bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 16
1 Kings 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 17 →
1
Ekigambo ky'Omukama ne kijjira Yewu, mutabani wa Kanani ekivumirira Baasa, ng'agamba nti:
2
“Nakugulumiza ne nkuggya mu nfuufu, ne nkufuula omukulembeze w'abantu bange Yisirayeli, ate ggwe n'ogoberera amakubo ga Yerobowamu, n'oleetera n'abantu bange Yisirayeli okugwa mu kibi, nange n'onnyiiza olw'ebibi byabwe.
3
Kale nno nzija kusangulawo Baasa n'ennyumba ye; ennyumba yo nzija kugifuula ng'ennyumba ya Yerobowamu mutabani wa Nebati.
4
Abantu ba Baasa abaliba bafiiridde mu kibuga embwa zigenda kubakavvula, ate abaliba bafiiridde ku ttale ebinyonyi eby'omu bbanga biribalya.”
5
Ebirala mu bifaayo bya Baasa, ne bye yakola byonna, n'obuwanguzi bwe yatuukako, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
6
Bw'atyo Baasa n'agalamira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu Tiruza. Ela mutabani we n'amusikira.
7
Era ekigambo ky'Omukama, nga kiyita mu Yewu mutabani wa Kanani omulanzi, ne kijja eri Baasa n'ennyumba ye olw'okubeera ebisobyo bye yali akoze mu maaso g'Omukama, n'amunyiiza olw'ebyo bye yakola, n'olw'okufuuka ng'ennyumba ya Yerobowamu, ate n'olw'okubeera nga yali agizikirizza.
8
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omukaaga ogwa Asa kabaka wa Yuda, Ela mutabani wa Baasa n'afuuka kabaka wa Yisirayeli mu Tiruza; yafugira emyaka ebiri.
9
Zimuri, omu ku baweereza be, omugabe w'ekitundu ekyokubiri eky'ebigaali bye, yamwekobera. Olumu Ela yali mu Tiruza, ng'anywedde atamidde mu nnyumba ya Aruza katikkiro w'olubiri mu Tiruza,
10
Zimuri n'ayingira, n'amukuba, n'amutta; gwali mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda. Zimuri n'asikira Ela ku bwakabaka.
11
Bwe yafuuka kabaka, ng'atuuziddwa ku nnamulondo, n'atta ennyumba ya Baasa yonna; teyatalizaamu buli ayitibwa omusajja n'omu, ab'oluganda ne mikwano gye.
12
Bw'atyo Zimuri n'asaanyaawo ennyumba ya Baasa ng'Omukama bwe yali agambye ku Baasa ng'ayita mu Yewu omulanzi,
13
olw'ebibi byonna ebya Baasa ne Ela mutabani we bye baakola ne baleetera ne Yisirayeli okubigwamu, ne banyiiza Omukama, Katonda wa Yisirayeli n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale omutali nsa.
14
Ebirala mu bifaayo bya Ela na byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
15
Mu mwaka ogw'abiri mu omusanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda, Zimuri yafugira ennaku musanvu mu Tiruza. Eggye lyali lisiisidde Gibbetoni eky'Abafilisitiini.
16
Abantu ba Yisirayeli abaali mu nsiisira bwe baawulira nti Zimuri yeekobedde kabaka n'amutta, ne balangirira, ku olwo mu lusiisira, Omuri eyali omuduumizi w'eggye okuba kabaka wa Yisirayeli.
17
Omuri wamu ne Yisirayeli yenna ne bava e Gibbetoni ne bazinda Tiruza.
18
Zimuri bwe yalaba ng'ekibuga kiwanguddwa, n'ayingira mu kigo ky'olubiri lwa kabaka n'akiteekera omuliro, ne yeeyokeramu, n'afa.
19
Kyali kityo olw'ebibi bye yali akoze bwe yakola ekibi mu maaso g'Omukama, n'olw'okugoberera amakubo ga Yerobowamu, n'olw'ekibi kye kye yaleetera Yisirayeli okugwamu.
20
Ebirala mu bifaayo bya Zimuri n'olukwe lwe yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
21
Olwo abantu ba Yisirayeli ne beesalamu wabiri; ekitundu ekimu ne kigoberera Tibuni mutabani wa Ginati gwe baba bafuula kabaka, ate ekitundu ekirala ne kigoberera Omuri.
22
Abawagizi ba Omuri ne basinza amaanyi abaali bawagira Tibuni mutabani wa Ginati; Tibuni n'afa, Omuri n'afuuka kabaka.
23
Mu mwaka gw'amakumi asatu mu ogumu ogwa Asa kabaka wa Yuda, Omuri n'afuuka kabaka wa Yisirayeli; yafugira emyaka kkumi n'ebiri; omukaaga yagifugira mu Tiruza.
24
Yagula olusozi lw'e Samariya ku Semeri talenta bbiri eza ffeeza, n'aluzimbako ekibuga kye yatuuma Samariya ng'akibbula mu Semeri eyali nnannyini lusozi.
25
Omuri yakola ekibi mu maaso g'Omukama, n'ayonoona n'okukira bonna abaamukulembera.
26
Yagoberera amakubo ga Yerobowamu mutabani wa Nebati ne mu kibi kye kye yaleetera Yisirayeli okugwamu, ne banyiiza Omukama, Katonda wa Yisirayeli olw'ebifaananyi byabwe ebya balubaale omutali nsa.
27
Ebirala mu bifaayo bya Omuri, bye yakola byonna, ne bye yawangulamu byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
28
Omuri n'agalamira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Samariya; Akabu mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
29
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omunaana ogw'obwakabaka bwa Asa kabaka wa Yuda, Akabu mutabani wa Omuri n'afuuka kabaka wa Yisirayeli. Akabu mutabani wa Omuri yali kabaka wa Yisirayeli mu Samariya emyaka amakumi abiri mu ebiri.
30
Akabu mutabani wa Omuri yakola ekibi mu maaso g'Omukama okusinga bonna abaamusooka.
31
Ekyo sikyamumalira eky'okutambulira mu bibi bya Yerobowamu mutabani wa Nebati, yayongerako n'awasa omukazi Yezebeli, muwala wa Etubaali, kabaka w'Abasidoni, n'agenda n'aweereza Baali, n'amusinza.
32
Yassa omwaliiro gwa Baali mu kiggwa kya Baali kye yazimba mu Samariya,
33
Akabu yasimba empagi ya Asera; yakola n'ebirala bingi ebyanyiiza Omukama, Katonda wa Yisirayeli okukira bakabaka ba Yisirayeli abaamukulembera bwe baakola.
34
Mu budde bwe, Kiyeli ow'e Beteli yazimba Yeriko. Yawaayo obulamu bwa Abiramu omuggulanda we okubanga emisingi gyakyo, ne Segubi omuggalanda we okusimba emiryango gyakyo, nga Yoswa mutabani wa Nuunu bwe yali agambye.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22