bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 1
1 Kings 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 2 →
1
Kabaka Dawudi bwe yakaddiwa, ng'ayise mu myaka, ne bwe baamubikkanga engoye, nga tabuguma.
2
Abaweereza be kwe kumugamba nti: “Kabaka ka bamunoonyezeeyo akawala embeerera, kamuweerezenga, kamujjanjabenga; kajjanga kwebaka mu mikono gye, mukama waffe kabaka afune ku kabugumu.”
3
Ne banoonya akawala akabalagavu mu Yisirayeli mwonna, ne bazuula Abisagi ow'e Sunemu, ne bakaleeta ewa kabaka.
4
Kaali kawala kabalagavu nnyo; ne kajjanjabanga kabaka, era nga kamuweereza, kyokka kabaka teyayisa Abisagi nga mukazi we.
5
Kati nno Adoniya mutabani wa Kaggiti yeesowolayo, n'agamba nti: “Nze nzija kubeera kabaka.” Ne yeefunira ebigaali n'abeebagazi, n'abasajja amakumi ataano ab'okumukulemberangamu nga badduka.
6
Mu bulamu bwe kitaawe yali tamunakuwazangako mulundi na gumu ng'amubuuza nti: “Lwaki okoze kino oba kiri?” Era naye yali mulungi nnyo mu ndabika, era nga y'addirira Abusalomu mu buzaale.
7
Yeebuuza ku Yowabu mutabani wa Zeruya ne Abiyatari kabona, ne bawagira Adoniya.
8
Naye Zadoki kabona, Benaaya mutabani wa Yoyada, Natani omulanzi, Semeyi, Reyi, n'eggye ly'abakuumi ba Dawudi, abo tebaali ne Adoniya.
9
Adoniya n'atambira endiga, ente, n'obuyana obusavuwaze okumpi n'Ejjinja ly'e Zokereti, eryali liriraanye Eni-Rogeli; n'ayita baganda be bonna, batabani ba kabaka n'abasajja bonna aba Yuda abaali abakungu ba kabaka;
10
naye teyayita Natani omulanzi, Benaaya, eggye lyonna ne Solomoni muganda we.
11
Natani n'agamba Batuseba nnyina Solomoni nti: “Owulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggiti bw'afuuse kabaka, nga mukama waffe Dawudi takimanyi nako?
12
Kale nno gano ge magezi ge nkuwa okuwonya obulamu bwo n'obwa mutabani wo Solomoni.
13
Yingira ewa kabaka Dawudi omugambe nti: ‘Mukama wange kabaka, si ggwe walayirira omuzaana wo nze, n'ogamba nti: “Solomoni mutabani wo y'alinsikira ku bwa kabaka, yennyini y'alituula ku nnamulondo yange?” Lwaki ate Adoniya afuuse kabaka?’
14
Onooba okyayogera ne kabaka, nange we najjira nga nkugoberera, ne nkakasa by'oyogera.”
15
Batuseba n'ayingira ewa kabaka gy'asula; kabaka yali akaddiye nnyo. Abisagi ow'e Sunemu yali awo ng'amujjanjaba.
16
Batuseba n'akutama wansi n'avunnamira kabaka. Kabaka n'amugamba nti: “Oyagala ki?”
17
N'ayanukula nti: “Mukama wange, ggwe walayirira omuzaana wo, ng'olayira Omukama Katonda wo nti: ‘Solomoni mutabani wo y'alinsikira ku bwakabaka, yennyini y'alituula ku nnamulondo yange;’
18
ate kati wuuno Adoniya afuuse kabaka, ate ggwe mukama wange kabaka tokimanyi nako.
19
Atambidde ente, obuyana obusavuwaze n'endiga nkumu, ayise batabani ba kabaka, Abiyatari kabona ne Yowabu omuduumizi w'eggye; naye Solomoni omuweereza wo tamuyise.
20
Kyokka, ayi mukama wange kabaka, Yisirayeli yenna amaaso agatadde ku ggwe, obabuulire ani ow'okutuula ku nnamulondo ya mukama wange kabaka akuddirire.
21
Bw'otookole otyo, mukama wange kabaka bw'alimala okugalamira ne bajjajjaabe, nze ne mutabani wange Solomoni tugenda kuyisibwa ng'abazzi b'emisango.”
22
Aba akyayogera ne kabaka, Natani omulanzi n'ajja.
23
Ne babuulira kabaka nti: “Natani omulanzi ali wano.” Bwe yayingira ewa kabaka, n'agwa ku ttaka nga yeevuunise ku maaso ge, n'amuvunnamira,
24
Natani n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, ggwe olangiridde nti: ‘Adoniya anzirire ku bwakabaka, yennyini atuule ku nnamulondo yange?’
25
Kubanga olwa leero yaserengese, n'atambira bingi: ente, obuyana obusavuwaze n'endiga; n'ayita batabani ba kabaka bonna n'abakulu b'eggye, ne Abiyatari kabona; kati bali mu kulya na kunywa mu maaso ge nga bwe bagamba nti: ‘Kabaka Adoniya awangaale!’
26
Naye nze, omuweereza wo, Zadoki kabona, Benaaya mutabani wa Yoyada ne Solomoni omuweereza wo teyatuyise.
27
Kati kino mukama wange kabaka ky'akoze nga tategeezezza ku baweereza be ow'okutuula ku nnamulondo ya mukama wange kabaka amuddirire?”
28
Kabaka Dawudi n'agamba nti: “Mumpitire Batuseba.” N'ayingira awali kabaka, n'ayimirira mu maaso ge.
29
Kabaka n'alayira nti: “Mazima Omukama nga mulamu, eyawonya obulamu bwange mu buzibu bwonna,
30
nzija kukola olwa leero nga bwe nakulayirira mu maaso g'Omukama, Katonda wa Yisirayeli nti: ‘Solomoni mutabani wo y'aliba kabaka anansikira, yennyini n'atuula ku nnamulondo yange mu kifo kyange.’ ”
31
Batuseba n'akutama wansi ku maaso ge ku ttaka, n'avunnamira kabaka, n'agamba nti: “Awangaale, mukama wange kabaka Dawudi emirembe gyonna!”
32
Ne kabaka Dawudi n'agamba nti: “Mumpitire Zadoki kabona ne Natani omulanzi ne Benaaya mutabani wa Yoyada.” Ne bajja, ne bayimirira mu maaso ga kabaka.
33
Kabaka n'abagamba nti: “Mugende n'abakuumi ba Mukama wammwe, musse Solomoni mutabani wange ku nnyumbu yange, mumuserengese mu Gikoni.
34
Zadoki kabona ne Natani omulanzi bamusiigire eyo omuzigo abeere kabaka wa Yisirayeli. Olwo mufuuwe eŋŋombe nga mugamba nti: ‘Kabaka Solomoni awangaale!’
35
Mujja kwambuka naye; anajja n'atuula ku nnamulondo yange; yennyini y'anaafuga mu kifo kyange. Oyo mmulonze abeere omukulembeze wa Yisirayeli ne Yuda.”
36
Benaaya mutabani wa Yoyada n'ayanukula kabaka n'agamba nti: “Amiina! Omukama Katonda wa mukama wange kabaka bw'aba ayogera.
37
Nga Omukama bwe yali ne mukama wange kabaka, bw'atyo bw'aba abeera ne Solomoni, nnamulondo ye agisukkulumye n'okusinga ku ya mukama wange kabaka Dawudi.”
38
Kabona Zadoki n'aserengeta ne Natani omulanzi, Benaaya mutabani wa Yoyada, Abakereti n'Abapeleti, ne bassa Solomoni ku nnyumbu ya kabaka Dawudi ne bamutwala mu Gikoni.
39
Zadoki kabona n'addira ejjembe ly'omuzigo lye yaggya mu Weema n'asiiga Solomoni. Ne bafuuwa eŋŋombe, abantu ne baleekaana nti: “Kabaka Solomoni awangaale!”
40
Abantu bonna ne bayambuka nga bamugoberera; nga bafuuwa endere, nga bajaguza bulala, n'ettaka ne liduduma olw'oluyoogaano lwabwe.
41
Adoniya na bonna abaali naye be yali ayise ne bawulira; baali bamaliriza bati okulya. Ne Yowabu bwe yawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'abuuza nti: “Oluyoogaano mu kibuga lwaki?”
42
Aba akyayogera, Yonatani, mutabani wa Abiyatari kabona, n'ajja. Adoniya n'amugamba nti: “Yingira, kubanga ggwe oli musajja mwesigwa, oteekwa okuba ng'oleese amawulire malungi.”
43
Yonatani n'ayanukula Adoniya nti: “Wa nno! Mukama waffe kabaka Dawudi ataddewo Solomoni, ye kabaka.
44
Yamutaddeko Zadoki kabona, Natani omulanzi, Benaaya mutabani wa Yoyada, Abakereti ne Abapeleti, ne bamuteeka ku nnyumbu ya kabaka,
45
Zadoki kabona ne Natani omulanzi ne bamusiiga omuzigo mu Gikoni abeere kabaka. Ne bambuka nga bava eyo nga bakuba emizira, ekibuga ne kiwuuma; eryo lye ddoboozi lye muwulira.
46
Ate Solomoni yatudde dda ku nnamulondo y'obwakabaka.
47
N'abaweereza ba kabaka ne bayagaliza omukisa mukama waabwe kabaka Dawudi nga bagamba nti: ‘Katonda wo asukkulumye erinnya lya Solomoni n'okusinga erinnya lyo, ne nnamulondo ye ebeere ya kitiibwa okusinga eyiyo.’ Ne kabaka n'avunnama mu kitanda kye,
48
era n'ayogera na bino nti: ‘Omukama, Katonda wa Yisirayeli agulumizibwe anzikirizza ne ndaba ku musika atudde ku nnamulondo yange olwa leero.’ ”
49
Bonna Adoniya be yali ayise, ne batya, ne basituka, buli omu n'agenda.
50
Adoniya, olw'okutya Solomoni, n'asituka n'agenda ne yeekwata ku mayembe g'omwaliiro.
51
Ne babuulira Solomoni nti: “Adoniya wuuli atidde kabaka Solomoni, yeekutte ku mayembe g'omwaliiro, agamba nti: ‘Olwa leero kabaka Solomoni andayirire nti tatte muweereza we na kitala.’ ”
52
Solomoni n'addamu nti: “Bw'aneeyisa obulungi, n'oluviiri olumu luti teruumuve ku mutwe kugwa ku ttaka; naye bw'anaaba ow'omutawaana, wa kufa.”
53
Kabaka Solomoni n'atumya, ne bamuwanulayo ku mwaliiro. Bwe yayingira, n'avunnamira kabaka Solomoni, Solomoni n'amugamba nti: “Genda ewuwo.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22