bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 10
1 Kings 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 11 →
1
Nnaabakyala ow'e Saba yawulira ettutumu lya Solomoni n'engeri gy'assaamu ekitiibwa erinnya ly'Omukama, n'ajja okumugeza n'ebibuuzo ebizibu.
2
Yajja mu Yeruzaalemu n'entwala nnene nnyo: eŋŋamiya ezeetisse ebirungo, ne zaabu mungi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo, n'ajja ewa Solomoni, n'amugamba byonna ebyamuli ku mutima.
3
Solomoni n'amuddamu ebibuuzo bye byonna; tewaaliwo kyakaluubirira kabaka kumunnyonnyola.
4
Nnaabakyala w'e Saba bwe yalaba amagezi ga Solomoni gonna, olubiri lwe yali azimbye,
5
emmere ey'oku mmeeza ye, entuula y'abakungu be, entereera y'abasumaami be n'ebyambalo byabwe, abasenero be, n'ebitambiro ebyokye bye yaweerezanga mu Kiggwa ky'Omukama, n'awuniikirira,
6
n'agamba kabaka nti: “Bye nawulira mu nsi yange ku by'okola ne ku magezi go byali bya mazima.
7
Saasooka kukkiriza okutuusa nze kennyini lwe nzize ne neerabirako n'amaaso gange. Mazima ebyambuulirwa tebituuka na kyakubiri; mu magezi n'obugagga okirira wala olugambo lwe nawulira.
8
Bakazi bo nga beesiimye! Abaweereza bo abakuli awo mu maaso bulijjo nga bawulira amagezi go nga beesiimye!
9
Omukama Katonda wo agulumizibwe oyo eyakusiima n'akuteeka ku nnamulondo ya Yisirayeli. Kubanga Omukama yayagala Yisirayeli emirembe gyonna, kyeyava akussaawo obeere kabaka, okole ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu.”
10
N'awa kabaka zaabu aweza talenta kikumi mu abiri, n'ebirungo bingi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo; tewaddayo kuleetebwa birungo kwenkana mu bungi ebyo nnaabakyala w'e Saba bye yawa kabaka Solomoni.
11
N'empingu ya Kiramu eyaleetanga zaabu ng'emuggya e Ofiri, yaleetanga okuva e Ofiri emiti egy'entoogo mingi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo.
12
Mu miti egy'entoogo yakolamu empagi ez'okuwanirira Ekiggwa ky'Omukama n'olubiri lwa kabaka, era n'abajjamu ennanga n'entongooli eby'abayimbi. Emiti gy'entoogo egyenkana awo tegiddangayo kuleetebwa oba okulabibwako n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
13
Kabaka Solomoni n'awa nnaabakyala w'e Saba byonna bye yayagala ne bye yamusaba, ng'oggyeeko ebyo bye yamuwa okuva mu nkuluze ya kabaka. N'afunyamu n'adda mu nsi ye wamu n'abaweereza be.
14
Zaabu eyaleeterwanga Solomoni buli mwaka ng'aweza obuzito bwa talenta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,
15
ng'oggyeeko eyavanga mu basuubuzi ne ku ntwala y'abatunzi, n'eyaleetebwanga bakabaka b'omu Arabiya n'abaamasaza mu nsi.
16
Era kabaka Solomoni yakola engabo ebikumi bibiri mu zaabu omukubeekube; beka lukaaga eza zaabu ze zaagenda ku ngabo emu.
17
Yakola engabo entonotono ebikumi bisatu eza zaabu omukubeekube; mina ebikumi bisatu ze zaagenda ku ngabo emu. Kabaka yabissa mu Lubiri lw'Ekibira kya Lebanoni.
18
Era kabaka yakola nnamulondo ennene mu masanga, n'agibikka zaabu omusengejje.
19
Nnamulondo yalina amadaala mukaaga; waggulu wa weesigamwa nga weekulungirivu; erudda n'erudda wa buli mukono gwayo ng'eriyo ebifaananyi by'empologoma; bbiri zaali ziyimiridde mu mbiriizi z'emikono.
20
N'empologoma kkumi na bbiri zaali ziyimiridde ku madaala, mukaaga ku buli ludda. Teri bwakabaka bulala bwali bukoleddwa kintu kifaanana kiti.
21
Na byonna kabaka Solomoni mwe yanyweranga byalinga bya zaabu; ebikozesebwa byonna mu Lubiri lw'Ekibira kya Lebanoni byali bya zaabu omusengejje. Tewaali kikole mu ffeeza, kubanga mu budde bwa Solomoni ffeeza teyabalibwanga ng'eky'omuwendo.
22
Anti Kabaka yalina empingu y'e Tarusisi ku nnyanja wamu n'empingu ya Kiramu, buli myaka esatu yakomangawo ng'ereese zaabu, ffeeza, amasanga, enkobe n'amazike.
23
Solomoni yali mututumufu okusinga bakabaka bonna ab'ensi mu bugagga ne mu magezi.
24
Ensi yonna yanoonyanga okulaba ku Solomoni, bawulire amagezi Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.
25
Buli mwaka, buli eyajjanga yamuleeteranga ebirabo: ebibya ebya ffeeza n'ebya zaabu, ebyambalo, ebyokulwanyisa, ebirungo, embalaasi n'ennyumbu.
26
Solomoni yakuŋŋaanya ebigaali n'embalaasi; yalina ebigaali lukumi mu ebikumi bina, n'embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri bye yakuumiranga mu bibuga by'ebigaali, n'ebimu ng'ali nabyo mu Yeruzaalemu.
27
Kabaka yafuula ffeeza mu Yeruzaalemu okuba ekintu ekya bulijjo ng'amayinja; n'emiti gy'entolookyo nga gya mwero nga bw'olaba emikunyu gy'omu Sefela.
28
Embalaasi za Solomoni zaalagirizibwanga mu Misiri ne mu Kuwe; abasuubuzi ba kabaka baazisuubulanga mu Kuwe.
29
Mu Misiri ekigaali baakigulangayo ku sekeli za ffeeza lukaaga, ate embalaasi ku sekeli kikumi mu ataano. Era baaziragiririzangayo bakabaka bonna ab'Abakitti n'Abaaramu.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22