bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 18
Luke 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
1
Awo Yesu n'abagerera olugero, okubalaga nti bateekwa bulijjo okwegayirira Katonda awatali kukoowa.
2
N'agamba nti: “Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, ataatyanga Katonda era atassangamu muntu kitiibwa.
3
Waaliwo ne nnamwandu mu kibuga ekyo, eyajjanga ew'omulamuzi oyo, n'agamba nti: ‘Lamula ontaase omulabe wange.’
4
Omulamuzi n'amala ekiseera ng'akyagaanyi, kyokka oluvannyuma n'agamba mu mutima gwe nti: ‘Newaakubadde nga sitya Katonda, era nga sissaamu muntu kitiibwa,
5
naye olw'okubanga nnamwandu ono antawaanya, nja kulamula mmutaase, aleme kujjanga kunkooyesa lutata.’ ”
6
Awo Mukama waffe n'agamba nti: “Muwulire omulamuzi oyo omubi ky'agamba.
7
Kale Katonda talitaasa abalondemu be abamukoowoola emisana n'ekiro? Alirwawo nga tannabayamba?
8
Mbagamba nti alibataasa mangu. Wabula Omwana w'Omuntu bw'alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”
9
Abo abaali beerowoozaako okuba abalungi, nga banyooma abalala, Yesu n'abagerera olugero luno nti:
10
“Abantu babiri baayambuka mu Ssinzizo okusinza. Omu yali Mufarisaayo, omulala musolooza wa musolo.
11
“Omufarisaayo n'ayimirira, n'asinza Katonda mu mutima gwe ng'agamba nti: ‘Ayi Katonda, nkwebaza, kubanga siri nga bantu balala, abanyazi, abakumpanya, abenzi. Era siri ng'omusolooza w'omusolo ono.
12
Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, mpaayo ekitundu ekimu eky'ekkumi ku byonna bye nfuna.’
13
Kyokka omusolooza w'omusolo n'ayimirira wala, n'atayagala na kuyimusa maaso ge eri eggulu, wabula ne yeekuba mu kifuba ng'agamba nti: ‘Ayi Katonda, nsaasira nze omwonoonyi!’
14
Mbagamba nti oyo yaddayo mu nnyumba ye ng'ali bulungi ne Katonda, kyokka si oli, kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, naye oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
15
Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko, kyokka abayigirizwa bwe baabalaba, ne babaziyiza nga bababoggolera.
16
Yesu n'ayita abaana abo ng'agamba nti: “Muleke abaana abato bajje gyendi, temubaziyiza, kubanga abafaanana nga bano, be baba mu Bwakabaka bwa Katonda.
17
Mazima mbagamba nti buli muntu ateesiga Katonda ng'omwana omuto bwe yeesiga bakadde be, si wa kubuyingiramu.”
18
Awo omukungu omu n'abuuza Yesu nti: “Muyigiriza omulungi, kiki kye nteekwa okukola okufuna obulamu obutaggwaawo?”
19
Yesu n'amugamba nti: “Lwaki ompise omulungi? Tewali mulungi okuggyako Katonda yekka.
20
Ebiragiro obimanyi: toyendanga, tottanga muntu, tobbanga, toyogeranga bya bulimba ku muntu, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.”
21
Omukungu n'agamba nti: “Bino byonna nabituukiriza okuviira ddala mu buto n'okutuusa kati.”
22
Yesu bwe yawulira ekyo, n'amugamba nti: “Ekintu kimu ekikyakubulako okukola: tunda byonna by'olina, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.”
23
Kyokka omukungu bwe yawulira ebyo, n'anakuwala, kubanga yali mugagga nnyo.
24
Yesu bwe yalaba omukungu ono ng'anakuwadde, n'agamba nti: “Nga kizibu abagagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda!
25
Kyangu eŋŋamiya okuyita mu katuli k'empiso, okusinga omugagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.”
26
Abaawulira ebyo ne bagamba nti: “Kale olwo ani ayinza okulokolebwa?”
27
Yesu n'agamba nti: “Abantu bye batayinza, Katonda abiyinza.”
28
Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Laba, ffe twaleka ebyaffe tuyitenga naawe.”
29
Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti buli eyaleka ennyumba ye oba mukazi we, oba baganda be, oba bazadde be, oba baana be olw'Obwakabaka bwa Katonda,
30
alifuna ebisingawo obungi mu mulembe guno, n'obulamu obutaggwaawo mu mulembe ogulijja.”
31
Awo Yesu n'azza abayigirizwa be ku bbali, n'abagamba nti: “Laba twambuka e Yerusaalemu, era byonna ebyawandiikibwa abalanzi nga bifa ku Mwana w'Omuntu bijja kutuukirira:
32
ajja kuweebwayo mu b'amawanga amalala, abajja okumusekerera, bamuvume, bamuwandire amalusu,
33
bamukubise embooko eziriko amalobo agasuna. Era bajja kumutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
34
Abayigirizwa be tebaalina wadde ekimu kye baategeera ku ebyo. Amakulu g'ebigambo ebyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera ky'abagambye.
35
Awo olwatuuka, Yesu bwe yali ng'asemberedde ekibuga Yeriko, muzibe yali atudde ku mabbali g'ekkubo ng'asabiriza.
36
Bwe yawulira ekibiina ky'abantu nga kiyitawo, n'abuuza nti: “Kiki ekyo?”
37
Ne bamubuulira nti Yesu Omunazaareeti ye ayitawo.
38
Awo n'aleekaana nti: “Yesu, Omuzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!”
39
Abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike. Kyokka ye n'ayongera bwongezi okuleekaana nti: “Muzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!”
40
Awo Yesu n'ayimirira, n'alagira muzibe okuleetebwa w'ali. Muzibe bwe yasembera, Yesu n'amubuuza nti:
41
“Oyagala nkukolere ki?” N'addamu nti: “Mukama wange, nsaba nzibuke amaaso.”
42
Yesu n'amugamba nti: “Zibula, owonye olw'okukkiriza kwo.”
43
Amangwago n'azibuka amaaso, n'agenda ne Yesu ng'agulumiza Katonda. Abantu bonna bwe baalaba kino, ne batendereza Katonda.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24