bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 17
1 Kings 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 18 →
1
Eliya Omutisube ow'e Tisube mu Gileyaadi yagamba Akabu nti: “ Mazima Omukama nga mulamu, Katonda wa Yisirayeli gwe mpeereza, mu myaka gino teebe musulo gugwa yadde enkuba, mpozzi nga nze ndagidde.”
2
Ekigambo ky'Omukama ne kijjira Eliya nti:
3
“Wano vvaawo; genda ebuvanjuba wekweke mu Kiwonvu Keriti, ekiri ebuvanjuba wa Yorudani.
4
Onoonywanga ku kagga; ndagidde binnamuŋŋoona bikuliise ng'oli eyo.”
5
N'agenda n'akola ng'Omukama bwe yali amugambye. Yagenda, mu Kiwonvu Keriti ekyali ebuvanjuba wa Yorudani.
6
Binnamuŋŋoona ne bimuleeteranga omugaati n'ennyama ku makya, ate era omugaati n'ennyama akawungeezi; yanywanga mu kagga.
7
Ennaku bwe zaayitawo, akagga ne kakalira, kubanga enkuba yali tetonnya ku nsi.
8
Ekigambo ky'Omukama ne kimujjira nti:
9
“Situkiramu ogende e Zarefati ekya Sidoni, obeere eyo; eriyo omukazi nnamwandu, mmulagidde akuwe emmere.”
10
N'asituka, n'agenda e Zarefati. Bwe yatuuka ku mulyango gw'ekibuga, waaliwo omukazi nnamwandu ng'alonderera obuku, n'amuyita n'agamba nti: “Mpaayo ku mazzi mu nsumbi nnyweko.”
11
Yali agenda okugaleeta, n'amukoowoola ng'agamba nti: “Nkwegayiridde, ndeeteraayo ne ku kitundu ky'omugaati.”
12
Ye n'amwanukula nti: “Mazima Omukama Katonda wo nga mulamu, sirina mugaati, wabula olubatu lw'obuwunga mu nsuwa n'otuzigo tutono mu nsumbi. Wuuno nkuŋŋaanyaayo ku buku ŋŋende eka nze ne mutabani wange twefumbirewo, tulye, tufe.”
13
Eliya n'amugamba nti: “Leka kutya, genda eka okole nga bw'ogambye; wabula nze gw'oba osooka, onfumbireyo akagaati katono ku buwunga obwo, okandeetere; ggwe n'omwana wo muneefumbira oluvannyuma.
14
Anti kino Omukama, Katonda wa Yisirayeli ky'agamba nti: ‘Ensuwa y'obuwunga teggweemu, n'ensumbi y'omuzigo teekalire, okutuusa ku lunaku Omukama lw'alitonnyesa enkuba ku nsi.’ ”
15
N'agenda, n'akola nga Eliya bwe yamugamba. Eliya, nnamwandu n'amaka ge bulijjo baalina emmere ey'okulya.
16
Ensuwa y'obuwunga teyaggwaamu n'ensumbi y'omuzigo teyakalira, ng'Omukama bwe yali agambye ng'ayita mu Eliya.
17
Oluvannyuma, mutabani wa nnamwandu, nnyinimu, n'alwala, obulwadde bwe ne bunyiinyittira nnyo okutuusa nga takyalimu na kassa.
18
Nnamwandu n'agamba Eliya nti: “Onjagaza ki ggwe omuntu wa Katonda? Wajja ewange onzijukize ekibi kyange, omwana wange omutte?”
19
N'amugamba nti: “Omwana wo mumpe.” N'amumuggya mu mikono gye, n'amutwala mu kisenge ekya waggulu gye yasulanga, n'amugalamiza ku buliri bwe.
20
N'awanjagira Omukama n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wange, n'omukazi nnamwandu we ngize nga mbeera omulabizza ennaku ng'otta omwana we?”
21
N'agalamira ku mwana bulambalamba emirundi esatu, nga bw'awanjagira Omukama nti: “Ayi Mukama Katonda wange, nkwegayiridde, zza obulamu mu mwana ono.”
22
Omukama n'awulira okuwanjaga kwa Eliya, omwoyo gw'omwana ne guddamu, n'alamuka.
23
Eliya n'asitula omwana, n'amuggya mu kisenge ekya waggulu, n'amuserengesa mu nnyumba wansi, n'amukwasa nnyina nga bw'amugamba nti: “Omwana wo wuuno, mulamu.”
24
Omukazi n'agamba Eliya nti: “Kati ntegeeredde ddala nti oli muntu wa Katonda, n'ekigambo ky'Omukama ekiva mu kamwa ko kya mazima.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22