bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 23
Luke 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 24 →
1
Awo bonna abaali mu lukiiko ne basituka, ne batwala Yesu eri Pilaato.
2
Ne batandika okumuwawaabira nga bagamba nti: “Ono twamusanga atabulatabula abantu b'eggwanga lyaffe, era ng'abagaana okuwa Kayisaari omusolo, era nga yeeyita Kristo, Kabaka.”
3
Pilaato n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti: “Nga bw'ogambye.”
4
Awo Pilaato n'agamba bakabona abakulu n'ekibiina ky'abantu nti: “Sizudde musango ku muntu ono.”
5
Naye bo ne balumiriza nga bagamba nti: “Asasamaza abantu ng'ayigiriza. Yatandikira Galilaaya, n'ayita mu Buyudaaya bwonna okutuuka wano.”
6
Awo Pilaato bwe yawulira ebyo, n'abuuza oba ng'omuntu oyo Mugalilaaya.
7
Bwe yamanya nti Yesu ava mu kitundu ekifugibwa Herode, n'amuweereza ewa Herode, era naye eyali mu Yerusaalemu mu nnaku ezo.
8
Herode bwe yalaba Yesu, n'asanyuka nnyo, kubanga yali awulidde ebimufaako, era okuva edda yayagalanga okumulaba, era ng'asuubira okulaba bw'akola ekyamagero.
9
N'abuuza Yesu ebibuuzo bingi, kyokka Yesu n'atamuddamu n'akatono.
10
Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka ne beesimbawo nga bamulumiriza n'obusungu.
11
Awo Herode n'abaserikale be ne bamunyooma, ne bamukudaalira, ne bamwambaza olugoye olunekaaneka, ne bamuddiza Pilaato.
12
Herode ne Pilaato abaali bakyawaganye nga kino tekinnabaawo, ne bafuuka ba mukwano ku lunaku olwo.
13
Awo Pilaato n'ayita bakabona abakulu n'abakungu n'ekibiina ky'abantu,
14
n'abagamba nti: “Mwaleese omuntu ono gye ndi nga mugamba nti atabulatabula abantu. Laba, mmubuuzizza mu maaso gammwe, ne sizuula musango ku muntu ono mu ebyo bye mumuwawaabira.
15
Era ne Herode bw'atyo, kubanga amuzzizza gye tuli. Omuntu ono tewali kye yakola kimusaanyiza kusalirwa gwa kufa.
16
Kale nga mmaze okumubonereza, nnaamuta.” [
17
Ku buli Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, Pilaato yateekwanga okuta omusibe gwe baamusabanga.]
18
Ekibiina ky'abantu kyonna ne kireekaanira wamu nti: “Ono muzikirize, otuteere Barabba!”
19
Barabba oyo yali asibiddwa mu kkomera olw'akajagalalo akaaliwo mu kibuga, n'olw'obutemu.
20
Pilaato n'ayogera nabo nate ng'ayagala okuta Yesu.
21
Naye bo ne baleekaana nga bagamba nti: “Mukomerere ku musaalaba, mukomerere ku musaalaba!”
22
Awo Pilaato n'abagamba omulundi ogwokusatu nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze? Sizudde nsonga ku ye emusaliza gwa kufa. Kale nga mmaze okumubonereza, nnaamuta.”
23
Kyokka bo ne beeyongera okuleekaana ennyo nga basaba nti Yesu akomererwe ku musaalaba.
24
Pilaato n'asalawo nti kye basabye kikolebwe.
25
Awo n'ata oyo gwe baamusaba, eyali aggaliddwa mu kkomera olw'akajagalalo n'obutemu. N'awaayo Yesu nga bwe baagala.
26
Awo abaserikale bwe baali batwala Yesu, ne bakwata Simooni Omukireene, eyali ava mu kyalo, ne bamussaako omusaalaba okugwetikka ng'avaako Yesu emabega.
27
Ekibiina ky'abantu kinene ne kigoberera Yesu. Mu kibiina ekyo, abakazi ne bagenda nga bakungubaga era nga bakaaba olwa Yesu.
28
Kyokka Yesu n'abakyukira n'agamba nti: “Abakazi, ab'e Yerusaalemu, muleke kukaabira nze, naye mwekaabire mwennyini, era mukaabire baana bammwe,
29
kubanga ennaku zirituuka, abantu ze baligambiramu nti abakazi abagumba ba mukisa, era embuto ezitazaalangako n'amabeere agatayonsanga, nabyo bya mukisa.
30
Olwo baligamba ensozi nti: ‘Mutubuutikire,’ n'obusozi nti: ‘Mutuvuunikire.’
31
Ggwe ate we bakolera bino ku muti omubisi, ku mukalu kiriba kitya?”
32
Waaliwo abalala babiri, abamenyi b'amateeka, abaatwalibwa okuttibwa awamu ne Yesu.
33
Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa eky'Ekiwanga, ne bakomerera awo Yesu ku musaalaba n'abamenyi b'amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono.
34
Yesu n'agamba nti: “Kitange, basonyiwe, kubanga tebategeera kye bakola.” Awo ne bagabana engoye ze nga bazikubira akalulu.
35
Abantu ne bayimirira awo nga batunuulira. Abakungu nabo ne bamusekerera nga bagamba nti: “Yawonyanga balala, yeewonye yennyini, oba ng'ono ye Kristo Omulonde wa Katonda!”
36
Abaserikale nabo ne bajja w'ali, ne bamukudaalira nga bamuwa omwenge omukaatuufu,
37
nga bagamba nti: “Oba nga ggwe Kabaka w'Abayudaaya, weewonye!”
38
Era waggulu we waaliwo ekiwandiiko ekiwandiikiddwa nti: “ONO YE KABAKA W'ABAYUDAAYA.”
39
Omu ku bamenyi b'amateeka abaawanikibwa ku musaalaba, n'avuma Yesu ng'agamba nti: “Si ggwe Kristo? Weewonye, naffe otuwonye.”
40
Kyokka oli omulala n'addamu ng'anenya munne, n'agamba nti: “Ggwe, n'okutya totya Katonda nga tuli ku kibonerezo kye kimu?
41
Ku ffe, ggwe nange, kituufu, kubanga twakola ebikolwa ebikitugwanyiza; kyokka ono talina kibi kye yakola.”
42
Awo n'agamba nti: “Yesu, onzijukiranga lw'olijjira mu kitiibwa ky'Obwakabaka bwo.”
43
Yesu n'amugamba nti “Mazima nkugamba nti olwaleero, onooba nange mu kifo eky'okwesiima.”
44
Awo essaawa zaali nga mukaaga ez'emisana, enjuba n'erekayo okwaka era ekizikiza ne kibikka ensi yonna, okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo.
45
Olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi.
46
Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Kitange, nkukwasa omwoyo gwange!” Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'afa.
47
Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale bwe yalaba ebibaddewo, n'atendereza Katonda nga bw'agamba nti: “Ddala ono abadde muntu mulungi!”
48
Abantu bonna enkumu, abaali bakuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo, ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu bifuba.
49
Kyokka mikwano gya Yesu bonna, n'abakazi abajja naye okuva e Galilaaya, ne bayimirira wala nga balaba ebyo.
50
Waaliwo omusajja erinnya lye Yosefu, eyava mu kibuga ky'omu Buyudaaya ekiyitibwa Arimataya. Yali musajja mulungi era ng'alindirira Obwakabaka bwa Katonda. Yali mukiise mu lukiiko lw'Abayudaaya olukulu, wabula teyakkiriziganya nalwo mu kuteesa ne mu bikolwa byalwo.
52
Yosefu ono n'agenda eri Pilaato, n'amusaba omulambo gwa Yesu,
53
n'aguwanula, n'aguzinga mu lugoye olweru olulungi. N'aguteeka mu ntaana ey'empuku esimiddwa mu lwazi, era eyali teteekebwangamu muntu.
54
Lwali lunaku lwa kweteekateeka, nga Sabbaato eneetera okutandika.
55
Abakazi abajja ne Yesu okuva e Galilaaya, ne bagoberera Yosefu, ne balaba entaana, n'omulambo gwa Yesu nga bwe guteekeddwamu.
56
Ne baddayo ewaabwe, ne bategeka ebyobuwoowo, n'omuzigo ogw'okusiiga. Ku lunaku lwa Sabbaato ne bawummula ng'etteeka bwe liragira.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24