bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 11
Luke 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
1
Lwali lumu, Yesu yali mu kifo ekimu ng'asinza Katonda. Bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusinza Katonda, nga Yowanne bwe yayigiriza abayigirizwa be.”
2
Awo Yesu n'abagamba nti: “Bwe mubanga musinza Katonda, mugambanga nti: ‘Kitaffe, erinnya lyo lyatulwe nga bwe liri ettukuvu, Obwakabaka bwo bujje.
3
Otuwe buli lunaku emmere gye twetaaga.
4
Era otusonyiwe ebibi byaffe, kubanga naffe tusonyiwa buli akola ebitulumya. Era totuleka kukemebwa.’ ”
5
Awo n'abagamba nti: “Singa omu ku mmwe aba ne mukwano gwe, n'agenda gy'ali ettumbi n'amugamba nti: ‘Munnange, mpola emigaati esatu,
6
kubanga mukwano gwange atuuse ng'ava lugendo, ate sirina kye mmuwa’;
7
kyokka oli, ng'ali mu nnyumba, n'addamu nti: ‘Tonteganya, oluggi nalusibye dda, era abaana bange nange tuli mu buliri. Siyinza kugolokoka kukuwa.’
8
Mbagamba nti newaakubadde taagolokoke kumuwa olw'okuba mukwano gwe, kyokka olw'okumuteganya, anaagolokoka n'amuwa kyonna kye yeetaaga.
9
Kale mbagamba nti musabe, muliweebwa; munoonye, mulizuula; mukonkone ku luggi, muliggulirwawo,
10
kubanga buli asaba afuna, anoonya azuula, n'akonkona ku luggi aggulirwawo.
11
Era ani ku mmwe kitaawe w'omwana, awa omwana we omusota mu kifo ky'ekyennyanja ky'amusabye,
12
oba amuwa enjaba ey'obusagwa ng'asabye eggi?
13
Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ow'omu ggulu talisingawo nnyo okuwa Mwoyo Mutuukirivu abamumusaba?”
14
Yesu yali agoba ku muntu omwoyo omubi era gukasiru. Awo omuntu oyo kasiru, omwoyo omubi bwe gwamuvaako, n'atandika okwogera. Abantu ne beewuunya.
15
Kyokka abamu ku bo ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ng'akozesa buyinza bwa Beeluzebuli omukulu waagyo.”
16
N'abalala ne bamusaba nga bamukema, abawe akabonero akalaga nti obuyinza bwe bwava wa Katonda.
17
Kyokka bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'abagamba nti: “Abantu ab'obwakabaka obumu bwe beesalamu ne balwanagana, obwakabaka obwo buzikirira. Era ne bwe gaba maka, gasasika.
18
Ne Sitaani singa yeerwanyisa yennyini, obwakabaka bwe bunaasigalawo butya? Mmwe mugamba nti ngoba emyoyo emibi ku bantu, nga nkozesa buyinza bwa Beeluzebuli.
19
Kale oba nga nze ngoba emyoyo emibi nga nkozesa buyinza bwa Beeluzebuli, abagoberezi bammwe bo bagigoba nga bakozesa buyinza bw'ani? Kyebaliva babasalira mmwe omusango.
20
Naye oba ng'emyoyo emibi ngigoba ku bantu nga nkozesa buyinza bwa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda butuuse mu mmwe.
21
“Omuntu ow'amaanyi, alina ebyokulwanyisa, bw'akuuma ennyumba ye, ebintu bye biba mirembe.
22
Kyokka amusinga amaanyi bw'amulumba n'amuwangula, atwala ebyokulwanyisa bye by'abadde yeesiga, n'ebintu bye ebinyage n'abigaba.
23
“Ataba ku ludda lwange, mulabe wange, era atannyamba kukuŋŋaanya, asaasaanya.
24
“Omwoyo omubi bwe guva ku muntu, guyitaayita mu bifo ebitaliimu mazzi, nga gunoonya we gunaawummulira. Bwe gutazuulawo, gugamba nti: ‘Nja kudda mu nnyumba yange mwe nava.’
25
Bwe gudda, gugisanga ng'eyereddwa, era ng'etegekeddwa bulungi.
26
Olwo ne gugenda ne guleeta emirala musanvu egigusinga obubi, ne giyingira ne gibeera omwo. Embeera y'omuntu oyo ey'oluvannyuma, n'eba mbi okusinga eyasooka.”
27
Awo olwatuuka, Yesu bwe yali akyayogera ebyo, omukazi eyali mu kibiina ky'abantu, n'ayimusa eddoboozi n'amugamba nti: “Olubuto mwe wakulira lwa mukisa, n'amabeere agaakuyonsa ga mukisa!”
28
Kyokka Yesu n'agamba nti: “Abasinga okuba ab'omukisa beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako.”
29
Awo Yesu, abantu bangi bwe baakuŋŋaanira w'ali, n'atandika okugamba nti: “Abantu b'omulembe guno bantu babi! Basaba akabonero, naye tewali kabonero kajja kubaweebwa okuggyako akabonero ka Yona.
30
Kale nga Yona bwe yali akabonero eri abantu b'e Nineeve, bw'atyo n'Omwana w'Omuntu bw'ajja okuba eri abantu b'omulembe guno.
31
Kabaka omukazi ow'omu bukiikaddyo alisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, n'abalumiriza omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y'ensi n'ajja okuwuliriza ebigambo bya Solomooni eby'amagezi. Naye laba asinga Solomooni ali wano.
32
Abantu b'e Nineeve balisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, ne babalumiriza omusango okubasinga, kubanga bo beenenya nga Yona abategeezezza ekigambo kya Katonda, naye laba asinga Yona ali wano.
33
“Omuntu takoleeza ttaala n'agikweka mu kinnya oba mu kibbo, wabula agiteeka ku kikondo, abantu abayingira balyoke balabe ekitangaala.
34
Ettaala y'omubiri gwo lye liiso lyo. Eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula obutangaavu. Naye bwe litaba ddamu, omubiri gwo gujjula ekizikiza.
35
Kale nno weetegereze oba ng'obutangaavu mu ggwe, si kizikiza.
36
Kale singa omubiri gwo gwonna gujjula obutangaavu, era nga tegulina kitundu na kimu kya kizikiza, gulitangaalira ddala, ng'ettaala bw'ekumulisa n'ekitangaala kyayo.”
37
Yesu bwe yamaliriza okwogera ebyo, Omufarisaayo n'amusaba okulya naye ekyemisana. Awo Yesu n'ayingira n'atuula okulya.
38
Omufarisaayo ne yeewuunya okulaba nga Yesu tasoose kunaaba nga tannalya.
39
Awo Mukama waffe n'amugamba nti: “Mmwe Abafarisaayo mwoza kungulu wa bikopo, na kungulu wa bibya. Naye mu mitima gyammwe mujjudde obunyazi n'ebibi.
40
Basirusiru mmwe! Oyo eyatonda ebyokungulu, si ye yatonda n'ebyomunda?
41
Naye ebiri mu ndeku n'ebiri mu bibya mubigabire abaavu, olwo ebintu byonna bijja kubabeerera birongoofu.
42
“Naye mmwe Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Muwa ekimu eky'ekkumi ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, naye ne mulagajjalira obwenkanya n'okwagala Katonda. Bino biteekwa okukolebwa, na biri nga tebiragajjalirwa.
43
“Mmwe Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Mwagala ebifo ebisinga obulungi mu makuŋŋaaniro, n'okulamusibwa mu butale.
44
Muli ba kubonaabona mmwe! Muli ng'amalaalo agatalabika, abantu ge batambulirako ne batagamanya nti malaalo.”
45
Awo omu ku bannyonnyozi b'amateeka n'amugamba nti “Muyigiriza, bw'oyogera bw'otyo, nga naffe otuvumye.”
46
Yesu n'agamba nti: “Nammwe abannyonnyozi b'amateeka, muli ba kubonaabona! Mulagira abantu okwetikka emigugu egiteetikkika, mmwe mwennyini ne mutagikwatako wadde n'olugalo lwammwe olumu.
47
Muli ba kubonaabona mmwe! Muzimba amalaalo g'abalanzi, sso nga battibwa bajjajjammwe.
48
Bwe mutyo mulaga nti musiima bajjajjammwe bye baakola. Bo batta abalanzi, ate mmwe ne muzimba amalaalo g'abalanzi abo.
49
N'olwekyo Amagezi ga Katonda kyegava gagamba nti: ‘Ndibatumira abalanzi n'abatume, abamu ku bo balibatta, n'abalala balibayigganya.’
50
Omusaayi gw'abalanzi bonna ogwayiibwa okuva ku kutondebwa kw'ensi, kyeguliva guvunaanibwa abantu b'omulembe guno,
51
okuva ku musaayi gwa Abeeli, okutuuka ku gwa Zakariya eyattirwa wakati wa alutaari, n'ekifo ekitukuvu mu Ssinzizo. Weewaawo, mbagamba nti gulivunaanibwa abantu b'omulembe guno.
52
“Muli ba kubonaabona mmwe abannyonnyozi b'amateeka! Mwaggyawo ekisumuluzo ekisumulula oluggi olw'okumanya, mmwe mwennyini ne mutayingira, ate ne muziyiza abo abaali bayingira.”
53
Yesu bwe yava mu kifo ekyo, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne batandika okumuketta ennyo n'okumukemereza okwogera ku bintu bingi,
54
nga bamutega okumukwasa mu bigambo by'ayogera.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24