bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 9
1 Kings 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 10 →
1
Solomoni bwe yamaliriza okuzimba Ekiggwa ky'Omukama n'olubiri lwa kabaka na buli kimu kye yali ayagadde okukola,
2
Omukama n'alabikira Solomoni ogwokubiri, nga bwe yali amulabikidde e Gibewoni.
3
Omukama n'amugamba nti: “Mpulidde essaala yo n'okuwanjaga kwo mu maaso gange; ekiggwa kino ky'ozimbye nkitukuzizza era nkitaddemu erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna. Amaaso gange n'omutima gwange bya kubeeranga eyo bulijjo.
4
Naawe bw'oliba otambulidde mu maaso gange, nga Dawudi kitaawo bwe yatambula n'omutima ogutaliiko musango ne mu butuufu, n'okolanga byonna bye nkulagira, n'okwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange,
5
nnamulondo y'obwakabaka bwo nzija kugitebenkeza ku Yisirayeli emirembe gyonna, nga bwe nalagaanya Dawudi kitaawo nti: ‘Tolibulwa musajja alituula ku nnamulondo ya Yisirayeli.’
6
Naye mmwe n'abaana bammwe mumalanga munkuba amabega, ne mutakwata biragiro byange na mateeka bye mbateerawo, ne mugenda ne muweereza balubaale ne mubasinza,
7
Yisirayeli ŋŋenda kumugoba mu nsi gye nabawa, n'ekiggwa kye natukuliza erinnya lyange ndikikasuka kinve mu maaso. Yisirayeli agenda kufuuka lufumo, eky'okusekerera mu mawanga gonna.
8
Newandibadde Ekiggwa kino kya kitiibwa, buli yenna aliba ayise wano, kirimuwuniikiriza n'afuuwa ekiwa, n'abuuza nti: ‘Lwaki Omukama yakola ati ensi eno n'Ekiggwa?’
9
Balimwanukula nti: ‘Kubanga baaleka Omukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera balubaale, ne babasinza, ne babaweereza; Omukama kyeyava abaleetera akabi kano konna.’ ”
10
Oluvannyuma lw'emyaka amakumi abiri Solomoni mwe yazimbira ebizimbe ebibiri, kye Kiggwa ky'Omukama n'olubiri lwa kabaka,
11
Solomoni yawa Kiramu kabaka w'e Tiiro ebibuga amakumi abiri mu kitundu ky'e Galilaaya kubanga Kiramu yali awadde Solomoni emiti gy'entolookyo n'egya sipulaasi ne zaabu nga bwe yayagala.
12
Kiramu yava e Tiiro n'ajja okulaba ebibuga Solomoni bye yali amuwadde, naye ne bitamusanyusa;
13
n'agamba nti: “Owooluganda, bibuga ki bino by'ompadde?” N'abituuma 'Nsi-ya-Kabuli' nga bwe bikyayitibwa n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
14
Era Kiramu yali aweerezza kabaka talenta kikumi mu abiri eza zaabu.
15
Eno ye mbalirira y'akasanvu Solomoni ke yassaawo okuzimba Ekiggwa ky'Omukama, olubiri lwe, ne Millo, ne bbugwe wa Yeruzaalemu, ne Kazori, Megiddo ne Gezeri.
16
Faraawo kabaka w'e Misiri yali alumbye n'awamba Gazeri. Yakiteekera omuliro n'atta abatuuze baamu Abakanaani, n'akitonera muwala we bwe yali ng'afumbirwa Solomoni.
17
Solomoni nno yaddaabiriza Gezeri ne Beti-Koroni ow'Emmanga,
18
ne Baalati, ne Tadumori mu ddungu munda mu nsi,
19
n'ebibuga bye byonna eby'amawanika ga Solomoni, n'ebibuga by'ebigaali bye, n'ebibuga by'embalaasi ze, na buli kyonna kye yayagala okuzimba mu Yeruzaalemu ne mu Lebanoni ne wonna mu nsi gye yafuganga.
20
Abantu bonna abaasigalawo ku Baamori, Abakitti, Abaperizzi, Abakivi n'Abayebusi, kwe kugamba abantu abataali Bayisirayeli,
21
ezzadde lyabwe eryali likyasigaddewo, abo Abayisirayeli be baalemwa okuzikiriza, Solomoni yabassa ku kasanvu ng'abaddu n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
22
Naye Solomoni teyakkiriza Muyisirayeli kubeera muddu wa munne, wabula Abayisirayeli babeeranga batabaazi mu ggye, baweereza be, bakungu be, bagabe be, baduumizi ba bigaali bye na beebagazi be.
23
Era bano baabeeranga bakulu ku baakolanga obwannampala ku mirimu gya Solomoni. Abasajja baali ebikumi bitaano mu ataano abaakolanga obwannampala ku bantu abaakolanga emirimu.
24
Muwala wa Faraawo bwe yayambuka ng'ava mu Kibuga kya Dawudi, n'agenda mu nnyumba ye gye yali amuzimbidde, olwo Solomoni n'azimba Millo.
25
Buli mwaka Solomoni, yaweerezanga emirundi esatu ebitambiro ebyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu ku mwaliiro gwe yali azimbidde Omukama; okwo yagattangako okunyookeza Omukama obubaani. Bw'atyo n'amaliriza Ekiggwa.
26
Kabaka Solomoni yakola empingu y'amaato e Eziyoni-Geberi, ekiri okumpi ne Elati ku lubalama lw'Ennyanja Emmyufu mu nsi ya Edomu.
27
Kiramu yasindika abaweereza be mu mpingu eyo, abalunnyanja abamanyi ennyanja, bakolere wamu n'abaweereza ba Solomoni.
28
Baagenda mu Ofiri, ne baggyayo zaabu aweza talenta ebikumi bina mu abiri, ne bamuleeta ewa kabaka Solomoni.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22