bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 13
1 Kings 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 14 →
1
Ne wabaawo omuntu wa Katonda eyava mu Yuda, ng'Omukama y'amugambye, n'ajja e Beteli. Yerobowamu yali ayimiridde ku mwaliiro ng'anyookeza obubaani.
2
N'ayogera mu ddoboozi ddene ng'avumirira mwaliiro ng'Omukama bwe yali amugambye nti: “O, Mwaliiro! O, Mwaliiro! Omukama kino ky'agamba: ‘Mu nnyumba ya Dawudi mujja kuzaalibwamu omwana, erinnya lye Yosiya; ku ggwe alitambiririrako bakabona b'oku bifo ebigulumivu abakutambiririrako kati, era ku ggwe kulyokerwako amagumba g'abantu’ ”
3
Ku olwo n'awa akabonero, n'agamba nti: “Kano ke kabonero Omukama k'agambye: omwaliiro gujja kubumbulukuka, evvu ly'amasavu eririko liyiike.”
4
Kabaka bwe yawulira ekigambo ky'omuntu wa Katonda kye yalomera omwaliiro e Beteli, n'agolola omukono ng'ayima ku mwaliiro n'agamba nti: “Mumukwate.” Naye omukono gwe gwe yali amugololedde, ne gukala, nga tasobola kuguzza gy'ali.
5
Omwaliiro nagwo ne gubumbulukuka, evvu ly'amasavu ne liva ku mwaliiro ne liyiika ng'akabonero omuntu wa Katonda ke yali awadde bwe kaali ng'agoberera Omukama bye yali amugambye.
6
Kabaka n'agamba omuntu wa Katonda nti: “Negayiririra ew'Omukama Katonda wo, onsabire omukono gwange gunzirizeewo.” Omusajja ne yeegayirira Omukama, omukono gwa kabaka ne gumudizibwawo, ne guddayo nga bwe gwali.
7
Kabaka n'agamba omuntu wa Katonda nti: “Jjangu tugende eka wezzeemu ku ndasi, nzija kukuwa n'ekirabo.”
8
Omuntu wa Katonda n'ayanukula kabaka nti: “Ne bw'onooba wa kumpa kyakubiri kya lubiri lwo, sijja kugenda naawe, sijja kulya mmere, yadde okunywa amazzi mu kifo kino.
9
Bwe nalagiddwa ntyo mu kigambo ky'Omukama ekyandagidde nti: ‘Tolya mmere yadde okunywa amazzi; era ekkubo ly'okutte amagenda, toliddiramu.’ ”
10
Bw'atyo n'akwata ekkubo ddala; teyakwata liri lye yajjiramu e Beteli.
11
Kati nno waaliyo omulanzi omukadde eyabeeranga mu Beteli; batabani be ne bajja gy'ali, ne bamunyumiza byonna omuntu wa Katonda bye yali akoze mu Beteli ku olwo. Baabuulira kitaabwe n'ebigambo bye yali agambye kabaka.
12
Kitaabwe n'abuuza nti: “Yakutte kkubo ki?” Batabani be ne bamulaga ekkubo omuntu wa Katonda eyali avudde mu Yuda lye yali akutte.
13
N'agamba batabani be nti: “Muntandiikire endogoyi.” Bwe baamala okugimutandiikira, ne yeebagala.
14
Yawondera omuntu wa Katonda, n'amusanga ng'atudde wansi w'omuvule, n'amubuuza nti: “Ggwe muntu wa Katonda eyavudde mu Yuda?” N'ayanukula nti: “Ye nze.”
15
N'amugamba nti: “Jjangu tugende eka, olye ku mmere.”
16
N'agamba nti: “Sisobola kudda mabega ŋŋende naawe, yadde okulya oba okunywa amazzi mu kifo kino,
17
kubanga ekigambo ky'Omukama ky'aŋŋambye nti: ‘Mu kifo ekyo tolyayo emmere oba okunywayo amazzi, era ekkubo ly'okutte amagenda toliddiramu.’ ”
18
Omulanzi n'amugamba nti: “Nange ndi mulanzi, nga naawe bw'oli; nange mu kigambo ky'Omukama malayika yayogedde nange n'agamba nti: ‘Muleete, mujje mwembi ewuwo, alye ku mmere, anywe ne ku tuzzi.’ ” Naye yali amulimba.
19
Omuntu wa Katonda n'addayo naye, n'alya emmere mu nnyumba ye n'anywa n'amazzi.
20
Bwe baali batudde ku mmeeza, ekigambo ky'Omukama ne kijjira omulanzi eyamukomyawo,
21
n'agamba n'eddoboozi ddene omuntu wa Katonda eyali avudde mu Yuda nti: “Kino ky'agamba Omukama: Kubanga wajeemedde ekigambo ky'Omukama, n'otokwata kiragiro Omukama Katonda wo kye yakulagira,
22
n'okomawo n'olya emmere n'amazzi n'onywa mu kifo kino kye yakugambako nti: ‘Tolya emmere era tonywa amazzi,’ awo nno omulambo gwo teguliziikibwa mu ntaana ya bajjajjaabo.”
23
Omuntu wa Katonda bwe yamala okulya emmere n'okunywa, omulanzi eyamukomyawo n'amutandiikira endogoyi ye.
24
Bwe yali agenda, empologoma n'emusisinkana mu kkubo, n'emutta, omulambo gwe ne gugwa mu kkubo; byo endogoyi n'empologoma ne bisigala nga biyimiridde kumpi n'omulambo.
25
Abantu abaayita ekkubo eryo bwe baalaba omulambo nga gusuuliddwa mu kkubo n'empologoma ng'eyimiridde kumpi nagwo, ne bagenda ne babuulira ab'omu kibuga omulanzi omukadde mwe yabeeranga.
26
Omulanzi eyali amukomezzaawo okuva mu lugendo lwe bwe yakiwulira, n'agamba nti: “Ye muntu wa Katonda eyajeemera ekigambo ky'Omukama. Omukama amugabudde empologoma; emutaaguddetaagudde n'emutta ng'Omukama bwe yabadde amugambye.”
27
Omulanzi n'agamba batabani be nti: “Muntandiikire endogoyi.” Ne bagitandiika.
28
N'agenda, n'asanga omulambo gwe nga gusuuliddwa mu kkubo, endogoyi n'empologoma nga biguyimiridde awo kumpi; empologoma teyalya mulambo, yadde okutaagula endogoyi.
29
Omulanzi omukadde n'asitulawo omulambo gw'omuntu wa Katonda, n'agussa ku ndogoyi, n'agukomyawo mu kibuga kye okumukungubagira n'okumuziika.
30
Omulambo yaguziika mu ntaana ye yennyini, ne bamukungubagira, ye ng'agamba nti: “Kitalo, muganda wange!”
31
Bwe baamala okumuziika, n'agamba batabani be nti: “Bwe nfanga, munziikanga mu ntaana omuntu wa Katonda mw'aziikiddwa, amagumba gange ku lusegere lw'amagumba ge.
32
Kubanga tewali kuwannaanya, ekigambo kye yalanga mu kigambo ky'Omukama ng'avumirira omwaliiro mu Beteli n'ebiggwa mu bifo ebigulumivu mu bibuga by'e Samariya ddala kigenda kutuukirira.”
33
Ebyo ne bwe byagwaawo, Yerobowamu teyaleka n'akatono makubo ge mabi, wabula yagenda mu maaso n'okulondera ebifo ebigulumivu bakabona ng'amala gabaggya mu buli bantu. Buli eyayagalanga okufuuka kabona, ng'amusiiga omuzigo n'amufuula kabona w'ebifo ebigulumivu.
34
Mw'ekyo, ennyumba ya Yerobowamu yakola ekibi; ekibi kino kye kyagireetera okuzikirira n'esangulibwawo ddala ku nsi.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22