bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 20
Luke 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
1
Awo, ku lunaku olumu, Yesu bwe yali mu Ssinzizo ng'ayigiriza abantu, era ng'abategeeza Amawulire Amalungi, bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, wamu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bajja,
2
ne bamugamba nti: “Tubuulire, olina buyinza bwa ngeri ki okukola ebintu bino? Era ani yakuwa obuyinza obwo?”
3
Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo. Mumbuulire,
4
ani yatuma Yowanne okubatiza, Katonda oba bantu?”
5
Awo bo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Singa tugamba nti Katonda ye yamutuma, ajja kutubuuza nti lwaki Yowanne oyo temwamukkiriza?
6
Ate singa tugamba nti abantu be baamutuma, abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bakkiririza ddala nti Yowanne mulanzi.”
7
Awo ne baddamu nti: “Tetumanyi yamutuma.”
8
Ne Yesu n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bwe nnina kukola bintu bino.”
9
Awo Yesu n'agerera abantu olugero luno nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agissaamu abapangisa, n'alaga mu nsi ey'ewala, n'alwayo.
10
Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma omuddu eri abapangisa, bamuwe ku bibala by'ennimiro y'emizabbibu. Kyokka abapangisa ne bamukuba, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu.
11
N'ayongera okutuma omuddu omulala. N'oyo ne bamukuba ne bamuswazaswaza, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu.
12
N'ayongera okutuma omuddu owookusatu. N'ono ne bamussaako ebiwundu, ne bamusuula ebweru.
13
Awo nnannyini nnimiro y'emizabbibu n'agamba nti: ‘Kiki kye nnaakola? Nja kutuma omwana wange omwagalwa, mpozzi ye banaamussaamu ekitiibwa.’
14
Kyokka abapangisa bwe baamulaba, ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika. Tumutte, obusika bube bwaffe.’
15
Awo ne bamufulumya ebweru w'ennimiro y'emizabbibu, ne bamutta. Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu alibakola atya?
16
Alijja n'azikiriza abapangisa abo, era ennimiro y'emizabbibu n'agissaamu abalala.” Bwe baawulira ebyo ne bagamba nti: “Ekyo kireme kubaawo!”
17
Kyokka Yesu n'abatunuulira, n'agamba nti: “Kale kino ekyawandiikibwa kitegeeza ki? ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.’
18
Buli agwa ku jjinja eryo, alimenyekamenyeka, era oyo gwe ligwako, lirimubetenta.”
19
Awo abannyonnyozi b'amateeka ne bakabona abakulu ne bagezaako okukwata Yesu mu kaseera ako, kubanga baamanya nti olugero olwo yalugera nga lukwata ku bo, kyokka ne batya abantu.
20
Bwe baali bakyalindirira akaseera akalala, ne batuma abakessi beefuule ng'abantu abalungi, bamukwase mu bigambo by'anaayogera, balyoke bamuweeyo eri omufuzi Omurooma.
21
Abakessi bano ne bamugamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nti by'oyogera ne by'oyigiriza bituufu, era tososola mu bantu, naye abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole.
22
Kaakati ssebo, tubuulire: tukkirizibwa okuwa Kayisaari omusolo, oba tetukkirizibwa?”
23
Kyokka Yesu n'ategeera olukwe lwabwe, n'abagamba nti:
24
“Mundage essente. Ekifaananyi n'amannya ebiriko by'ani?” Ne bagamba nti: “Bya Kayisaari.”
25
Yesu n'abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisaari mubiwe Kayisaari, n'ebya Katonda mubiwe Katonda.”
26
Ne batasobola kumukwasa mu kintu na kimu kye yayogera mu maaso g'abantu. Ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika.
27
Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti:
28
“Muyigiriza, Musa yatuwandiikira ekiragiro nti: ‘Singa omuntu afa, n'aleka nnamwandu, kyokka n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’
29
Kale waaliwo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa, kyokka n'afa nga talese mwana.
30
N'owookubiri n'awasa nnamwandu oyo.
31
Era n'owookusatu bw'atyo. Bonna omusanvu baamuwasa, ne bafa nga tebalese mwana.
32
Oluvannyuma, omukazi naye n'afa.
33
Kale ku lunaku olw'okuzuukira, omukazi oyo aliba muk'ani, nga bonna omusanvu baamuwasa?”
34
Awo Yesu n'abagamba nti: “Abantu ab'oku nsi bawasa era bafumbirwa.
35
Naye abo abalisaanyizibwa okuba mu mulembe ogwo, n'okuzuukira mu bafu, baliba tebakyawasa era nga tebakyafumbirwa,
36
“kubanga baliba tebakyayinza kufa nate. Baliba nga bamalayika, era baliba baana ba Katonda olw'okuba baliba bazuukidde.
37
Ne Musa alaga nti abafu bazuukira, kubanga mu kitundu ekifa ku kisaka, ayogera ku Mukama nti Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo.
38
Katonda si wa bafu wabula wa balamu, kubanga bonna eri Katonda balamu.”
39
Abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ne baddamu nti: “Muyigiriza, oyogedde bulungi.”
40
Baayogera batyo kubanga tewaali yaguma kwongera kumubuuza bibuuzo.
41
Awo Yesu n'abagamba nti: “Bayinza batya okugamba nti Kristo muzzukulu wa Dawudi?
42
Dawudi yennyini mu kitabo kya Zabbuli, agamba nti: ‘Katonda yagamba Mukama wange nti tuula ng'onninaanye, ku ludda lwange olwa ddyo,
43
okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’
44
Oba nga Dawudi amuyita Mukama we, ate olwo ayinza atya okuba muzzukulu we?”
45
Abantu bonna nga bawulira, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti:
46
“Mwekuume abannyonnyozi b'amateeka abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu ezikweya, era abaagala okulamusibwa mu butale, n'okutuula mu bifo eby'oku manjo mu makuŋŋaaniro, ne mu bifo ebyekitiibwa ku mbaga,
47
era abanyaga ebintu byonna mu mayumba ga bannamwandu, era abasinza Katonda mu bigambo ebingi olw'okweraga. Baliweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24