuddu we.
4
Nabo bwe baatuuka awali Yesu, ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti: “Omusajja oyo asaanira omukolere ky'akusaba,
5
kubanga ayagala abantu b'eggwanga lyaffe, era yatuzimbira ekkuŋŋaaniro.”
6
Awo Yesu n'agenda nabo. Bwe yali ng'ali kumpi okutuuka ku nnyumba, omukulu w'ekitongole oyo n'atuma banne okumugamba nti: “Ssebo, leka kweteganya, kubanga sisaanira ggwe okuyingira mu nnyumba yange,
7
era kye navudde ndowooza nti sisaanira kujja gy'oli nze nzennyini. Wabula yogera bwogezi kigambo, omuddu wange anaawona.
8
Nange ndi muntu alina bakama bange abanfuga, era nga nnina abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba ono nti: ‘Genda,’ agenda; n'omulala nti: ‘Jjangu,’ ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kola kino,’ akikola.”
9
Yesu bwe yawulira ebyo, n'amwewuunya. N'akyukira ekibiina ky'abantu ekyali kimugoberera, n'agamba nti: “Mbagamba nti sisanganga alina kukkiriza nga kuno, wadde mu Bayisirayeli!”
10
Abaali batumiddwa bwe batuuka mu maka ge, ne basanga ng'omuddu we awonye.
11
Awo olwatuuka, nga wayiseewo ekiseera kitono, Yesu n'alaga mu kibuga ekiyitibwa Nayini, abayigirizwa be n'abantu abalala bangi ne bagenda naye.
12
Bwe yali ng'atuuka ku mulyango gw'ekibuga, ne wavaayo abantu abaali bafulumya omulambo gw'omuvubuka, eyali omwana omu yekka ow'omukazi nnamwandu. Abantu bangi nnyo ab'omu kibuga baali ne nnamwandu oyo.
13
Mukama waffe bwe yamulaba, n'amukwatirwa ekisa, n'amugamba nti: “Tokaaba.”
14
Olwo n'asembera n'akwata ku katanda akasituliddwako omulambo. Abaali bagusitudde ne bayimirira. Yesu n'agamba nti: “Omuvubuka, nkulagira, golokoka.”
15
Eyali afudde n'atuula, n'atandika okwogera. Yesu n'amuddiza nnyina.
16
Bonna ne bakwatibwa entiisa era ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: “Omulanzi omukulu alabise mu ffe, era Katonda azze okulokola abantu be.”
17
Awo ettutumu lya Yesu ne libuna mu Buyudaaya bwonna ne mu kitundu ekiriraanyeewo.
18
Awo abayigirizwa ba Yowanne ne bamubuulira ebyo byonna. Yowanne n'ayita babiri ku bo,
19
n'abatuma eri Mukama waffe, okumubuuza nti: “Ggwe wuuyo gwe tulindirira okujja, oba tulindirire mulala?”
20
Abasajja abo bwe baatuuka awali Yesu, ne bagamba nti: “Yowanne Omubatiza atutumye gy'oli ng'abuuza nti: ‘Ggwe wuuyo gwe tulindirira okujja, oba tulindirire mulala?’ ”
21
Mu kiseera ekyo kyennyini, Yesu n'awonya bangi endwadde n'okulumizibwa okwa buli ngeri, n'emyoyo emibi, era n'azibula amaaso ga bamuzibe bangi.
22
Awo n'addamu ababaka ba Yowanne nti: “Mugende mutegeeze Yowanne bye mulabye ne bye muwulidde: ababadde bamuzibe balaba; ababadde abalema, batambula; abagenge bawonyezebwa, ababadde bakiggala bawulira; abafu bazuukira, abaavu bategeezebwa Amawulire Amalungi.
23
Wa mukisa oyo atambuusabuusaamu.”
24
Ababaka ba Yowanne bwe bavaawo, Yesu n'atandika okutegeeza ekibiina ky'abantu ebifa ku Yowanne nti: “Bwe mwagenda eri Yowanne mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa empewo?
25
Kale mwagenda kulaba ki? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Abo abambala engoye ez'omuwendo era ababa mu bulamu obw'okwejalabya basangibwa mu mbiri za bakabaka.
26
Kale mwagenda kulaba ki? Mulanzi? Ddala mbagamba nti asinga n'omulanzi.
27
Yowanne oyo, ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Laba, ntuma omubaka wange akukulembere, ng'akwerulira ekkubo gy'ogenda.’
28
Mbagamba nti Yowanne asinga abantu bonna ekitiibwa, abaali bazaaliddwa. Kyokka oyo asembayo okuba oweekitiibwa ekitono mu Bwakabaka bwa Katonda, asinga Yowanne oyo ekitiibwa.”
29
Abasolooza b'omusolo n'abantu abalala bonna bwe baawuliriza ebigambo ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga bali babatizibwa Yowanne.
30
Kyokka Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka beggya ku nteekateeka ya Katonda, ne bagaana okubatizibwa.
31
Yesu n'ayongera okugamba abaali bamuwuliriza nti: “Abantu ab'omulembe guno nnaabageraageranya na ki? Kiki kye bafaanana?
32
Bafaanana ng'abaana abato, abatuula mu katale ne bakoowoolagana ne bagamba nti: ‘Twabafuuyidde endere, ne mutazina; twakubye ebiwoobe, ne mutakaaba.’
33
Yowanne Omubatiza bwe yajja ng'asiiba era nga tanywa mwenge, mwagamba nti: ‘Aliko omwoyo omubi!’
34
Omwana w'Omuntu bwe yajja ng'alya era ng'anywa, ne mugamba nti: ‘Omuntu oyo wa mululu, mutamiivu, era mukwano gwa basolooza ba musolo n'aboonoonyi.’
35
Wabula abo bonna abakolera ku magezi ga Katonda, bakakasa nti matuufu.”
36
Awo Omufarisaayo omu n'ayita Yesu okulya naye. Yesu n'agenda n'ayingira mu nnyumba y'Omufarisaayo oyo, n'atuula okulya.
37
Mu kibuga ekyo mwalimu omukazi omwonoonyi. Omukazi oyo bwe yamanya nti Yesu atudde okulya mu nnyumba y'Omufarisaayo, n'aleeta eccupa erimu omuzigo oguwunya akawoowo,
38
n'abeera emabega, kumpi n'ebigere bya Yesu. N'akaaba era n'atandika okutobya ebigere bya Yesu n'amaziga, era n'abisiimuuza enviiri ez'oku mutwe gwe. N'abinywegera, era n'abisiiga omuzigo oguwunya akawoowo.
39
Omufarisaayo eyayita Yesu bwe yalaba kino, n'agamba mu mutima gwe nti: “Singa omusajja ono abadde mulanzi, yanditegedde omukazi amwekwatako bw'atyo bw'ali omwonoonyi.”
40
Awo Yesu n'amwatulira, n'agamba nti: “Simooni, nnina kye nkugamba.” Ye n'agamba nti: “Muyigiriza, yogera.”
41
Yesu n'atandika nti: “Waaliwo abantu babiri, abaali babanjibwa omuwozi w'ensimbi. Omu yali abanjibwa denaari ebikumi bitaano, ate omulala denaari amakumi ataano.
42
Bwe baalemwa okusasula, bombi n'abasonyiwa. Kale ani ku bo anaasinga okumwagala?”
43
Simooni n'addamu nti: “Ndowooza nti oyo gwe yasonyiwa ebbanja erisinga obunene.” Yesu n'amugamba nti: “Osaze bulungi.”
44
Awo n'akyukira omukazi, n'agamba Simooni nti: “Omukazi ono omulaba? Bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba bigere, naye ono atobezza ebigere byange n'amaziga ge, era n'abisiimuuza enviiri ze.
45
Tewannywegedde, naye ono okuviira ddala lwe nayingidde, tannalekayo kunywegera bigere byange.
46
Tewansiize muzigo mu mutwe, naye ono ebigere byange abisiize omuzigo oguwunya akawoowo.
47
N'olwekyo nkugamba nti asonyiyiddwa ebibi bye ebingi, kubanga alina okwagala kungi. Kyokka asonyiyibwa ebitono, aba n'okwagala kutono.”
48
Awo Yesu n'agamba omukazi nti: “Ebibi byo mbikusonyiye.”
49
Abaali batudde ne Yesu nga balya ne batandika okwebuuzaganya nti: “Ono ani asobola n'okusonyiwa abantu ebibi?”
50
Awo Yesu n'agamba omukazi nti: “Owonye olw'okukkiriza kwo, genda mirembe.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24