bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 21
1 Kings 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 22 →
1
Oluvannyuma, waliwo ekyagwawo: Naboti ow'e Yezureeli, yalina ennimiro y'emizabbibu mu Yezureeli, okumpi n'olubiri lwa Akabu kabaka wa Samariya.
2
Akabu n'agamba Naboti nti: “Mpa ennimiro yo ey'emizabbibu, nfuulewo ennimiro y'enva, nga bw'eriraanye wano okumpi n'olubiri lwange, mu kifo kyayo nkuweemu ennimiro y'emizabbibu esinga obulungi, oba, nga kwe kusiima kwo, nkuweemu omuwendo gwa ffeeza ogugigyamu.”
3
Naboti n'amwanukula nti: “Omukama ansaasire! Kikafuuwe nze okuwaayo obusika bwa bajjajjange.”
4
Akabu n'addayo mu lubiri lwe nga munakuwavu, musunguwavu, olwa Naboti ow'e Yezureeli kye yali amugambye nti: “Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange.” Ne yeebaka ku kitanda kye, n'akyukira eri, n'agaana n'okulya emmere.
5
Yezebeli mukazi we n'ayingira gy'ali n'amugamba nti: “Lwaki omutima gwo munakuwavu gutyo? Lwaki ogaanyi okulya?”
6
N'amuddamu nti: “Kubanga nayogedde ne Naboti ow'e Yezureeli, ne mmugamba nti: ‘Nguza ennimiro yo ey'emizabbibu otwale sente, oba, nga ky'osiimye, mu kifo ky'eno nkuweemu endala.’ Ye n'agamba nti: ‘Sijja kukuwa nnimiro yange ya mizabbibu.’ ”
7
Yezebeli mukazi we n'amugamba nti: “Bw'oti bw'okola nga kabaka wa Yisirayeli? Situka, olye emmere, ddamu omwoyo, nze nzija kukufunira ennimiro ya Naboti ow'e Yezureeli ey'emizabbibu.”
8
Awo n'awandiika ebbaluwa mu linnya lya Akabu n'azissaako akabonero ke, n'aziweereza abakadde n'abakungu, abaabeeranga ne Naboti mu kibuga kye.
9
Mu bbaluwa mwalimu bino: “Mulangirire ekisiibo; Naboti mumutuuze ku mwanjo mu bantu.
10
Musseewo abasajja babiri empongabyoya bamulumirize nti: ‘Yavumirira Katonda ne kabaka.’ Olwo mumufulumye, mumukube amayinja, afe.”
11
Abantu b'omu kibuga kye, abakadde n'abakungu bwe baabeeranga ne Naboti mu kibuga, ne bakola nga Yezebeli bwe yali alagidde, nga bwe yali awandiise mu bbaluwa ze yabaweereza.
12
Ne balangirira ekisiibo, Naboti ne bamutuuza ku mwanjo mu bantu.
13
Abasajja babiri empongabyoya ne bayingira ne batuula mu maaso ge; ne balumiriza Naboti mu maaso g'abantu nga bagamba nti: “Naboti yavumirira Katonda ne kabaka.” Olw'okubeera ekyo, ne bamufulumya ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja, n'afa.
14
Ne batumira Yezebeli nga bagamba nti: “Naboti akubiddwa amayinja era afudde.”
15
Yezebeli bwe yawulira nti Naboti akubiddwa amayinja era afudde, n'agamba Akabu nti: “Situka, weetwalire ennimiro y'emizabbibu eya Naboti ow'e Yezureeli eyagaana okugikuguza, kubanga Naboti takyali mulamu, afudde.”
16
Akabu bwe yakiwulira nti Naboti afudde, n'asituka n'aserengeta ku nnimiro ya Naboti ow'e Yezureeli ey'emizabbibu agitwale.
17
Ekigambo ky'Omukama ne kijjira Eliya Omutisube nga kigamba nti:
18
“Situka, serengeta osisinkane Akabu kabaka wa Yisirayeli ali mu Samariya, wuuli ali mu nnimiro ya Naboti ey'emizabbibu, gy'aserengese agitwale.
19
Mugambe nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Osse, oyongeddeko n'okutwala.’ Ng'omaze ebyo, omugambe nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Mu kifo embwa we zikombereredde omusaayi gwa Naboti, we zirikombererera n'ogugwo.’ ”
20
Akabu n'agamba Eliya nti: “Era onsanze, ggwe omulabe wange?” N'amugamba nti: “Nkusanze, kubanga weetunda, okole ekibi mu maaso g'Omukama.
21
Kale nno nange nzija kukuleetera akabi, nzija kusaanyaawo ezzadde lyo lyonna, nzite buli ayitibwa omusajja mu Yisirayeli ow'omu nnyumba ya Akabu, abeere muddu oba mwana wa ddembe.
22
Ennyumba yo nzija kugikola nga bwe nakola ennyumba ya Yerobowamu mutabani wa Nebati, n'ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya, kubanga onnyiizizza ate n'oleetera ne Yisirayeli okugwa mu kibi.”
23
Ku Yezebeli Omukama n'agamba nti: “Embwa zijja kulya Yezebeli mu nnimiro ya Yezureeli.
24
Abava mu Akabu abaliba bafiiridde mu kibuga, embwa ziribakavvula, abaliba bafiiridde ku ttale ebinyonyi eby'omu bbanga biribalya.”
25
Tewabangawo muntu yenkana Akabu, eyeetunda akole ekibi mu maaso g'Omukama oluvannyuma lw'okufukuutirirwa Yezebeli mukazi we.
26
Yeeyisa bubi nnyo nga yeesiga ebifaananyi bya balubaale ng'Abaamori bwe baakolanga, abo Omukama be yagobawo mu maaso g'abantu ba Yisirayeli.
27
Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye, omubiri gwe n'agwambaza ebikutiya, n'asiiba. N'asulanga ku kikutiya, ng'atambula akotese omutwe.
28
Ekigambo ky'Omukama ne kijjira Eliya Omutisube nti:
29
“Tolabye Akabu bwe yeetoowazizza mu maaso gange? Kubanga yeetoowazizza mu maaso gange, akabi sijja kukaleeta mu budde bwe, wabula nzija kukaleetera ennyumba ye mu budde bwa mutabani we.”
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22