bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 2
1 Kings 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 3 →
1
Ennaku z'okufa kwa Dawudi bwe zaasembera, n'akuutira Solomoni mutabani we ng'agamba nti:
2
“Nzuuno ŋŋenda okukwata ekkubo ensi yonna ly'ekwata; guma, beera musajja,
3
era kwatanga Omukama Katonda wo bye yakukuutira: Tambulira mu makubo ge, okwatanga amateeka ge, ebiragiro bye, ennamula ye ne by'ayigiriza, nga bwe byawandiikibwa mu Tteeka lya Musa, lw'onooba n'omukisa mu byonna by'okola ne wonna w'onoogendanga,
4
Omukama alyoke akakase bye yansuubiza nti: ‘Abaana bo bwe balyekuuma ne baba beesigwa gye ndi n'omutima gwabwe gwonna n'omwoyo gwabwe gwonna, tojja kubulwa musajja ku nnamulondo ya Yisirayeli.’
5
“Naawe omanyi Yowabu, mutabani wa Zeruya bye yankola, ebyo bye yakola abagabe ababiri ab'eggye lya Yisirayeli: Abuneri mutabani wa Neri ne Amasa mutabani wa Yeteri, nga bwe yabatta; n'ayiwa bw'atyo omusaayi mu biseera eby'eddembe ogwandiyiiriddwa mu lutalo. Olw'ekyo yasiiga omusaayi omusipi gw'omu kiwato kye n'engatto z'ebigere bye.
6
Mukole ggwe mu magezi go ky'olaba, naye tolekanga mutwe gwe ogujjudde envi kukkirira magombe mu ddembe.
7
“Naye batabani ba Baruzillayi Abagileyaadi obagiriranga ekisa; babe mu abo abaliira ku mmeeza yo, kubanga lwe nali nziruka Abusalomu muganda wo banziruukirira.
8
Ewuwo olinayo ne Semeyi mutabani wa Gera, Omubenyamiini ow'e Bakurimu eyanvumirira n'ebikolimo ebikaawu ku lunaku lwe nagenda e Makanayimu. Bwe yakkirira gye nali ku Yorudani, namulayirira ew'Omukama, ne ŋŋamba nti: ‘Sijja kukutta na kitala.’
9
Naye kati tomuleka nga tabonerezeddwa; ggwe oli musajja mugezi, onoolaba ky'oba omukola, naye omutwe gwe ogujjudde envi gukkirize emagombe mu musaayi.”
10
Bw'atyo Dawudi n'agalamira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi.
11
Dawudi yafuga Yisirayeli emyaka amakumi ana; mu Keburoni yafugiramu emyaka musanvu, ate mu Yeruzaalemu emyaka amakumi asatu mu esatu.
12
Solomoni n'atuula ku nnamulondo ya kitaawe Dawudi, obwakabaka bwe ne bukakata ne bunywera.
13
Adoniya mutabani wa Kaggiti yajja ewa Batuseba nnyina Solomoni. Batuseba n'amubuuza nti: “Ozze lwa mirembe?” Ye n'ayanukula nti: “Lwa mirembe.”
14
N'ayongerako nti: “Ndiko kye nkugamba.” Batuseba n'amugamba nti: “Yogera.”
15
Ko ye nti: “Naawe omanyi ng'obwakabaka bwali bwange, Yisirayeli yenna yali amaze okunsemba mbeere kabaka we; naye ebintu byajjulukuka, obwakabaka ne buddira muganda wange; bwamujjira kuva wa Mukama.
16
Kale nno nnina kimu kyokka kye nkusaba; toŋŋaana.” Batuseba n'amugamba nti: “Yogera.”
17
Ye n'agamba nti: “Nkwegayiridde, gamba kabaka Solomoni - anti ggwe tayinza kukugaana kantu - Abisagi ow'e Sunemu abeere mukazi wange.”
18
Batuseba n'agamba nti: “Kale, nzija kukwogererayo ewa kabaka.”
19
Batuseba n'ajja ewa kabaka Solomoni atuuseeyo okusaba kwa Adoniya. Kabaka n'asituka okumusisinkana, n'amuvunnamira, n'atuula ku nnamulondo ye. N'atumya entebe ya nnyina kabaka, Batuseba n'amutuula ku gwa ddyo.
20
Batuseba n'amugamba nti: “Nkusaba akantu kamu, katono, toŋŋaana.” Kabaka n'amugamba nti: “Nnyabo, saba, kubanga siyinza kukugaana.”
21
N'agamba nti: “Leka Abisagi ow'e Sunemu aweebwe Adoniya muganda wo abeere mukazi we.”
22
Kabaka Solomoni n'ayanukula nnyina nti: “Lwaki Abisagi ow'e Sunemu omusabira Adoniya? Musabire nno n'obwakabaka. Anti ye mukulu wange, alina n'abawagizi: Abiyatari kabona ne Yowabu mutabani wa Zeruya.”
23
Solomoni kabaka n'alayira Omukama nti: “Omukama ankole bw'atyo, ate asinze nawo, singa Adoniya taasasule na bulamu bwe olw'ekyo ky'ayogedde.
24
Kale nno, mazima Omukama nga mulamu, oyo eyannyweza n'anteeka ku nnamulondo ya kitange Dawudi, n'anzimbira olulyo nga bwe yagamba, mazima Adoniya wa kuttibwa olwa leero.”
25
Kabaka Solomoni n'alagira Benaaya, mutabani wa Yoyada, n'amukuba, n'afa.
26
Kabaka yagamba Abiyatari kabona nti: “Ddayo e Anatoti ku butaka bwo, kubanga wali ogwanidde kufa, naye olwa leero sijja kukutta, kubanga weetikkanga Ssanduuku y'Omukama Katonda mu maaso ga Dawudi kitange, era naawe wayita mu bizibu byonna kitange bye yasanga.”
27
Bw'atyo Solomoni n'agoba Abiyatari ku bwakabona bw'Omukama, n'atuukiriza atyo Omukama kye yayogera ku nnyumba ya Eli mu Silo.
28
Ebigambo bwe byatuuka ku Yowabu, anti Yowabu yali yeekubidde ku Adoniya newandibadde nga yali tawagidde Abusalomu, Yowabu n'addukira mu weema y'Omukama ne yeekwata ku mayembe g'omwaliiro.
29
Ne babuulira kabaka Solomoni nti: “Yowabu addukidde mu weema y'Omukama, ali kumpi n'omwaliiro.” Solomoni n'atuma Benaaya mutabani wa Yoyada, n'amugamba nti: “Genda, omutte.”
30
Benaaya n'ajja ku weema y'Omukama n'agamba Yowabu nti: “Kabaka agambye nti: ‘Fuluma.’ ” Ko ye nti: “Sijja kufuluma; nzija kufiira wano.” Benaaya n'azzaayo ekigambo ewa kabaka nti: “Bino Yowabu by'ayogedde, era bino by'anzizeemu.”
31
Kabaka n'amugamba nti: “Kola nga bw'agambye, mutte, omuziike; onooba onzigyeeko n'ennyumba ya kitange omusango olw'omusaayi ogutaliiko musango Yowabu gwe yayiwa.
32
Omukama ajja kumuvunaana olw'okuyiwa omusaayi, kubanga yalumba n'atta abasajja babiri abalungi era abatuukirivu n'okumusinga, n'abassa ekitala nga kitange Dawudi tategedde: ye Abuneri mutabani wa Neri omuduumizi w'eggye lya Yisirayeli ne Amasa mutabani wa Yeteri omuduumizi w'eggye lya Yuda.
33
Yowabu n'ezzadde lye bavunaanibwenga okuyiwa omusaayi kuno emirembe gyonna; naye eddembe ly'Omukama libeere ku Dawudi, ku zzadde lye, ku nnyumba ye ne ku nnamulondo ye emirembe gyonna.”
34
Benaaya mutabani wa Yoyada n'ayambuka, n'akuba Yowabu, n'amutta; Yowabu n'aziikibwa mu nnyumba ye mu ddungu.
35
Kabaka n'afuula Benaaya omuduumizi w'eggye mu kifo kya Yowabu; Zadoki kabona n'amuzza mu kifo kya Abiyatari.
36
Kabaka yatumya Semeyi n'amugamba nti: “Weezimbire ennyumba mu Yeruzaalemu osule eyo; tovangamu kulaga walala.
37
Olunaku lw'olivaamu n'osomoka Ekiwonvu Kiduroni manya nti oli wa kufa; omusaayi gwo gulibeera ku mutwe gwo.”
38
Semeyi n'agamba kabaka nti: “Oyogedde bulungi, mukama wange kabaka; nga bw'oyogedde n'omuweereza wo bw'atyo bw'anaakola.” Semeyi n'abeera mu Yeruzaalemu ennaku nnyingi.
39
Naye olumu, nga waayiseewo emyaka esatu, abaddu ba Semeyi babiri baamuddukako ne bajja ewa Akisi, mutabani wa Maaka, kabaka w'e Gati. Ne babuulira Semeyi nti: “Abaddu bo bali mu Gati.”
40
Semeyi n'asitukiramu, n'atandiika endogoyi ye, n'agenda e Gati ewa Akisi okunoonya abaddu be. Semeyi n'agenda n'akomyawo abaddu be okuva e Gati.
41
Bwe baabuulira Solomoni nti Semeyi yavudde e Yeruzaalemu, n'agenda e Gati n'akomawo,
42
kabaka n'amutumya, n'amugamba nti: “Saakulayiza Omukama ne nkulabula nti: ‘Olunaku lw'olifuluma n'olaga awalala, omanyanga nti oli wa kufa?’ Wannyanukula nti: ‘Oyogedde bulungi, nzija kuwulira?’
43
Lwaki nno tewakuumye kirayiro kyo eri Omukama na kiragiro kye nali nkulagidde?”
44
Kabaka n'agamba Semeyi nti: “Naawe omanyi mu mutima gwo buli kibi kye wakola kitange Dawudi; Omukama akubonereze olw'obwonoonefu bwo.
45
Ye kabaka Solomoni aweebwe omukisa, ne nnamulondo ya Dawudi enywere mu maaso g'Omukama emirembe gyonna.”
46
Awo kabaka n'alagira Benaaya mutabani wa Yoyada; ye n'afuluma n'amukuba, n'amutta. Obwakabaka ne bunywera mu mikono gya Solomoni.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22