bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 17
Luke 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
1
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Ebisuula abantu mu kibi tebirema kubaawo, kyokka oyo abireeta wa kubonaabona.
2
Kyandimubeeredde kirungi okusibibwa ejjinja ezzito mu bulago, n'asuulibwa mu nnyanja, okusinga lw'aleetera omu ku bato bano okukola ekibi.
3
Mwerinde. Muganda wo bw'akola ekibi, mulabule era singa yeenenya, musonyiwe.
4
Singa akukola ekibi emirundi musanvu mu lunaku olumu, era buli mulundi n'ajja gy'oli n'agamba nti: ‘Neenenyezza,’ oteekwa okumusonyiwa.”
5
Abatume ne bagamba Mukama waffe nti: “Twongeremu okukkiriza.”
6
Mukama waffe n'addamu nti: “Singa mulina okukkiriza okutono ng'akasigo ka kaladaali, mwandigambye omuti ogw'enkenene guno nti: ‘Simbuka, weesimbe mu nnyanja,’ ne gubawulira.
7
“Ani ku mmwe aba n'omuddu alima oba alunda endiga, bw'akomawo ng'ava mu nnimiro, amugamba nti: ‘Jjangu otuule olye,’
8
n'atamugamba nti: ‘Tegeka emmere gye nnaalya ekyeggulo, weesibe ompeereze nga ndya era nga nnywa, oluvannyuma naawe olyoke olye era onywe’?
9
Ateekwa okwebaza omuddu oyo olw'okukola ebimulagiddwa?
10
Nammwe kye kimu. Bwe mumalanga okukola byonna ebibalagiddwa, mugambanga nti: ‘Tuli baddu buddu. Bye tubadde tuteekwa okukola, bye tukoze.’ ”
11
Awo olwatuuka, Yesu bwe yali ng'agenda e Yerusaalemu, n'ayita wakati wa Samariya ne Galilaaya.
12
Bwe yali ng'ayingira mu kyalo ekimu, abagenge kkumi ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako,
13
ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka, ne bagamba nti: “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa.”
14
Yesu bwe yabalaba, n'abagamba nti: “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Awo bwe baali bagenda, ne balongooka.
15
Omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo ng'atendereza Katonda mu ddoboozi ery'omwanguka.
16
N'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu, nga yeebaza. Oyo yali Musamariya.
17
Yesu n'agamba nti: “Abawonyezeddwa tebabadde kkumi? Naye omwenda guli ludda wa?
18
Tewalabiseewo mulala akomyewo kutendereza Katonda okuggyako ono ow'eggwanga eddala?”
19
Awo Yesu n'amugamba nti: “Yimuka ogende. Owonye olw'okukkiriza kwo.”
20
Awo Yesu bwe yabuuzibwa Abafarisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi, n'abaddamu nti: “Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweraga.
21
Abantu tebaligamba nti: ‘Laba, buli wano,’ oba nti: ‘Buli wali,’ kubanga Obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.”
22
Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Ekiseera kirituuka ne mwegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'Omuntu, kyokka temulirulaba.
23
Walibaawo ababagamba nti: ‘Laba, ali wali,’ oba nti: ‘Laba, ali wano.’ Temugendangayo, era temubagobereranga.
24
Ng'okumyansa okw'eggulu bwe kumyansiza ku ludda olumu olw'eggulu, ne kutangaaza n'oludda olulala, n'Omwana w'Omuntu bw'aliba bw'atyo ku lunaku lwe.
25
Kyokka ateekwa okusooka okubonyaabonyezebwa ennyo, n'okugaanibwa ab'omulembe guno.
26
“Nga bwe kyali mu mulembe gwa Noowa, bwe kityo bwe kiriba ne mu kiseera ky'Omwana w'Omuntu.
27
Abantu baali balya era nga banywa, baali bawasa era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Noowa lwe yayingira mu lyato, omujjuzo ne gujja, ne guzikiriza bonna.
28
Era kiriba nga bwe kyali mu mulembe gwa Looti. Abantu baali balya era nga banywa, baali bagula era nga batunda, baali basiga era nga bazimba.
29
Naye ku lunaku Looti lwe yava mu Sodoma, ne watonnya omuliro n'olunyata okuva mu ggulu, ne bizikiriza bonna.
30
Bwe kityo bwe kiriba ku lunaku Omwana w'Omuntu lw'alirabikirako.
31
“Ku lunaku olwo, omuntu aliba waggulu ku kasolya k'ennyumba, ng'ebintu bye biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu. Oyo aliba mu nnimiro naye bw'atyo, taddanga mabega.
32
Mujjukire muka Looti!
33
Buli agezaako okukuuma obulamu bwe, alibufiirwa; kyokka buli afiirwa obulamu bwe, alibuwonya.
34
Mbagamba nti mu kiro ekyo, abaliba ababiri mu kitanda ekimu, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa.
35
Abakazi babiri abaliba awamu nga basa ku lubengo, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa. [
36
Babiri abaliba mu nnimiro, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa.”]
37
Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Ludda wa, Mukama waffe?” N'abaddamu nti: “Awaba ekifudde, awo n'ensega we zikuŋŋaanira.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24