bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 19
Luke 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
1
Awo Yesu n'ayingira mu kibuga Yeriko, n'atambula n'akiyitamu.
2
Waaliwo omusajja erinnya lye Zaakayo eyali omukulu w'abasolooza b'omusolo era nga mugagga.
3
N'agezaako okulaba Yesu bw'afaanana, n'atasobola olw'ekibiina ky'abantu, kubanga Zaakayo ono yali mumpi.
4
N'adduka, n'abeesooka mu maaso, n'alinnya omuti Omusikamoreya, alabe Yesu eyali agenda okuyita mu kkubo eryo.
5
Yesu bwe yatuuka mu kifo ekyo, n'atunula waggulu, n'amugamba nti: “Zaakayo, kka mangu, kubanga olwaleero nteekwa okuba omugenyi wo.”
6
Zaakayo n'akka mangu, n'ayaniriza Yesu n'essanyu.
7
Bonna bwe baalaba, ne beemulugunya, ne bagamba nti: “Agenze okukyala ew'omusajja omwonoonyi.”
8
Zaakayo n'ayimirira, n'agamba Mukama waffe nti: “Mukama wange, laba, nnaagabanyiza wakati ebintu byange, ekitundu ekimu nkiwe abaavu. Era oba nga waliwo gwe nalyazaamaanya, nnaamuliyira emirundi ena.”
9
Awo Yesu n'amugamba nti: “Olwaleero okulokoka kuzze mu nnyumba eno, kubanga ono naye muzzukulu wa Aburahamu.
10
Omwana w'Omuntu yajja okunoonya n'okulokola abaabula.”
11
Awo bwe baawulira ebyo, Yesu n'ayongera okubagerera olugero, kubanga yali kumpi ne Yerusaalemu, era kubanga baali balowooza nti Obwakabaka bwa Katonda bwali bwa kulabika mangwago.
12
Kyeyava agamba nti: “Waaliwo omuntu oweekitiibwa eyagenda mu nsi ey'ewala okufuulibwa kabaka, alyoke akomewo.
13
N'ayita abaddu be kkumi, n'abawa ensimbi eziwera mina kkumi, n'abagamba nti: ‘Musuubuze ensimbi zino okutuusa lwe ndidda.’
14
Kyokka ab'omu nsi ye baali bamukyaye. Ne batuma ababaka okugenda gye yalaga, bagambe nti: ‘Tetwagala oyo kufuuka kabaka waffe.’
15
“Awo olwatuuka, bwe yakomawo ng'amaze okufuulibwa kabaka, n'alagira okumuyitira abaddu abo be yawa ensimbi, amanye bwe baasuubula.
16
Eyasooka n'ajja n'agamba nti: ‘Mukama wange, ensimbi zo ze wampa, mina emu, zaaleeta mina kkumi.’
17
N'amugamba nti: ‘Weebale ggwe, omuddu omulungi. Nga bwe wali omwesigwa mu kintu ekitono, nnaakuwa obuyinza okufuga ebibuga kkumi.’
18
Owookubiri n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, ensimbi zo ze wampa, mina emu, zaaleeta mina ttaano.’
19
N'oyo n'amugamba nti: ‘Naawe ojja kufuga ebibuga bitaano.’
20
“N'omulala n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, laba, ensimbi zo ze wampa, mina emu, ziizino. Nazitereka mu kiwero,
21
kubanga nakutya, kubanga oli muntu mukakanyavu. Otwala ekitali kikyo, era okungula ky'otaasiga.’
22
Kabaka n'amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi, by'oyogedde kwe nnaasinziira okukusalira omusango. Wali omanyi nti ndi muntu mukakanyavu, atwala ekitali kyange, era akungula kye ssaasiga.
23
Kale lwaki ensimbi zange tewaziteresa basuubuzi, nze nga nkomyewo ne nzifuna n'amagoba gaazo?’
24
“N'agamba abaali bayimiridde awo nti: ‘Mumuggyeeko ensimbi z'alina, mina emu, muziwe oli alina mina ekkumi.’
25
Ne bamugamba nti: ‘Ssebo, alina mina kkumi ddamba!’
26
N'addamu nti: ‘Mbagamba nti buli alina ebingi alyongerwako n'ebirala, ate oyo atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.
27
Naye abalabe bange abo, abataayagala nze kufuuka kabaka waabwe, mubaleete wano, era mubatte nga ndaba.’ ”
28
Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'akulemberamu, ng'ayambuka e Yerusaalemu.
29
Awo olwatuuka, bwe yali ng'asemberedde ebibuga Betufaage ne Betaniya, okumpi n'olusozi oluyitibwa olw'emiti Emizayiti, n'atuma babiri ku bayigirizwa be
30
ng'abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera. Bwe munaaba mukayingira bwe muti, mujja kulaba endogoyi entoototo esibiddwa, eteebagalwangako muntu. Mugiyimbule mugireete.
31
Singa wabaawo ababuuza nti: ‘Lwaki mugisumulula?’ Muddamu bwe muti: ‘Mukama waffe agyetaaga.’ ”
32
Awo abaatumibwa ne bagenda, ne basanga byonna nga biri nga bwe yabagamba.
33
Bwe baali nga basumulula endogoyi, bannannyiniyo ne babagamba nti: “Lwaki endogoyi mugisumulula?”
34
Bo ne bagamba nti: “Mukama waffe agyetaaga.”
35
Awo ne bagitwalira Yesu. Ne bassa ku ndogoyi eyo ekkooti zaabwe, ne bagyebagazaako Yesu.
36
Bwe yali ng'agenda, abantu ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe.
37
Ate bwe yali ng'asemberedde Yerusaalemu, ng'aserengeta Olusozi olw'emiti Emizayiti, ekibiina ky'abayigirizwa be kyonna ne kitendereza Katonda n'eddoboozi ery'omwanguka nga kisanyuka olw'ebyamagero byonna bye kyali kirabye.
38
Ne kigamba nti: “Kabaka ono ajja mu linnya lya Mukama, atenderezebwe. Emirembe gibe mu ggulu, n'ekitiibwa kibe eri Katonda Atenkanika.”
39
Awo abamu ku Bafarisaayo abaali mu kibiina ky'abantu ne bagamba Yesu nti: “Muyigiriza, koma ku bayigirizwa bo.”
40
Yesu n'addamu nti: “Mbagamba nti singa bano basirika, amayinja ganaaleekaana.”
41
Awo Yesu n'atuuka kumpi n'ekibuga Yerusaalemu. Bwe yakiraba, n'akaaba olw'okukirumirwa,
42
nga bw'agamba nti: “Singa ggwe omanya wadde ku lunaku luno ebyo ebireeta emirembe! Naye kaakano bikwekeddwa amaaso go.
43
Ekiseera kirikutuukirira, abalabe bo ne bakuzimbako ekigo okukwetooloola, ne bakutaayiza. Balikuzingiza ku njuuyi zonna.
44
Balikusaanyaawo awamu n'abantu bo abalisangibwa mu ggwe. Era mu ggwe tebalireka jjinja lizimbiddwa ku linnewaalyo, kubanga tewamanya kiseera Katonda kye yajjiramu okukulokola.”
45
Awo Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'agobamu abaali batundiramu,
46
nga bw'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kunsinzizaamu.’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi.”
47
Yesu yayigirizanga buli lunaku mu Ssinzizo. Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abalala abakulu mu ggwanga, ne basala amagezi okumuzikiriza.
48
Ne batalaba kye banaakola, kubanga abantu bonna omwoyo gwabwe baali bagutadde ku ye, nga bamuwuliriza.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24