bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 6
Luke 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
1
Awo olwatuuka, ku lunaku lwa Sabbaato, Yesu bwe yali ng'ayita mu nnimiro z'eŋŋaano, abayigirizwa be ne banoga ku birimba, ne babikunya mu bibatu byabwe, ne balya.
2
Abafarisaayo abamu ne bagamba nti: “Lwaki mukola ekitakkirizibwa okukolebwa ku Sabbaato?”
3
Awo Yesu n'abaddamu nti: “Temusomangako Dawudi kye yakola, ye ne be yali nabo bwe baalumwa enjala?
4
Yayingira mu Nnyumba ya Katonda, n'atoola n'alya ku migaati egyali giweereddwayo eri Katonda, era n'awaako n'abaali naye, sso nga kyali tekikkirizibwa emigaati egyo okuliibwako abantu abalala, wabula bakabona bokka.”
5
Awo Yesu n'agamba Abafarisaayo nti: “Omwana w'Omuntu alina obuyinza okusalawo ekisaanye okukolebwa ku Sabbaato.”
6
Ku Sabbaato endala, Yesu n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'ayigiriza. Mu kkuŋŋaaniro mwalimu omuntu ow'omukono ogwa ddyo ogukaze.
7
Abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne beekaliriza Yesu amaaso, balabe oba ng'era anaawonya ku Sabbaato, balyoke bafune ensonga kwe banaasinziira okumuwawaabira.
8
Yesu yamanya ebirowoozo byabwe, n'agamba omuntu ow'omukono ogukaze nti: “Situka oyimirire bonna we bayinza okukulabira.” N'asituka n'ayimirira awo.
9
Yesu n'abagamba nti: “Mbabuuza mmwe: kiki ekikkirizibwa ku Sabbaato? Kukola bulungi, oba bubi? Kuwonya bulamu, oba kubuzikiriza?”
10
Awo bonna n'abeebunguluza amaaso, n'agamba omuntu oyo nti: “Omukono gwo gugolole.” N'agugolola, ne guwonera ddala.
11
Naye abalabe ba Yesu ne bajjula obusungu, ne beebuuzaganya kye banaakola Yesu.
12
Awo mu nnaku ezo, Yesu n'alaga ku lusozi okusinza Katonda, n'amala ekiro kyonna ng'asinza.
13
Obudde bwe bwakya, n'ayita abayigirizwa be. Mu bo n'alondamu kkumi na babiri, n'abafuula abatume,
14
be bano: Simooni, gwe yatuuma Peetero, ne Andereya muganda wa Simooni oyo, ne Yakobo, ne Yowanne, ne Filipo, ne Barutolomaayo,
15
ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo mutabani wa Alufaayo, ne Simooni ayitibwa Omulwanirizi w'eddembe ly'eggwanga lye,
16
ne Yuda muganda wa Yakobo, ne Yuda Yisikaryoti, eyamulyamu olukwe.
17
Awo Yesu n'aserengeta nabo, n'ayimirira mu kifo eky'omuseetwe, awaali wakuŋŋaanidde abayigirizwa be abangi n'abantu abalala bangi nnyo, abaava mu Buyudaaya bwonna ne mu kibuga Yerusaalemu, era ne mu kitundu eky'olubalama lw'ennyanja, ekirimu ebibuga Tiiro ne Sidoni.
18
Abantu bano bonna bajja okumuwuliriza era n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Era abo abaali bateganyizibwa emyoyo emibi, ne bawonyezebwa.
19
Abantu bonna baagezangako okumukwatako, kubanga obuyinza bwavanga mu ye ne buwonya bonna.
20
Awo Yesu n'atunuulira abayigirizwa be, n'agamba nti: “Muli ba mukisa abaavu, kubanga Obwakabaka bwa Katonda bwammwe.
21
“Muli ba mukisa abalumwa enjala kaakano, kubanga mulikkusibwa. “Muli ba mukisa abakaaba kaakano, kubanga mulisanyuka.
22
“Muli ba mukisa abantu bwe banaabakyawanga, bwe banaabagobaganyanga, bwe banaabavumanga era bwe banaabayitanga ababi, nga babalanga Omwana w'Omuntu.
23
Musanyuke nga babayisizza bwe batyo, era mubuuke olw'essanyu, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene. Bwe batyo ne bajjajjaabwe bwe baayisa abalanzi.
24
“Naye mmwe abagagga, muli ba kubonaabona, kubanga essanyu lyammwe mumaze okulifuna.
25
“Mmwe kaakano abakkuse, muli ba kubonaabona, kubanga mulirumwa enjala. Mwe kaakano abaseka, muli ba kubonaabona kubanga mulinakuwala era mulikaaba.
26
“Muli ba kubonaabona mmwe, abantu bwe banaabatendanga, kubanga ne bajjajjaabwe bwe batyo bwe baatendanga abalanzi ab'obulimba.
27
“Naye abampuliriza mbagamba nti: mwagalenga abalabe bammwe, mukolerenga bulungi ababakyawa.
28
Musabirenga omukisa abo ababakolimira. Ababavuma mubasabirenga eri Katonda.
29
Omuntu bw'akukubanga ku ttama, omukyusizanga n'eddala. Era omuntu bw'akuggyangako ekkooti yo, omulekeranga n'ekkanzu.
30
Buli abangako ky'akusaba omuwanga, n'oyo akuggyangako ebibyo, tomusabanga kubikuddiza.
31
Mukolerenga abalala ebyo nammwe bye mwagala babakolere.
32
“Singa mwagala abo bokka ababaagala mmwe, muba mukoze ki ekibasiimisa? Aboonoonyi nabo baagala abo ababaagala!
33
Era singa mukolera bulungi abo bokka ababakolera mmwe ebirungi, muba mukoze ki ekibasiimisa? Aboonoonyi nabo kye bakola!
34
Era singa muwola abo bokka be musuubira okubasasula, muba mukoze ki ekibasiimisa? Aboonoonyi nabo bawola boonoonyi bannaabwe, nga ba kusasulwa kyonna kye bawoze.
35
Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe, era mubakolerenga ebirungi. Muwolenga nga temusuubira kusasulwa. Olwo empeera yammwe eriba nnene, era muliba baana ba Katonda Atenkanika, kubanga ye wa kisa eri abatasiima n'ababi.
36
Mube ba kisa nga Kitammwe bw'ali ow'ekisa.
37
“Temusalanga musango, nammwe tegulibasalirwa. Temusaliranga balala musango kubasinga, nammwe tegulibasalirwa kubasinga. Musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa.
38
Mugabenga, nammwe muligabirwa. Bye mulifuna biribapimirwa mu kipimo ekituufu ekikkatiddwa, ne kisuukundibwa, ne kijjulira ddala ne kibooga. Ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, era kye kirikozesebwa okupimira mmwe.”
39
Awo Yesu n'abagerera olugero, nti: “Muzibe takulembera muzibe munne. Singa amukulembera, bombi bagwa mu bunnya.
40
Ayigirizibwa tasinga amuyigiriza, wabula buli ayigirizibwa bw'amala okuyigirizibwa obulungi, aba ng'oyo amuyigirizza.
41
“Lwaki otunuulira akasubi akali ku liiso lya muganda wo, kyokka n'otofa ku kisiki ekiri ku liryo?
42
Oyinza otya okugamba muganda wo nti: ‘Muganda wange, leka nzigye akasubi ku liiso lyo’, sso nga ggwe wennyini tofa ku kisiki ekiri ku liryo? Mukuusa ggwe, sooka oggye ekisiki ku liiso eriryo, olwo olyoke osobole okulaba obulungi, n'okuggya akasubi ku liiso lya muganda wo.
43
“Omuti omulungi tegubala bibala bibi, n'omuti omubi tegubala bibala birungi.
44
Buli muti gumanyirwa ku bibala byagwo. Ebibala by'omutiini tebabinoga ku busaana, n'ebibala by'emizabbibu tebabinoga ku kawule.
45
“Omuntu omulungi, aggya ku birungi ebiri mu mutima gwe okukola ebirungi, n'omuntu omubi, aggya ku bibi ebiri mu mutima gwe, okukola ebibi. Ebijjula mu mutima gw'omuntu, akamwa ke bye koogera.
46
“Lwaki mumpita nti: ‘Mukama waffe, Mukama waffe’, ate ne mutakola bye mbagamba?
47
Buli ajja gye ndi, n'awuliriza ebigambo byange, era n'abikolerako, ka mbalage nga bw'afaanana.
48
Afaanana ng'omuntu eyazimba ennyumba ng'asimye omusingi, ne gukka nnyo wansi okutuuka ku lwazi. Omugga bwe gwajjula ne gwalaala, ne gukuluggukira awali ennyumba eyo, kyokka ne gutasobola kuginyeenya, kubanga yazimbibwa bulungi.
49
Wabula omuntu awulira ebigambo byange n'atabikolerako, afaanana ng'omuntu eyazimba ku ttaka eryokungulu nga tasimye musingi. Omugga bwe gwakuluggukira w'eri, n'egwa amangwago, n'emenyekerawo ddala.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24