bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 5
Luke 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
1
Lwali lumu, Yesu bwe yali ayimiridde ku lubalama lw'ennyanja Gennesareeti, abantu bangi ne bajja nga basindikagana, batuuke w'ali okuwulira ekigambo kya Katonda.
2
Yesu n'alaba amaato abiri nga gali awo ku lubalama, ng'abavubi bagavuddemu era nga booza obutimba bwabwe.
3
Awo n'asaabala mu limu ku maato ago, eryali erya Simooni, n'asaba Simooni alisembezeeyo katono okuva ku lukalu, n'ayigiriza abantu ng'atudde mu lyo.
4
Bwe yamaliriza okwogera, n'agamba Simooni nti: “Eryato lyongereyo ebuziba, mutege obutimba bwammwe, mukwase ebyennyanja.”
5
Simooni n'amugamba nti: “Mukama wange, ekiro kyonna twateganye ne tutakwasa kantu. Naye olw'okubanga olagidde, obutimba ka mbutege.”
6
Awo bwe baabutega, ne bakwasa ebyennyanja bingi nnyo, era obutimba bwabwe ne buba kumpi okukutuka.
7
Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato eddala, bajje babayambe. Ne bajja, ne bajjuza amaato gombi ebyennyanja, ne gaba kumpi okusaanawo.
8
Simooni Peetero bwe yalaba kino, n'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu, n'agamba nti: “Ndeka Mukama wange, kubanga nze ndi muntu mwonoonyi!”
9
Peetero yayogera bw'atyo kubanga ye ne bonna be yali nabo, baali bakwatiddwa entiisa olw'obungi bw'ebyennyanja bye baakwasa.
10
Mu ngeri ye emu Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo, era banne ba Simooni, ne bakwatibwa entiisa. Awo Yesu n'agamba Simooni nti: “Totya, okuva kati, ojja kuba muvubi wa bantu.”
11
Bwe baakomyawo amaato gaabwe ku lukalu, ne baleka byonna, ne bagenda ne Yesu.
12
Lwali lumu, Yesu bwe yali mu kibuga ekimu, ne wajjawo omusajja ajjudde ebigenge. Bwe yalaba Yesu, n'afukamira, n'amwegayirira nti: “Ssebo, singa oyagala, oyinza okumponya.”
13
Yesu n'agolola omukono n'amukwatako, n'agamba nti: “Njagala, wona.” Amangwago ebigenge ne bimuwonako.
14
Yesu n'amugaana okubuulirako omuntu n'omu, wabula n'amulagira nti: “Genda weeyanjule ewa kabona, oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira, balyoke bakakase nti owonye.”
15
Kyokka ettutumu lya Yesu ne lyeyongera bweyongezi okubuna, era abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaananga okumuwuliriza, era n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe.
16
Wabula emirundi egimu Yesu yavangawo, n'alaga mu bifo ebitaalimu bantu, n'asinza Katonda.
17
Awo, ku lunaku olumu, Yesu bwe yali ng'ayigiriza, waaliwo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka nga batudde awo. Baali bavudde mu byalo byonna eby'e Galilaaya n'eby'e Buyudaaya era ne mu kibuga Yerusaalemu. Amaanyi ga Katonda gaali ne Yesu, ne gamusobozesa okuwonya abalwadde.
18
Awo ne wajjawo abasajja abaaleeta omuntu akonvubye. Baamuleetera ku katanda, ne bagezaako okumuyingiza n'okumuteeka awali Yesu.
19
Olw'obungi bw'abantu, ne balemwa okuzuula we bamuyisa okumuyingiza. Ne balinnya waggulu ku kasolya k'ennyumba, ne bakasereekululako ekitundu, ne bamuyisa mu mwagaanya ogwo ng'ali ku katanda, ne bamussa mu bantu wakati awali Yesu.
20
Yesu bwe yalaba nga balina okukkiriza, n'agamba nti: “Mwana wange, ebibi byo mbikusonyiye.”
21
Awo abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne batandika okwebuuzaganya nti: “Ono ye ani? Yeeyita Katonda? Ggwe kale ani alina obuyinza okusonyiwa ebibi, okuggyako Katonda yekka?”
22
Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'abagamba nti: “Mwebuuza ki mu mitima gyammwe?
23
Ekisingako obwangu kye kiruwa: okugamba nti ‘Ebibi byo mbikusonyiye,’ oba nti: ‘Yimirira, otambule?’
24
Kaakano ka mbalage nti Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n'agamba akonvubye nti: “Yimirira, weetikke akatanda ko, oddeyo ewammwe.”
25
Amangwago omusajja n'ayimirira, bonna nga balaba, n'asitula akatanda kw'abadde agalamidde, n'addayo ewuwe ng'agulumiza Katonda.
26
Bonna ne beewuunya, ne bagulumiza Katonda, era entiisa n'ebakwata, ne bagamba nti: “Olwaleero tulabye ebyewuunyisa!”
27
Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'ava mu kifo ekyo, n'alaba omusolooza w'omusolo ayitibwa Leevi, ng'atudde we basolooleza omusolo. Yesu n'amugamba nti: “Jjangu, oyitenga nange.”
28
Leevi n'asituka, n'aleka awo byonna, n'amugoberera.
29
Era mu maka ge, n'afumbira Yesu embaga nnene. Abasolooza b'omusolo bangi nnyo era n'abantu abalala ne batuula ne balya wamu nabo.
30
Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne beemulugunya nga bagamba abayigirizwa ba Yesu nti: “Lwaki muliira era ne munywera wamu n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?”
31
Yesu n'abaddamu nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde.
32
Abalungi si be najja okuyita beenenye, wabula aboonoonyi.”
33
Awo abantu abamu ne bagamba Yesu nti: “Abayigirizwa ba Yowanne basiiba emirundi mingi era ne beegayirira Katonda, n'abayigirizwa b'Abafarisaayo nabo bwe bakola, naye ababo balya era banywa.”
34
Yesu n'abagamba nti: “Abayite ku mbaga y'obugole temuyinza kubagaana kulya, ng'awasizza omugole akyali nabo.
35
Naye ekiseera kijja kutuuka, awasizza omugole abaggyibweko. Olwo nno balitandika okusiiba.”
36
Era n'abagerera olugero nti: “Omuntu tayuza kiwero mu lugoye luggya n'akitunga mu lugoye lukadde. Singa akola kino, olugoye oluggya alussaamu ekituli, ate olugoye olukadde ne lutasaaniramu kiwero kiggya.
37
Era omwenge ogw'emizabbibu omusu tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa.
38
Wabula omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya.
39
N'ekirala, omuntu amanyidde okunywa omwenge ogw'emizabbibu omukulu, tayagala musu, kubanga agamba nti: ‘Omukulu gwe gusinga okuwooma.’ ”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24