bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 14
Luke 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
1
Awo olwatuuka, Yesu bwe yayingira ku Sabbaato mu nnyumba y'omu ku bakulembeze b'Abafarisaayo okulya emmere, bo ne bamwekaliriza amaaso.
2
Omuntu omulwadde w'entumbi yali awo mu maaso ga Yesu.
3
Yesu n'agamba abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo nti: “Kikkirizibwa okuwonya ku Sabbaato, oba nedda?”
4
Naye bo ne basirika. Awo Yesu n'amukwatako, n'amuwonya, n'amusiibula.
5
N'agamba nti: “Ani ku mmwe, endogoyi ye oba ente ye bw'egwa mu luzzi atagiggyaamu mangwago ku lunaku lwa Sabbaato?”
6
Ne batayinza kino kukiddamu.
7
Yesu bwe yalaba abayitiddwa ku mbaga nga beeroboza ebifo ebisinga okuba ebyekitiibwa, n'abagerera olugero, n'abagamba nti:
8
“Omuntu bw'akuyitanga ku mbaga ey'obugole, totuulanga mu kifo ekisinga okuba ekyekitiibwa, sikulwa nga wabaawo omulala akusinga ekitiibwa ayitiddwa,
9
oli eyabayise mwembi, n'ajja n'akugamba nti: ‘Viira ono mu kifo,’ olwo n'ogenda okutuula mu kifo ekisembayo, ng'oswadde.
10
Naye bw'oyitibwanga, ogendanga n'otuula mu kifo ekisembayo, oli eyakuyise bw'ajja, alyoke akugambe nti: ‘Munnange, sembera eno waggulu,’ olwo olissibwamu ekitiibwa mu maaso ga bonna b'otudde nabo okulya.
11
Buli eyeegulumiza, alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza, aligulumizibwa.”
12
Ate n'agamba n'oyo eyamuyita nti: “Bw'ofumbanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo oba baganda bo, oba ab'ekika kyo, oba baliraanwa bo abagagga, si kulwa nga nabo bakuyita, n'osasulwa.
13
Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga baavu, bakateeyamba, balema, bamuzibe.
14
Olwo oliba n'omukisa, kubanga tebalina kya kukusasula. Katonda alikusasula ng'abalungi bazuukidde.”
15
Awo omu ku baali batudde awamu okulya bwe yawulira ebyo, n'agamba nti: “Wa mukisa oyo alirya emmere mu Bwakabaka bwa Katonda!”
16
Yesu n'amugamba nti: “Waaliwo omuntu eyafumba embaga ennene, n'ayita bangi.
17
Obudde obw'embaga bwe bwatuuka, n'atuma omuddu we okugamba abayitiddwa nti: ‘Mujje, kubanga byonna bimaze okutegekebwa.’
18
Naye bonna, nga bali ng'abaalagaanye, ne batandika okwewolereza. Eyasooka yagamba nti: ‘Naguze ekibanja, nteekwa okugenda okukirambula. Nkwegayiridde, nsonyiwa.’
19
Omulala n'agamba nti: ‘Naguze emigogo gy'ente etaano, era ŋŋenda kugigeza. Nkwegayiridde, nsonyiwa.’
20
N'omulala n'agamba nti: ‘Nawasizza omukazi, n'olwekyo siyinza kujja.’
21
“Awo omuddu n'addayo, bino n'abibuulira mukama we. Olwo nnannyinimu n'asunguwala, n'agamba omuddu we nti: ‘Fuluma mangu, oyiteeyite mu nguudo ne mu buguudo bw'ekibuga, oleete wano abaavu ne bakateeyamba ne bamuzibe n'abalema.’
22
Omuddu n'agamba nti: ‘Mukama wange, kye walagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ekifo.’
23
Mukama w'omuddu oyo n'amugamba nti: ‘Fuluma, oyiteeyite mu makubo ne mu bukubo, obawalirize okuyingira, ennyumba yange ejjule.
24
Mbagamba nti ku basajja abo abaabadde bayitiddwa, tewali anaalya ku mbaga yange.’ ”
25
Abantu bangi nnyo baali bagenda ne Yesu, n'abakyukira n'abagamba nti:
26
“Singa omuntu ajja gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina, ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, wadde n'obulamu bwe bwennyini, tayinza kuba muyigirizwa wange.
27
Buli ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.
28
“Kale ani ku mmwe aba ayagala okuzimba omunaala, atasooka kutuula n'abalirira ebyetaagibwa, alabe oba ng'alina ebimala?
29
Sikulwa ng'amala okuteekawo omusingi, n'atasobola kumaliriza, bonna abalaba ne batandika okumusekerera
30
nga bagamba nti: ‘Omuntu ono yatandika okuzimba, n'atasobola kumaliriza?’
31
“Oba kabaka ki aba agenda okulwanyisa kabaka omulala mu lutalo, atasooka kutuula n'alowooza oba ng'ayinza, n'abantu omutwalo ogumu, okusisinkana oli amulumba n'abantu emitwalo ebiri?
32
Bw'aba nga tayinza, atuma ababaka ng'oli akyali wala, n'asaba batabagane.
33
Kale bwe kityo buli omu ku mmwe ateefiiriza byonna by'alina, tayinza kuba muyigirizwa wange.
34
“Omunnyo gwa mugaso, naye singa omunnyo gusaabulukuka, gunazzibwamu gutya obuka bwagwo?
35
Guba tegukyagasa mu ttaka, wadde awateekebwa ebigimusa, bagusuula busuuzi. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24