bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 22
1 Kings 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
1
Ne wayitawo emyaka esatu nga tewali lutalo wakati wa Aramu ne Yisirayeli.
2
Naye mu mwaka ogwokusatu Yosafati kabaka wa Yuda n'aserengeta okulaba ku kabaka wa Yisirayeli.
3
Kabaka wa Yisirayeli yali agambye abaweereza be nti: “Temumanyi nti Ramoti-Gileyaadi kyaffe? Ate ne tutabaako kye tukola kukiggya mu mikono gya kabaka wa Aramu?”
4
N'agamba Yosafati nti: “Onoogenda nange tulwanyise Ramoti Gileyaadi?”
5
Yosafati n'agamba kabaka wa Yisirayeli nti: “Nze ggwe, abantu bange be bantu bo, abeebagazi bange be beebagazi bo.” Naye Yosafati n'agamba kabaka wa Yisirayeli nti: “Nkwegayiridde, sooka weebuuze ku Mukama, olabe ky'agamba.”
6
Kabaka wa Yisirayeli n'akuŋŋaanya abalanzi, abasajja ebikumi bina, n'ababuuza nti: “Ŋŋende nnwanyise Ramoti-Gileyaadi oba mbiveeko?” Ne baanukula nti: “Genda, kubanga Omukama ajja kukiwaayo mu mikono gya kabaka.”
7
Naye Yosafati n'agamba nti: “Wano tewaliiwo mulanzi wa Mukama naye tumwebuzeeko?”
8
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yosafati nti: “Wasigaddewo omusajja omu mwe tuyinza okuyita okwebuuza ku Mukama; naye nze namukyawa, kubanga talanga kirungi ku nze, wabula kibi. Ye Mikaaya, mutabani wa Yimula.” Yosafati n'amugamba nti: “Kabaka teyandiyogedde bw'atyo.”
9
Kabaka wa Yisirayeli n'ayita omu ku baweereza be, n'amugamba nti: “Leeta mangu Mikaaya mutabani wa Yimula.”
10
Kabaka wa Yisirayeli ne Yosafati kabaka wa Yuda, buli omu yali atudde ku nnamulondo ye nga bayambadde emitanvuuwa gy'obwakabaka, mu gguuliro okumpi n'omuzigo gwa wankaaki wa Samariya, ng'abalanzi bonna bali awo mu maaso gaabwe balanga.
11
Kati nno Zedekiya mutabani wa Kenaana yali yeekoledde amayembe ag'ekyuma, n'agamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Na gano ojja kutomera Aramu okutuusa ng'omuzikirizza.’ ”
12
N'abalanzi bonna baali balanga kimu, nga bagamba nti: “Lumba Ramoti-Gileyaadi, ojja kuwangula. Omukama ajja kukiwaayo mu mikono gya kabaka.”
13
Omubaka eyali agenze okuyita Mikaaya yamugamba nti: “Abalanzi bonna wamu balanze kimu nti kabaka ajja kuwangula; naawe langa kye kimu, yogera bisanyusa.”
14
Mikaaya n'amugamba nti: “Mazima Omukama nga mulamu, kyokka Omukama ky'anaaba aŋŋambye, kye nnaayogera.”
15
Awo n'ajja ewa kabaka; kabaka n'amubuuza nti: “Mikaaya, ŋŋende nnwanyise Ramoti-Gileyaadi, oba mbireke?” N'amwanukula nti: “Lumba owangule! Kubanga Omukama ajja kukiwaayo mu mikono gya kabaka.”
16
Kabaka n'amugamba nti: “Nnaakomya wa okukulayizanga ombuulire mazima gokka mu linnya ly'Omukama.”
17
Ye n'amuddamu nti: “Nalaba Yisirayeli yenna ng'asaasaanye ku nsozi ng'endiga ezitaliiko musumba. Omukama n'agamba nti: ‘Bano tebaliiko akulembera; buli omu yeddireyo eka mu ddembe.’ ”
18
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yosafati nti: “Saakugambye nti ku nze talanga kirungi, wabula bulijjo ekibi?”
19
Mikaaya n'ayongera n'agamba nti: “Kale nno wulira ekigambo ky'Omukama: Nalaba Omukama ng'atudde ku nnamulondo ye, n'eggye lyonna ery'omu ggulu nga limuli ku ddyo ne ku kkono.
20
Omukama n'agamba nti: ‘Ani anaalimbalimba Akabu alumbe Ramoti-Gileyaadi afiireyo?’ Omu n'ateesa kino, n'omulala n'ateesa kiri.
21
Omwoyo gumu kwe kuvaayo ne guyimirira mu maaso g'Omukama, ne gugamba nti: ‘Nze nzija kumulimbalimba.’ Omukama n'agubuuza nti: ‘Onookikola otya?’
22
Ne gugamba nti: ‘Nzija kugenda mbeere omwoyo ogw'obulimba mu kamwa k'abalanzi be.’ Omukama n'agamba nti: ‘Ojja kumusendasenda, ekyo ojja kukisobola; genda okikole.’
23
Olabye nno! Omukama atadde omwoyo gw'obulimba mu kamwa k'abalanzi bo bonna abali wano. Omukama akwogerera kabi.”
24
Zedekiya, mutabani wa Kenaana n'ayambuka n'akuba Mikaaya oluyi mu mba nga bw'agamba nti: “Omwoyo gw'Omukama gwandeseewo gutya ne gujja gugamba ggwe?”
25
Mikaaya n'addamu nti: “Ekyo olikitegeera lw'oligenda mu kisenge okwekweka ebuziizi.”
26
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba nti: “Ggyawo Mikaaya omuzzeeyo ewa Amoni omukulu w'ekibuga, ewa Yowasi mutabani wa kabaka.
27
Omugamba nti: ‘Kabaka agambye nti: Omusajja ono mumuteeke mu kkomera, mumukuumire ku mugaati na mazzi byokka okutuusa nga nkomyeewo mirembe.’ ”
28
Mikaaya n'agamba nti: “Bw'okomangawo emirembe, mpozzi ng'Omukama teyayogeredde mu nze.” Awo n'agamba nti: “Abantu mwenna, muwulire.”
29
Kabaka wa Yisirayeli ne Yosafati kabaka wa Yuda ne balumba Ramoti-Gileyaadi.
30
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yosafati nti: “Nzija kugenda mu lutalo nga neefusizza, ggwe yambala ebyambalo by'obwakabaka.” Kabaka wa Yisirayeli ne yeefuusa mu maaso, n'ayingira mu lutalo.
31
Kabaka wa Aramu yali alagidde abagabe be amakumi asatu mu babiri ab'ebigaali nti: “Temulumba mulala yenna, muto oba mukulu, wabula kabaka wa Yisirayeli yekka.”
32
N'abagabe b'ebigaali bwe baalaba Yosafati ne bateebereza nti: “Oyo ddala ye kabaka wa Yisirayeli.” Ne bakyukira gy'ali bamulwanyise. Yosafati bwe yaleekaana,
33
abagabe b'ebigaali ne bategeera nga si ye kabaka wa Yisirayeli, ne balekeraawo okumugoba.
34
Naye omusajja omu, ng'amaze galeega musaale, yalasa kabaka wa Yisirayeli wakati w'obuyungiro bw'ekizibawo eky'oku kifuba. Kabaka n'agamba omugoba w'ekigaali nti: “Kyusa ekigaali onzigye mu lutalo kubanga banfumise.”
35
Olutalo ne luyinda olunaku lwonna; kabaka wa Yisirayeli ng'awaniriddwa mu kigaali kye ng'atunuulidde Abaaramu. Omusaayi gwakulukutanga okuva mu kiwundu, ne gukka wansi mu kigaali, akawungeezi n'afa.
36
Awo ng'enjuba egwa enduulu n'erawa mu ggye wonna nti: “Buli omu adde mu kibuga kye, adde mu nsi ye.”
37
Kabaka n'afa bw'atyo, n'aleetebwa mu Samariya; kabaka ne bamuziika mu Samariya.
38
Baayoza ekigaali kye mu kidiba ky'e Samariya, embwa ne zikomberera omusaayi gwe, ne bamalaaya ne bakinaabiramu, ng'Omukama bwe yali ayogedde.
39
Ebirala mu bifaayo bya Akabu, na byonna bye yakola, n'olubiri olw'amasanga lwe yazimba, n'ebibuga byonna bye yazimbako ebigo, byonna byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yisirayeli.
40
Akabu bw'atyo n'agalamira ne bajjajjaabe. Akaziya mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
41
Yosafati mutabani wa Asa yafuuka kabaka mu mwaka ogwokuna ogwa Akabu kabaka wa Yisirayeli.
42
Yosafati yali wa myaka amakumi asatu mu etaano we yafuukira kabaka; yafugira emyaka abiri mu etaano mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Azuba, muwala wa Siluki.
43
Yatambulira mu kkubo lyennyini erya kitaawe Asa, era teyalivaamu; yakola ekituufu mu maaso g'Omukama.
44
Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggyibwawo, abantu ne bongera okutambirirayo n'okunyookerezaayo obubaani.
45
Yosafati baali mirembe ne kabaka wa Yisirayeli.
46
Ebirala mu bifaayo bya Yosafati, obuzira bwe, n'entabaalo ze, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
47
Yamala mu nsi bamalaaya abasajja ab'omu kiggwa abaali basigadde mu budde bwa Asa kitaawe.
48
Olwo mu Edomu temwali kabaka, wabula mwalimu wassaza.
49
Kabaka Yosafati yali azimbye empingu y'amaato ey'e Tarusisi, esaabazenga zaabu okuva e Ofiri, naye teyasobola kusitula, kubanga amaato gaseseggukira e Eziyoni-Geberi.
50
Akaziya mutabani wa Akabu yali agambye Yosafati nti: “Abaweereza bange basaabale n'abaweereza bo mu maato.” Yosafati n'agaana.
51
Yosafati n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa nabo mu Kibuga kya Dawudi jjajjaawe; Yoramu mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
52
Akaziya, mutabani wa Akabu yafuuka kabaka mu Yisirayeli mu Samariya mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu ogwa Yosafati kabaka wa Yuda; yali kabaka wa Yisirayeli okumala emyaka amakumi abiri.
53
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama, kubanga yagoberera amakubo ga kitaawe ne nnyina, n'amakubo ga Yerobowamu mutabani wa Nebati eyaleetera Yisirayeli okugwa mu kibi.
54
Yaweereza Baali, n'amusinza, bw'atyo n'anyiiza Omukama, Katonda wa Yisirayeli ddala nga kitaawe bwe yali akoze.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22