bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 15
Luke 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 16 →
1
Awo abasolooza b'omusolo bonna n'aboonoonyi ne basemberera Yesu okumuwuliriza.
2
Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti: “Ono ayaniriza aboonoonyi era alya nabo.”
3
Awo Yesu n'abagerera olugero luno nti:
4
“Muntu ki ku mmwe aba n'endiga ekikumi, n'abulwako emu ku zo, ataleka ekyenda mu omwenda ku ttale, n'agenda okunoonya eri ebuze, okutuusa lw'agizuula?
5
Era ng'agizudde, agiteeka ku kibegabega kye ng'asanyuka.
6
Bw'atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be, n'abagamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange ebadde ebuze.’
7
Mbagamba nti bwe kityo, wabaawo essanyu lingi mu ggulu olw'omwonoonyi omu eyeenenya, okusinga olw'abalungi ekyenda mu omwenda abateetaaga kwenenya.
8
“Oba mukazi ki aba n'ebisente kkumi ebya ffeeza, singa abulwako ekimu, atakoleeza ttaala, n'ayera ennyumba, n'anoonya n'obwegendereza okutuusa lw'akizuula?
9
Era ng'akizudde, ayita baliraanwa be, n'agamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde ekisente kyange ekya ffeeza ekibadde kibuze.’
10
Mbagamba nti bwe kityo, wabaawo essanyu mu bamalayika ba Katonda olw'omwonoonyi omu eyeenenya.”
11
Yesu n'agamba nate nti: “Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri.
12
Omuto ku bombi n'agamba kitaawe nti: ‘Kitange, mpa omugabo ogwange ku bintu byo.’ Awo n'abagabanyiza mu bintu bye.
13
Ennaku tewaayitawo nnyingi, omwana omuto ku bombi n'akuŋŋaanya ebibye byonna, n'agenda mu nsi ey'ewala, n'asaasaanyiza eyo ebintu bye, ng'ayisa empisa embi.
14
Awo bwe yabimalaawo byonna, enjala n'egwa nnyingi mu nsi eyo, n'atandika okuba mu buzibu.
15
N'agenda ne yeesiba ku omu ku bannansi b'omu kitundu ekyo, ye n'amusindika mu kibanja kye okulunda embizzi.
16
Ne yeegombanga okukkusa olubuto lwe ebikuta, embizzi bye zaalyanga, ne wataba abimuwa.
17
Kyokka bwe yeerowooza, n'agamba nti: ‘Abapakasi ba kitange bameka abalya emmere n'ebalemerawo, naye nze nfiira wano enjala!
18
Nja kusituka ŋŋende eri kitange, mmugambe nti kitange, nayonoona eri Katonda ne mu maaso go.
19
Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo. Nfuula ng'omu ku bapakasi bo.’
20
N'asituka, n'agenda eri kitaawe. “Bwe yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'akwatibwa ekisa, n'adduka, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera.
21
Omwana n'agamba nti: ‘Kitange, nayonoona eri Katonda ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo!’
22
Kyokka kitaawe n'agamba abaddu be nti: ‘Mwanguwe, muleete ekyambalo ekisinga obulungi, mukimwambaze, era mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere.
23
Muleete n'ennyana eyassava, mugitte, tulye tusanyuke,
24
kubanga omwana wange ono yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse.’ Awo ne batandika okusanyuka.
25
“Omwana we omukulu yali mu nnimiro. Bwe yali ajja, era ng'asemberedde ennyumba, n'awulira ekinyumu nga bayimba era nga bazina.
26
N'ayita omu ku baddu, n'abuuza ekiriwo.
27
Omuddu n'amugamba nti: ‘Muganda wo azze, kitaawo n'atta ennyana eyassava, kubanga amwanirizza nga mulamu.’
28
“Ye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira. Awo kitaawe n'afuluma n'amwegayirira.
29
Naye ye n'addamu kitaawe nti: ‘Laba, emyaka mingi gye mmaze nga nkukolera, era sijeemerangako kiragiro kyo. Naye tompanga wadde akabuzi, nsanyukeko ne mikwano gyange.
30
Naye omwana wo ono, eyalya ebintu byo ng'ali ne bamalaaya, bw'azze, omuttidde ennyana eyassava!’
31
Kitaawe n'amugamba nti: ‘Mwana wange, ggwe bulijjo oli wamu nange, era ebyange bye bibyo.
32
Naye kibadde kituufu okujaguza n'okusanyuka, kubanga muganda wo ono, yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse.’ ”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
Recommended Reading
Commentary
Luke Commentaries
→
Devotional
Luke Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→