bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 4
Luke 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
1
Awo Yesu ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'avaayo ku Mugga Yorudaani, Mwoyo Mutuukirivu n'amutwala mu ddungu,
2
n'amalayo ennaku amakumi ana ng'akemebwa Sitaani. Mu nnaku ezo teyalyanga n'akatono. Awo bwe zaggwaako, enjala n'emuluma.
3
Sitaani n'amugamba nti: “Oba nga ddala oli Mwana wa Katonda, lagira ejjinja lino lifuuke emmere.”
4
Yesu n'addamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu taba mulamu na mmere yokka.’ ”
5
Awo Sitaani n'alinnyisa Yesu waggulu, era mu kaseera buseera n'amulaga obwakabaka bwonna obw'oku nsi.
6
N'amugamba nti: “Nja kukuwa obuyinza okufuga amawanga gano gonna era nkuwe n'ebirungi byonna ebigalimu. Byonna byampeebwa, era gwe njagala gwe mbigabira.
7
Kale nno ggwe singa ofukamira mu maaso gange n'onsinza, byonna bijja kuba bibyo.”
8
Yesu n'amuddamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.’ ”
9
Awo Sitaani n'atwala Yesu e Yerusaalemu, n'amuteeka ku kitikkiro ky'Essinzizo, n'amugamba nti: “Oba nga ddala oli Mwana wa Katonda, sinziira wano, weesuule wansi eri,
10
kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Katonda aliragira bamalayika be bakulabirire;’
11
era nti: ‘Balikuwanirira mu mikono gyabwe, oleme okwekoona ekigere ku jjinja.’ ”
12
Yesu n'addamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”
13
Sitaani ng'amaze okukema Yesu mu buli ngeri, n'amuleka okumala ekiseera.
14
Awo Yesu n'addayo mu Galilaaya ng'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu gali naye. Ettutumu lye ne libuna mu kitundu ekyo kyonna.
15
N'ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe, bonna ne bamutendereza.
16
Awo Yesu n'ajja e Nazaareeti gye yakulira. Ku lunaku lwa Sabbaato, n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, nga bwe yali amanyidde okukola. N'asituka okusoma ebyawandiikibwa.
17
Ne bamukwasa ekitabo kya Yisaaya omulanzi. Bwe yakibikkula, n'atuuka awawandiikiddwa nti:
18
“Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, kubanga yanjawula okutegeeza abaavu Amawulire Amalungi. Yantuma okutegeeza abasibe nti bajja kuteebwa, ne bamuzibe nti bajja kulaba. Era yantuma okuwonya abanyigirizibwa,
19
n'okulangirira ekiseera kya Mukama eky'okukwatirwamu abantu ekisa.”
20
Awo Yesu bwe yabikkako ekitabo, n'akiddiza omuweereza, era n'atuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso.
21
Awo n'atandika okubagamba nti: “Olwaleero kino ekyawandiikibwa kye muwulidde, kituukiridde.”
22
Bonna ne bamusemba, era ne beewuunya olw'ebigambo ebirungi bye yayogera, ne bagamba nti: “Ono si ye mutabani wa Yosefu?”
23
Yesu n'abagamba nti: “Ddala mujja kundeetera olugero olugamba nti: ‘Omusawo, weewonye.’ Era mujja kuŋŋamba nti: ‘Bye wakolera e Kafarunawumu, bye twawulira, bikolere na wano mu kibuga ky'ewammwe.’ ”
24
Era n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti tewali mulanzi ayanirizibwa mu kitundu ky'ewaabwe.
25
Naye ge mbagamba ge mazima nti mu mirembe gya Eliya waaliwo bannamwandu bangi mu Yisirayeli. Mu biseera ebyo, eggulu lyesiba, enkuba n'etetonnya okumala emyaka esatu n'emyezi mukaaga, enjala n'egwa nnyingi mu nsi yonna.
26
Kyokka Eliya teyatumibwa wadde ew'omu ku bo, wabula yatumibwa wa nnamwandu e Sareputa mu nsi y'e Sidoni.
27
Era mu mirembe gya Elisa omulanzi waaliwo abagenge bangi mu Yisirayeli, kyokka tewaali n'omu ku bo yawonyezebwa, wabula Naamani yekka Omusiriya.”
28
Abantu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro bwe baawulira ebyo, ne bajjula obusungu,
29
ne basituka, ne bamuggya mu kibuga nga bamusindiikiriza, ne bamutwala ku kagulungujjo k'olusozi olwazimbibwako ekibuga kyabwe, balyoke bamukasuke wansi.
30
Kyokka Yesu n'abayitamu wakati, n'agenda.
31
Awo Yesu n'agenda e Kafarunawumu, ekibuga eky'omu Galilaaya. Ku lunaku lwa Sabbaato n'abayigiriza.
32
Ne beewuunya nnyo engeri gye yayigirizaamu: yayigiriza nga nnannyinibuyinza.
33
Mu kkuŋŋaaniro mwalimu omuntu eyaliko omwoyo omubi, n'aleekaana nnyo nti:
34
“Otulanga ki ggwe Yesu Omunazaareeti? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi. Ggwe Mutuukirivu wa Katonda.”
35
Yesu n'aboggolera omwoyo omubi nti: “Sirika mangu, n'omuntu ono muveeko.” Omwoyo omubi bwe gwamala okusuula omuntu oyo wakati waabwe, ne gumuvaako nga tegulina kabi konna ke gumukoze.
36
Bonna ne batya, ne beebuuzaganya nti: “Ekigambo kye kya ngeri ki? Olaba emyoyo emibi agiragiza maanyi na buyinza ne giva ku bantu!”
37
Ettutumu lye ne libuna wonna wonna mu kitundu ekyo.
38
Awo Yesu n'ava mu kkuŋŋaaniro, n'ayingira mu nnyumba ya Simooni. Nnyina muka Simooni yali alwadde omusujja mungi. Ne beegayirira Yesu amuwonye.
39
Yesu n'agenda n'ayimirira awali omulwadde, n'alagira omusujja ne guwona. Amangwago abadde omulwadde n'ayimuka, n'atandika okubaweereza.
40
Enjuba ng'egudde, bonna abaalina abalwadde ab'endwadde eza buli ngeri, ne babaleeta awali Yesu, n'akwata ku buli mulwadde n'amuwonya.
41
Emyoyo emibi nagyo ne giva ku bantu bangi, nga gireekaana nti: “Ggwe Mwana wa Katonda!” Yesu n'agiboggolera, n'atagikkiriza kwogera, kubanga gyali gimumanyi nti ye Kristo.
42
Obudde bwe bwakya, Yesu n'alaga mu kifo ekitaalimu bantu. Abantu bangi ne bamunoonya okutuusa lwe baamulaba, era ne bagezaako okumuziyiza aleme okubavaako.
43
Kyokka ye n'abagamba nti: “Ebibuga ebirala nabyo nteekwa okubitegeeza Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka bwa Katonda, kubanga natumibwa lwa nsonga eyo.”
44
Awo n'ategeeza abantu ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'omu Buyudaaya.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24