bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 8
1 Kings 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 9 →
1
Awo Solomoni n'atumya abakadde bonna mu Yisirayeli bajje gy'ali mu Yeruzaalemu, n'abakulu b'ebika bonna, n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abayisirayeli; bonna ne bakuŋŋaanira awali kabaka Solomoni, baggye Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama mu Siyoni, kwe kugamba nti mu Kibuga kya Dawudi.
2
Abasajja bonna aba Yisirayeli ne bakuŋŋaanira awali kabaka Solomoni ku mbaga enkulu, mu mwezi Etanimu, omwezi ogwomusanvu.
3
Abakadde mu Yisirayeli bonna nga bamaze okutuuka, bakabona ne basitula Ssanduuku.
4
Ne bambusa Ssanduuku y'Omukama ne Weema ey'Ensisinkano, na byonna ebitukuvu eby'okukozesa ebyabeeranga mu Weema; byonna bakabona n'Abaleevi ne babyambusa.
5
Ye kabaka Solomoni n'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli abaali bakuŋŋaanidde w'ali, baali naye mu maaso g'Essanduuku nga batambira endiga n'ente; tezaabalibwa kubanga zaayitirira obungi.
6
Bakabona ne bayingiza Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama mu kifo kyayo mu Kisenge eky'Omunda eky'omu Kiggwa, Awatukuvu Ennyo, ne bagissa wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.
7
Bakerubi baali bayanjululizza ebiwaawaatiro ku kifo ky'Essanduuku, nga babikka Ssanduuku n'emisituliro gyayo.
8
Emisituliro gyali miwanvu nga gisobola okulabika ebweru mu Kifo Ekitukuvu mu maaso g'Awatukuvu Ennyo, naye nga tegirabika ng'oyimye ebweru. Gikyaliyo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
9
Mu Ssanduuku temwalimu kirala wabula ebipande ebibiri eby'amayinja Musa bye yateeramu ku Korebu, Omukama gye yakolera endagaano n'Abayisirayeli bwe baali baakava mu nsi y'e Misiri.
10
Bakabona bwe baafuluma Ekifo Ekitukuvu, ekire ne kijjula Ekiggwa ky'Omukama,
11
bakabona nga tebakyasobola kuyimirira kuweereza olw'okubeera ekire, anti ekitiibwa ky'Omukama kyali kijjuzizza Ekiggwa ky'Omukama.
12
Awo Solomoni n'agamba nti: “Omukama agambye okusula mu kire ekikwafu.
13
Mazima, nkuzimbidde ennyumba amakula, ekifo w'onoosula emirembe gyonna.”
14
Ekibiina kyonna ekya Yisirayeli bwe kyali kiyimiridde awo, Kabaka n'akyuka n'awa omukisa ekibiina.
15
N'agamba nti: “Omukama, Katonda wa Yisirayeli agulumizibwe, atuukirizza n'emikono gye bye yasuubiza n'akamwa ke Dawudi kitange. Anti yagamba nti:
16
‘Okuva lwe naggya abantu bange Yisirayeli mu Misiri, sirondanga kibuga mu bika byonna ebya Yisirayeli muzimbibwemu ekiggwa erinnya lyange libeerenga omwo, wabula nnonze Dawudi afugenga abantu bange Yisirayeli.’
17
Kitange Dawudi yayagala okuzimbira erinnya ly'Omukama, Katonda wa Yisirayeli ekiggwa,
18
naye Omukama n'agamba kitange Dawudi nti: ‘Wayagala okuzimbira erinnya lyange ekiggwa, wakola bulungi okulowooza bw'otyo.
19
Kyokka si ggwe onoozimba ekiggwa, wabula mutabani wo, asibuka mu ggwe; oyo yalizimbira erinnya lyange ekiggwa.’
20
Omukama akakasizza kye yayogera. Nasikira kitange Dawudi era kati ntudde ku nnamulondo ya Yisirayeli ng'Omukama bwe yayogera, nzimbidde n'erinnya ly'Omukama, Katonda wa Yisirayeli, ekiggwa.
21
Nfunye ekifo aw'okussa Ssanduuku omuli Endagaano y'Omukama gye yakola ne bajjajjaffe lwe yabaggya mu nsi y'e Misiri.”
22
Awo Solomoni n'ayimirira mu maaso g'omwaliiro gw'Omukama mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli, n'agololera emikono gye waggulu,
23
n'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, mu ggulu waggulu ne ku nsi wansi teri Katonda akufaanana, ggwe akuumira endagaano n'ekisa kyo abaweereza bo abatambula mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna.
24
Wakuuma bye wagamba omuweereza wo kitange Dawudi; wabisuubiza n'akamwa ko, n'obituukiriza n'emikono gyo olwa leero.
25
Kale nno, ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, kuumira omuweereza wo kitange Dawudi bye wamusuubiza bwe wagamba nti: ‘Tolibulwa musajja alituula ku nnamulondo ya Yisirayeli mu maaso gange, singa abaana bo baneegenderezanga mu makubo gaabwe ne batambuliranga mu maaso gange nga ggwe bw'okoze.’
26
Kale nno, Mukama, Katonda wa Yisirayeli, leka bye wasuubiza omuweereza wo kitange Dawudi bituukirire.
27
Naye ddala Katonda anaasula ku nsi? Oba kale eggulu na liri eggulu erisukkulumidde ddala tebikumala kugyamu, leero alabisa ekiggwa kino kye nzimbye!
28
Kyokka tunuulira essaala y'omuweereza wo n'okuwanjaga kwe, ayi Mukama Katonda wange. Wulira omulanga n'essaala omuweereza wo by'aweerezza nga yeegayirira mu maaso go olwa leero.
29
Amaaso go gabeere ku Kiggwa kino ekiro n'emisana, ekifo kye wayogerako nti: ‘Erinnya lyange liribeeranga omwo,’ owulire essaala y'omuweereza wo gy'asabira mu kifo kino.
30
“Wulira okuwanjaga kw'omuweereza wo n'abantu bo Yisirayeli bwe beegayirira mu kifo kino. Wulira, ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula, ng'owulidde, saasira.
31
“Omuntu bw'alisobya eri munne, n'aba ng'alina okulayira, n'ajja n'alayira mu maaso g'omwaliiro gwo mu Kiggwa kino,
32
ng'oyima mu ggulu owuliranga, n'obaako ky'okola. Olamulanga wakati w'abaweereza bo n'osingisa omubi omusango, n'ossa ekisobyo kye ku mutwe gwe; omutuukirivu n'omwejjeereza, n'aweerwa okusinziira ku butuukirivu bwe.
33
“Abantu bo Yisirayeli bwe bagobebwanga abalabe baabwe kubanga baakola ekibi gy'oli, bamala badda gy'oli, ne beetondera erinnya lyo, ne basaba n'okukuwanjagira mu Kiggwa kino,
34
ng'oyima mu ggulu owuliranga, n'osonyiwa ekibi ky'abantu bo Yisirayeli, n'obazzaayo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.
35
“Eggulu bwe liggalibwanga, enkuba n'etetonnya kubanga abantu bo basobezza gy'oli, abantu bamala basabira mu kifo kino ne beetondera erinnya lyo, ne bava ku bibi byabwe olw'obuyinike bw'obataddemu,
36
ng'oyima mu ggulu owuliranga, n'osonyiwa ebibi by'abaweereza bo n'eby'abantu bo Yisirayeli. Oboolekanga ekkubo eddungi mwe baba batambulira; otonnyesanga enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo ebeere obusika bwabwe.
37
“Enjala bw'egwanga mu nsi, oba kawumpuli, oba nnabbambula, oba ebimera okugengewala, oba enzige oba amayanzi, oba omulabe waabwe n'abazingiza mu kimu ku bibuga byabwe, oba ekibonoobono ekya buli ngeri, oba ekirwadde kyonna,
38
ne wabaawo essaala yonna oba okuwanjaga kwonna okuva mu omu ku bantu bo Yisirayeli, nga buli muntu ategedde obuyinike bw'omutima gwe, n'agololera emikono gye eri Ekiggwa,
39
owuliranga ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula. Osonyiwanga era n'obaako ky'okola; buli omu n'omuyisa nga bw'asaanidde, kubanga ggwe omanyi buli mutima - anti ggwe wekka ggwe omanyi emitima gy'abantu -
40
olwo bakutyenga ennaku zonna ze balibeera mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
41
“Newandibadde omugwira, atali wa mu bantu bo Yisirayeli, avudde mu nsi ewala olw'okubeera erinnya lyo
42
- anti abantu bagenda kuwulira ku linnya lyo ekkulu, n'omukono gwo ogw'amaanyi, n'omukono gwo omugolole - awo nno bw'abanga azze n'asabira mu Kiggwa kino,
43
owuliranga ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula, n'okola kyonna omugwira ky'akusaba, abantu bonna mu nsi balyoke bamanye erinnya lyo, bakutye ng'abantu bo Yisirayeli bwe bakola, bakakase nti ennyumba eno gye nzimbye eyitibwa linnya lyo.
44
“Abantu bo bwe bagendanga okutabaala abalabe baabwe, yonna gy'oliba obatumye, bamala beegayirira nga bakoowoola eri ekibuga kye weerondera n'Ekiggwa kye nzimbidde erinnya lyo,
45
ng'oyima mu ggulu owuliranga essaala yaabwe n'okuwanjaga kwabwe n'okola ku nsonga zaabwe.
46
“Bwe babanga basobezza gy'oli - anti tewali muntu atayonoona – n'obasunguwalira, n'obawaayo eri omulabe waabwe, abaabawamba ne babatwala mu busibe mu nsi ye ey'ewala oba okumpi,
47
nga bali eyo mu kifo gye basibiddwa, bamala beddamu muli mu mutima, ne beenenya ne bakuwanjagira eyo mu nsi gye baasibirwa nti: ‘Twayonoona, twasobya, twakola bubi,’
48
bamala badda gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'omwoyo gwabwe gwonna, eyo mu nsi abalabe baabwe gye baabatwala mu busibe, bamala bakwegayirira, nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, n'ekibuga kye walonda, n'Ekiggwa kye nzimbidde erinnya lyo,
49
ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula, owuliranga essaala n'okuwanjaga kwabwe n'okola ku nsonga zaabwe.
50
Osaasiranga abantu bo abaasobya gy'oli; osonyiwanga emisango gyabwe gye baakuzzaako, n'oleetera abaabatwala mu busibe okubakwatirwa ekisa,
51
anti bantu bo, busika bwo, abantu be waggya mu Misiri mu makkati g'akabiga akafukuta ekyuma.
52
“Amaaso go gasse ku kuwanjaga kw'omuweereza wo ne ku kuwanjaga kw'abantu bo Yisirayeli, obawuliranga buli lwe bakukoowoolanga.
53
Anti ggwe wabalondoba mu mawanga gonna ag'ensi babe busika bwo, nga bwe wayogera, ayi Mukama Omuyinza, ng'oyita mu Musa omuweereza wo lwe waggya bajjajjaffe mu Misiri.”
54
Solomoni bwe yamala okuweereza Omukama essaala eno n'okuwanjaga, n'asituka, n'ava mu maaso g'omwaliiro gw'Omukama we yali afukamidde ku maviivi gombi, ng'emikono agigololedde eri eggulu.
55
Yayimirira n'asabira ekibiina kyonna ekya Yisirayeli mu ddoboozi ekkangufu nti:
56
“Agulumizibwe Omukama awadde ekiwummulo abantu be Yisirayeli nga bwe yasuubiza. Ebigambo byonna ebirungi bye yayogera ng'ayita mu Musa omuweereza we mpaawo kyagwa butaka.
57
Omukama Katonda waffe abeere naffe nga bwe yali ne bajjajjaffe, tatulekanga wadde okutwabulira.
58
Emitima gyaffe agiwunzikire gy'ali, tutambulirenga mu makubo ge gonna, tukwatenga ebiragiro bye, amateeka ge n'ennamula ye yonna, bye yalagira bajjajjaffe.
59
N'ebigambo byange bino, bye mpanjagidde mu maaso g'Omukama, bibeerenga kumpi n'awali Omukama Katonda waffe ekiro n'emisana, akolenga ku nsonga z'omuweereza we ne ku nsonga z'abantu be Yisirayeli mu byetaago byabwe ebya buli kanaku,
60
abantu bonna ab'ensi bamanye nti Omukama, yennyini ye Katonda era teri mulala.
61
Omutima gwammwe gwemalize Omukama Katonda waffe, mutambulire mu mateeka ge, mukwate ebiragiro bye nga bwe mukola kaakati.”
62
Awo kabaka wamu ne Yisirayeli yenna ne baweereza ebitambiro mu maaso g'Omukama.
63
Solomoni yaweereza ebitambiro eby'okussa ekimu bye yatambirira Omukama: ente emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, n'endiga n'embuzi kasiriivu kamu mu emitwalo ebiri. Kabaka n'Abayisirayeli bonna ne batukuza Ekiggwa ky'Omukama.
64
Ku olwo kabaka yatukuza ekitundu ky'oluggya eky'omu makkati mu maaso g'Ekiggwa ky'Omukama, n'aweerereza awo ebitambiro ebyokye n'ebitone eby'obuwunga, n'amasavu g'ebitambiro eby'okussa ekimu, kubanga omwaliiro ogw'ekikomo ogwali mu maaso g'Omukama gwali mutono okugyako ebitambiro ebyokye n'ebitone eby'obuwunga n'amasavu g'ebitambiro eby'okussa ekimu.
65
Mu budde obwo, Solomoni n'amala ennaku musanvu ng'akuza embaga enkulu mu maaso ga Katonda waffe, nga ne Yisirayeli yenna ali naye, ekibiina ekinene ennyo, omwali abaava ku Lebo-Kamati okutuuka ku Kiwonvu Misiri; baayongeramu n'endala musanvu, zonna awamu ze nnaku kkumi na nnya.
66
Enkeera n'asiibula abantu; abantu baasabira kabaka omukisa, ne bagenda buli omu mu weema ye, nga basanyufu, omutima nga gujaguza, olw'ebirungi byonna Omukama bye yali akoledde Dawudi omuweereza we ne Yisirayeli abantu be.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22