bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 12
Luke 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
1
Mu kiseera ekyo, abantu nkumi na nkumi bwe baakuŋŋaana ne batuuka n'okulinnyaganako, Yesu n'asookera ku bayigirizwa be n'abagamba nti: “Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo, bwe bukuusa.
2
Buli kintu ekikwekeddwa kirikwekulwa, era buli ekikisiddwa, kirimanyibwa.
3
Byonna bye mwali mwogedde mu nzikiza, birirangirirwa mu musana, ne kye mwali mwogedde mu kaama mu bisenge, kirirangirirwa ku ntikko z'ennyumba.
4
“Mbagamba mmwe mikwano gyange nti temutyanga abo abatta omubiri, oluvannyuma nga tebalina kisingawo kye bayinza kukola.
5
Naye ka mbalage gwe muteekwa okutya: mutyenga Katonda alina obuyinza ng'amaze okutta, okusuula mu muliro ogutazikira. Weewaawo mbagamba nti: mumutyenga!
6
“Enkazaluggya ttaano tezigula busente mpa we buzira? Naye tewali wadde emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda.
7
Era n'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zonna mbale. Temutya, muli ba muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi.
8
“Era mbagamba nti buli anjatula mu maaso g'abantu, n'Omwana w'Omuntu alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda.
9
Naye oyo anneegaana mu maaso g'abantu, alyegaanibwa mu maaso ga bamalayika ba Katonda.
10
“Era buli ayogera obubi ku Mwana w'Omuntu, alisonyiyibwa; naye oyo avuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa.
11
Bwe babatwalanga mu makuŋŋaaniro, oba mu maaso g'abalamuzi oba ag'ab'obuyinza, temweraliikiriranga bwe munaddamu oba kye munaayanukula, oba kye munaayogera.
12
Mwoyo Mutuukirivu alibategeeza mu kiseera ekyo kyennyini, bye musaanidde okwogera.”
13
Awo omu mu kibiina ky'abantu, n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by'obusika bwaffe.”
14
Yesu n'amugamba nti: “Owange, ani yanteekawo okubalamula oba okubagabanyizaamu ebyammwe?”
15
Awo n'agamba abaaliwo nti: “Mutunule era mwekuume okululunkanira ebintu, kubanga obulamu bw'omuntu tebuba mu bya kufuna ne bw'aba na bingi bitya.”
16
Awo n'abagerera olugero ng'agamba nti: “Waaliwo omuntu omugagga eyalina ennimiro, n'eyeza ebibala.
17
Ne yeebuuza mu mutima gwe nti: ‘Kiki kye nnaakola? Sirina we nnaateeka bibala byange!’
18
N'agamba nti: ‘Kiikino kye nnaakola. Nja kumenyawo ennyumba zange mwe ntereka, nzimbe ezisingawo obunene. Omwo mwe nnaatereka ebirime byonna eby'empeke, n'ebintu byange ebirala.
19
Olwo ndigamba omwoyo gwange nti mwoyo gwange, olina ebintu bingi ebiterekeddwa okumala emyaka mingi. Wummula, olye, onywe, osanyuke!’
20
Kyokka Katonda n'amugamba nti: ‘Musirusiru ggwe! Mu kiro kino obulamu bwo bwa kukuggyibwako. Kale by'otegese binaaba by'ani?’
21
Bw'atyo bw'aba eyeeterekera ebyobugagga, sso nga si mugagga mu bya Katonda.”
22
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Kyenva mbagamba nti temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya, newaakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala.
23
Obulamu bwa muwendo okusinga emmere, n'omubiri gwa muwendo okusinga ebyokwambala.
24
Mutunuulire nnamuŋŋoona. Tasiga, takungula, era talina kisenge wadde ennyumba mw'atereka, naye Katonda amuwa emmere. Mmwe temusinga nnyo ebinyonyi?
25
Era ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongera wadde ekiseera ekitono ku buwanvu bw'obulamu bwe?
26
Kale oba nga temuyinza kukola wadde ekintu ekitono ng'ekyo, lwaki mweraliikirira ebirala?
27
Mutunuulire amalanga. Tegakola mulimu, wadde okuluka engoye, naye mbagamba nti newaakubadde Solomooni mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go.
28
Oba nga Katonda ayambaza bw'atyo omuddo oguliwo mu nnimiro olwaleero, ate enkeera ne gusuulibwa ku kikoomi, talisingawo nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono?
29
“Mmwe temwemaliranga ku kunoonya kye munaalya, oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga.
30
Ebyo byonna abantu ab'ensi bye beemalirako. Mmwe Kitammwe amanyi nti bino mubyetaaga.
31
Naye mwemalirenga ku Bwakabaka bwe, ebyo nabyo biribaweebwa.
32
“Temutya, mmwe ekibiina ekitono, kubanga Kitammwe yasiima okubawa Obwakabaka.
33
Mutunde ebintu byammwe, mugabire abaavu, mwekolere ensawo ezitaggwaamu nsimbi, mweterekere obugagga obutaggwaawo mu ggulu, omubbi gy'atatuuka, era eteri nnyenje kubwonoona,
34
kubanga obugagga bwammwe gye buba n'omutima gwammwe gye guba.
35
“Mube beetegefu nga mwesibye ebimyu byammwe, era n'ettaala zammwe nga zaaka.
36
Era mube ng'abantu abalindirira mukama waabwe okudda ng'ava ku mbaga ey'obugole, balyoke bamuggulirewo amangwago nga yaakakonkona.
37
Ba mukisa abaddu abo, mukama waabwe bw'alijja, b'alisanga nga batunula. Mazima mbagamba nti alyesiba ekimyu n'abatuuza okulya, n'agenda ng'abaweereza.
38
Singa ajja ekiro mu luwalo olwokubiri oba olwokusatu olw'okukuuma, n'abasanga bwe batyo, abaddu abo ba mukisa.
39
Era mumanye kino nti singa nnannyini nnyumba amanya essaawa omubbi gy'anajjiramu, yanditunudde, n'ataleka nnyumba ye kumenyebwa na kuyingirwa.
40
Nammwe mubenga beetegefu, kubanga Omwana w'Omuntu alijjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.”
41
Peetero n'agamba nti: “Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe oba olugeredde bonna?”
42
Mukama waffe n'agamba nti: “Kale ani omuwanika omwesigwa omwegendereza, mukama we gw'aliteekawo okulabirira abaweereza be, abawe omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo?
43
Wa mukisa omuddu oyo, mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo.
44
Mazima mbagamba nti alimuteekawo okulabirira ebintu bye byonna.
45
Naye omuddu oyo singa agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aluddewo okujja,’ n'atandika okukuba abaddu n'abazaana, era n'atandika okulya n'okunywa, n'okutamiira,
46
kale mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atamulindirira, ne mu ssaawa gy'atamanyi. Alimutemamu wabiri, n'amuteeka wamu n'abatakkiriza.
47
“Ate omuddu eyamanya mukama we ky'ayagala, kyokka n'atategeka oba n'atakola nga mukama we bw'ayagala, alikubibwa emiggo mingi.
48
Wabula oyo ataamanya, n'akola ekimusaanyiza okukubibwa, alikubwa mitono. Buli eyaweebwa ebingi, alisabibwa bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, balimubuuza ebisingawo ku bye yateresebwa.
49
“Najja kukoleeza muliro ku nsi. Singa nno gwase!
50
Nnina okubatizibwa kwe ŋŋenda okubatizibwamu, era neeraliikirira nnyo okutuusa lwe kulituukirizibwa.
51
Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbagamba nti si bwe kiri, wabula okwawukana.
52
Okuva kati, abataano mu nnyumba emu balyesalamu, abasatu ne bawakanya ababiri, n'ababiri ne bawakanya abasatu.
53
Bano balyesalamu: nnyina w'omwana ne muwala we; omuwala ne nnyina; nnyazaala ne muka mwana we; muka mwana ne nnyazaala we.”
54
Ate n'agamba n'ebibiina by'abantu nti: “Bwe mulaba ekire nga kiva ebugwanjuba, amangwago mugamba nti: ‘Enkuba eneetonnya.’ Era bwe kityo bwe kiba.
55
Era empewo ey'omu bukiikaddyo bw'efuuwa, mugamba nti: ‘Omusana gujja kwaka nnyo.’ Era bwe kiba.
56
Bakuusa mmwe! Mumanyi okunnyonnyola amakulu g'endabika y'ensi n'ey'eggulu. Kale lwaki temumanyi makulu ga kiseera kino?
57
“Lwaki mmwe mwennyini temwesalirawo kituufu?
58
Bw'oba ng'ogenda ew'omulamuzi n'omuntu akuwawaabira, fuba okutabagana naye nga mukyali mu kkubo, aleme okukutwala ew'omulamuzi, n'omulamuzi okukuwa omuserikale, n'omuserikale n'akusuula mu kkomera.
59
Nkugamba nti omwo tolivaamu okutuusa lw'olisasula ssente esembayo.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24