bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 15
1 Kings 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 16 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obwakabaka bwa Yerobowamu, mutabani wa Nebati, Abiya n'afuuka kabaka wa Yuda.
2
Yafugira emyaka esatu mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Maaka muwala wa Abisalomu.
3
Yakola ebibi byonna kitaawe eyamukulembera bye yali akoze, n'omutima gwe tegwemaliza Mukama Katonda we obutafaanana ng'omutima gwa bwe gwali.
4
Naye olw'okubeera Dawudi, Omukama Katonda we yamuwa omumuli mu Yeruzaalemu, n'asitusaawo mutabani we ow'okumusikira, okukuuma Yeruzaalemu nga kigumu.
5
Kubanga Dawudi yakola ekituufu mu maaso g'Omukama, era teyawunjukako ku ebyo byonna bye yali amulagidde ennaku zonna ez'obulamu bwe, okuggyako ekigambo kya Wuriya Omukitti.
6
Entalo tezaatanga wakati wa Rekobowamu ne Yerobowamu obulamu bwabwe bwonna.
7
Ebirala mu bifaayo bya Abiya na byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda. Entalo tezaatanga wakati wa Abiya ne Yerobowamu.
8
Abiya n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi; Asa mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
9
Mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa Yerobowamu kabaka wa Yisirayeli, kabaka Asa n'afuuka kabaka wa Yuda.
10
Yafugira mu Yeruzaalemu okumala emyaka amakumi ana mu gumu. Nnyina ye Maaka muwala wa Abisalomu.
11
Asa yakola ekituufu mu maaso g'Omukama okufaanana nga Dawudi kitaawe.
12
Yagobawo mu nsi bamalaaya b'omu biggwa abasajja, n'ebifaananyi bya balubaale kitaawe bye yali akoze.
13
Ne Maaka nnyina n'amuggya ku bwa nnamasole, kubanga yakola ekyenyinyalwa eky'empagi ya Asera. Asa yasigulawo ekyenyinyalwa ky'empagi n'agyokera mu Kiwonvu Kiduroni.
14
Ebifo ebigulumivu teyabiggyawo, naye kwo okuba omutima gwa Asa gwemaliza Omukama ennaku ze zonna.
15
Yaleeta mu Kiggwa ky'Omukama ffeeza, zaabu n'ebintu ebikozesebwa ye ne kitaawe bye baali bawonzeeyo.
16
Entalo tezaatanga wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Yisirayeli ennaku zaabwe zonna.
17
Baasa kabaka wa Yisirayeli yalumba Yuda, n'azimba ekigo ku Rama wabulewo afuluma okugenda oba ayingira ng'ava ewa Asa kabaka wa Yuda.
18
Asa n'addira ffeeza yenna ne zaabu eyali asigadde mu nkuluze y'Ekiggwa ky'Omukama ne mu nkuluze y'olubiri lwa kabaka, n'abiwa abaweereza be, n'abiweereza ewa Beni-Adadi mutabani wa Taburimmoni, mutabani wa Keziyoni, kabaka wa Aramu eyafugiranga e Damasiko, n'agamba nti:
19
“Tukole endagaano wakati wange naawe, ng'eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo; kyenvudde nkuweereza ebirabo ebya ffeeza ne zaabu, era nkusaba omenyewo endagaano gy'olina ne Baasa kabaka wa Yisirayeli, anveeko.”
20
Beni-Adadi n'akkiriza ebya Asa, n'asindika abagabe b'eggye mu bibuga bya Yisirayeli, ne bakuba Yiyoni, Daani, Abeli-Beti-Maaka, Kinnereti n'ensi yonna eya Nafutali.
21
Baasa bwe yawulira bino, n'alekera awo okuzimba Rama, n'addayo e Tiruza.
22
Kabaka Asa n'ayita Yuda yenna, awatali kutaliza n'omu; ne baggya e Rama amayinja n'emiti Baasa bye yali azimbisa, kabaka Asa n'abyeyamba okuzimba Geba ekya Benyamiini ne Mizupa.
23
Ebirala mu bifaayo byonna ebya Asa, obuwanguzi bwe, byonna bye yakola, n'ebibuga bye yazimba, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda. Kyokka mu bukadde bwe ebigere bye byalwala.
24
N'agalamira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa wamu nabo mu Kibuga kya Dawudi jjajjaawe. Yosafati mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
25
Nadabu mutabani wa Yerobowamu yafuuka kabaka wa Yisirayeli mu mwaka ogwokubiri ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afuga Yisirayeli emyaka ebiri.
26
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama; yagoberera kitaawe mu makubo ge ne mu kibi kye kye yaleetera Yisirayeli okugwamu.
27
Baasa mutabani wa Akiya ow'omu nnyumba ya Yissakari yamwekobera n'amuttira e Gibbetoni ekibuga ky'Abafilisitiini, nga Nadabu ne Yisirayeli yenna bazinze Gibbetoni.
28
Baasa yamutta mu mwaka ogwokusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'amusikira ku bwakabaka.
29
Bwe yafuuka kabaka, n'atta ennyumba ya Yerobowamu yonna; teyatalizaamu muntu n'omu, bonna n'abasaanyaawo, ng'Omukama bwe yali agambye ng'ayita mu muweereza we Akiya ow'e Silo,
30
olw'okubeera ebibi bya Yerobowamu bye yali akoze n'aleetera ne Yisirayeli okubigwamu, n'olw'okubeera nga yanyiiza Omukama, Katonda wa Yisirayeli.
31
Ebirala mu bifaayo bya Nadabu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
32
Entalo tezaatanga wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Yisirayeli ennaku zaabwe zonna.
33
Mu mwaka ogwokusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya n'afuuka kabaka wa Yisirayeli mu Tiruza, yafugira emyaka amakumi abiri mu ena.
34
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama n'agoberera amakubo ga Yerobowamu n'ebibi bye bye yakola n'aleetera ne Yisirayeli okubigwamu.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22