bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 3
1 Kings 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 4 →
1
Solomoni n'afuuka muko ewa Faraawo kabaka w'e Misiri, n'awasa muwala we. N'amuleeta mu Kibuga kya Dawudi, okutuusa lwe yamala okuzimba olubiri lwe n'Ekiggwa ky'Omukama ne bbugwe okwetooloola Yeruzaalemu.
2
Naye abantu baali bakyatambiriranga ku bifo ebigulumivu, kubanga n'okutuusa ku olwo, ekiggwa kyali tekinnazimbirwa linnya lya Mukama.
3
Solomoni yayagala Omukama ng'agoberera amateeka ga kitaawe Dawudi, kyokka ng'aweereza ebitambiro n'okwokya obubaani ku bifo ebigulumivu.
4
Awo kabaka n'agenda e Gibewoni atambiririreyo, kubanga eyo ye waali ekifo ekisingira ddala obugulumivu. Ku mwaliiro Solomoni n'aweererezaako ebitambiro ebyokye lukumi.
5
Mu Gibewoni Omukama n'alabikira Solomoni ekiro mu kirooto, n'agamba nti: “Saba kyonna ky'oyagala, nkuwe.”
6
Solomoni n'agamba nti: “Ggwe wakwatirwa nnyo omuweerezaawo Dawudi ekisa, kubanga yatambuliranga mu maaso go mu mazima ne mu butuukirivu n'omutima omuluŋŋamu. Oyongedde okumukuumira ekisa kino ekingi bw'owadde mutabani we atuule ku nnamulondo ye olwa leero.
7
Kale nno, ayi Mukama Katonda wange, omuweereza wo omufudde kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Sso nze ndi mwana muto, simanyi bwe naddukanya mirimu gyange.
8
Ate omuweereza wo ali mu bantu be walonda, eggwanga eddene, abatayinza kubalika wadde kuteeberezeka bungi.
9
Kale nno omuweereza wo muwe omutima omutegeevu, asobole okulamula abantu bo n'okwawula ekirungi n'ekibi. Kale ani ayinza okulamula eggwanga lyo lino ekkulu liti?”
10
Omukama n'asanyuka okulaba nga Solomoni ekyo kye yasaba.
11
Katonda n'agamba Solomoni nti: “Kubanga kino ky'osabye, n'oteesabira kuwangaala, wadde obugagga oba okufa kw'abalabe bo, wabula ne weesabira okulamula mu butuufu,
12
kale nzija kukukolera nga bw'osabye: nzija kukuwa omutima omutegeevu, omugezi; mu baakukulembera tewabanga, ne mu balikuddirira teriba akufaanana.
13
Ate nzija kukuwa na bino by'otosabye: obugagga n'ekitiibwa; mu bakabaka tewalibaawo akwenkana ennaku zonna.
14
Bw'olitambulira mu makubo gange, n'okwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange nga kitaawo Dawudi bwe yakola, ndikuwangaaza ebbanga ggwanvu.”
15
Solomoni n'asisimuka, kozzi nga kibadde kirooto! Bwe yadda e Yeruzaalemu, n'ayimirira mu maaso g'Essanduuku y'Omukama, n'aweereza ebitambiro ebyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu, n'abaweereza be bonna n'abafumbira embaga.
16
Olumu abakazi babiri bamalaaya bajja ewa kabaka, ne bayimirira mu maaso ge.
17
Omu ku bo n'agamba nti: “Ssebo, mukama wange, nze n'omukazi ono, tubadde tusula mu nnyumba emu; nazaala nga ndi naye mu nnyumba.
18
Nga wayise ennaku ssatu okuva nze lwe nazaala, n'ono n'azaala; twali ffekka, mu nnyumba temwalimu muntu mulala, twali bwa babiri ffeka mu nnyumba.
19
Omwana ow'omukazi ono n'afa ekiro, oluvannyuma lw'okumwebakira nga yeebase.
20
Awo kwe kuzuukuka mu ttumbi, n'aggya omwana owange ku lusegere lwange omuzaana wo nga neebase, n'amuteeka mu mikono gye, owuwe eyali afudde n'amuteeka mu mikono gyange.
21
Bwe nazuukuka ku makya nnyonse omwana wange, nga mufu! Bwe namwekkaanya ng'obudde bukedde ne ndaba nga si y'oyo gwe nali nzadde.”
22
Omukazi omulala n'ayanukula nti: “Si bwe kiri, omwana owange ye mulamu, owuwo ye mufu.” N'oli n'awakana nti: “Olimba. Omwana owuwo ye yafudde, owange mulamu.” Bwe batyo bwe baakaayanira mu maaso ga kabaka.
23
Awo kabaka n'agamba nti: “Ono agamba nti: ‘Omwana owange ye mulamu, owuwo mufu;’ n'oli n'ayanukula nti: ‘Nedda, owuwo omwana ye mufu, owange mulamu.’ ”
24
Awo kabaka n'agamba nti: “Mundeetere ekitala.” Ne baleetera kabaka ekitala.
25
Kabaka n'agamba nti: “Omwana omulamu mumukutulemu wabiri, ekitundu ekimu mukiwe omu, n'ekirala mukiwe omulala.”
26
Omukazi nnyini mwana omulamu n'akwatibwa ekisaasaazi olw'omwana we, n'agamba kabaka nti: “Nkwegayiridde, mukama wange, omwana omulamu muwe oyo; tomutta.” Naye oli ye ng'agamba nti: “Nange siimufune, naawe toomufune; asalibwemu wabiri.”
27
Kabaka n'ayanukula n'agamba nti: “Omwana omulamu mumuwe ono eyasoose; temumutta; ono ye nnyina.”
28
Yisirayeli yenna n'awulira ensala eyo kabaka gye yasalamu, ne batya kabaka kubanga baalaba nga yalimu amagezi ga Katonda okumuyamba okulamula.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22