bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 20
1 Kings 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 21 →
1
Beni-Adadi kabaka wa Aramu yakunga eggye lyonna, wamu ne bakabaka makumi asatu mu babiri, nga bali n'embalaasi n'ebigaali byabwe, n'azinda Samariya akirwanyise.
2
Yatuma ababaka mu kibuga ewa Akabu kabaka wa Yisirayeli, n'agamba nti: “Beni-Adadi kino ky'agamba:
3
‘Ffeeza wo ne zaabu wo byange, ne bakazi bo ne batabani bo abalungi nabo bange.’ ”
4
Kabaka wa Yisirayeli n'ayanukula nti: “Nga bw'ogambye, mukama wange kabaka: nze ndi wuwo n'ebyange byonna.”
5
Ababaka ne bakomawo, ne bagamba nti: “Beni-Adadi kino ky'agamba: ‘Nakutumidde ne nkusaba ompe ffeeza wo, zaabu wo, bakazi bo ne batabani bo.
6
Kale nno enkya mu budde nga buno nzija kutuma abaweereza bange gy'oli, baaze wonna mu lubiri lwo ne mu nnyumba z'abaweereza bo, na buli ky'obala ng'eky'omuwendo bajja kukisibako bakitwale.’ ”
7
Kabaka wa Yisirayeli n'atumya abakadde bonna mu Yisirayeli n'abagamba nti: “Mulabe, omusajja ono ayagala kuwakula ntalo; yatumye gye ndi ng'ayagala bakazi bange ne batabani bange, ne bwe yasabye ffeeza ne zaabu saagaanyi.”
8
Abakadde bonna n'abantu bonna okutwalira awamu ne bamugamba nti: “Towuliriza, tokkiriza.”
9
Kwe kwanukula ababaka ba Beni-Adadi nti: “Mugambe mukama wange, kabaka nti: ‘Kye wasoose okusaba omuweereza wo nzija kukikola, naye kino sisobola kukikola.’ ” Ababaka ne baddayo ne bategeeza Beni-Adadi.
10
Beni-Adadi era n'abasindika ng'agamba nti: “Balubaale bankole bwe batyo, ate basinze nawo, singa mu Samariya munaasigala enfuufu emala buli musajja wange okufunako yadde olubatu luti.”
11
Kabaka wa Yisirayeli n'ayakula n'agamba nti: “Mumugambe nti: ‘Aba yeesiba ebyokulwanyisa teyeetenda, wabula oyo aba abyambulamu.’ ”
12
Beni-Adadi bwe yawulira ekigambo ekyo - kati nno yali ne bakabaka banne mu nsiisira nga banywa - n'agamba abaweereza be nti: “Mutale.” Ne batala okulwanyisa ekibuga.
13
Omulanzi omu n'ajja ewa Akabu kabaka wa Yisirayeli n'agamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Tolaba ng'eggye lino ddene? Olwa leero nzija kuliwaayo mu mikono gyo otegeere nti nze Mukama.’ ”
14
Akabu n'abuuza nti: “Ani anannyamba?” Omulanzi n'amugamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Oneeyamba abavubuka abakuumi b'amasaza.’ ” Era n'abuuza nti: “Ani anaatanula olutalo?” N'amuddamu nti: “Ggwe.”
15
N'akunga abavubuka abakuumi b'amasaza, baali ebikumi bibiri mu asatu mu babiri. N'akunga eggye lyonna ery'abantu ba Yisirayeli; baawera kasanvu.
16
Ne beesowolayo mu ttuntu; Beni-Adadi yali ali mu kunywa mu nsiisira ne bakabaka banne ab'omukago amakumi asatu mu babiri.
17
Abavubuka abakuumi b'amasaza ne bakulemberamu. Beni-Adadi yali asudde enkessi, ne bamubuulira nti: “Abasajja balumbye okuva mu Samariya.”
18
Ye n'agamba nti: “Oba bajja lwa mirembe, mubakwate nga balamu; oba bazze ku lutalo, era mubakwate nga balamu.”
19
Abavubuka abakuumi b'amasaza ne bafuluma ekibuga, eggye lyonna ne ligoberera.
20
Buli omu n'atta omusajja eyamulumba, Abaaramu ne badduka, Yisirayeli n'abamerako. Ne Beni-Adadi kabaka wa Aramu n'adduka nga yeebagadde embalaasi wamu n'abeebagazi be.
21
Kabaka wa Yisirayeli n'avaayo; n'atta embalaasi n'ebigaali, n'akuba bubi Aramu.
22
Omulanzi n'asembera ewa kabaka wa Yisirayeli n'amugamba nti: “Genda wenyweze, era wefumiitirize ozuule eky'okukola, kubanga ku ntandikwa y'omwaka, kabaka wa Aramu ajja kwambuka okukulumba.”
23
Abaweereza ba kabaka wa Aramu ne bagamba Beni-Adadi nti: “Balubaale baabwe balubaale ba nsozi, kyebaava batusinza amaanyi. Singa tulwana nabo mu miseetwe, olwo tujja kubasinza amaanyi.
24
Kale nno kola bw'oti: Ggya bakabaka bonna mu bifo byabwe, ozzeewo abaamasaza mu kifo kyabwe.
25
Zzaawo omuwendo gw'abatabaazi bo abaafa, ku buli mbalaasi zzaawo endala, na ku buli kigaali zzaawo ekirala. Olwo tujja kukwatagana nabo mu miseetwe. Tujja kubasinza amaanyi.” N'akkiriza bye baagamba, n'akola bw'atyo.
26
Ku ntandikwa y'omwaka, Beni-Adadi n'akunga Abaaramu, n'agenda e Afeki alwanyise Yisirayeli.
27
N'abantu ba Yisirayeli nabo ne bakungibwa; bwe baamala okufuna entanda, ne bagenda okubasisinkana. Baasiisira babatunuulidde, naye nga bali ng'amagana abiri obubiri ag'embuzi; Abaaramu bo nga bajjudde wonna.
28
Omuntu wa Katonda n'ayambuka ewa kabaka wa Yisirayeli n'agamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Kubanga Abaaramu baagambye nti Omukama lubaale wa nsozi si lubaale wa biwonvu, eggye eryo lyonna nzija kuliwaayo mu mikono gyo; munaamanya nti nze Mukama.’ ”
29
Amagye ne gasiisira okumala ennaku musanvu nga gatunuuliganye, ku lwomusanvu olutalo ne lutandika. Abantu ba Yisirayeli ne batta mu lunaku lumu Abaaramu akasiriivu kalamba ak'abatabaazi ab'ebigere.
30
Abaasigalawo ne baddukira mu kibuga Afeki; ate eyo bbugwe w'ekibuga n'agwira abantu emitwalo ebiri mu kasanvu abaali basigaddewo. Beni-Adadi n'addukira mu kibuga, ne yeekweka mu kisenge mu buziizi.
31
Abakungu be ne bamugamba nti: “Tuwulidde nti bakabaka b'ennyumba ya Yisirayeli ba kisa. Leka twesibe ebikutiya mu makendegere n'emiguwa ku mitwe gyaffe, tugende ewa kabaka wa Yisirayeli, oboolyawo anaawonya obulamu bwo.”
32
Ne beesiba ebikutiya mu makendegere, ne beesiba n'emiguwa ku mitwe, ne bagenda ewa kabaka wa Yisirayeli, ne bagamba nti: “Omuweereza wo Beni-Adadi agambye nti: ‘Nkwegayiridde, ndekera obulamu bwange.’ ” Kabaka n'agamba nti: “Akyali mulamu? Oyo muganda wange.”
33
Ekyo abasajja ne baguyita mukisa, nabo amangu ago ekigambo ne bakitwala nga bw'akyogedde, ne baddamu nti: “Muganda wo Beni-Adadi.” Kabaka n'agamba nti: “Mugende, mumuleete.” Beni-Adadi n'afuluma n'alaga gy'ali, Akabu n'amulinnyisa mu kigaali kye,
34
Beni-Adadi n'amugamba nti: “Ebibuga kitange bye yatwala ku kitaawo, nzija kubizza; naawe osobola okwezimbira obutale mu Damasiko nga kitange bwe yakola mu Samariya.” Akabu n'agamba nti: “Nzija kukuteera ku ndagaano.” N'akola naye endagaano, n'amusiibula.
35
Omusajja omu ku bannakibiina ky'abalanzi, ng'agoberera ekigambo ky'Omukama ekyali kimujjidde, yagamba munne nti: “Ntema,” naye oli n'agaana okumutema.
36
N'amugamba nti: “Kubanga ogaanyi okuwulira eddoboozi ly'Omukama, olunaava we ndi, empologoma ejja kukutta.” Omusajja olwali okugenda, empologoma n'emusanga, n'emutta.
37
Omulanzi n'asanga omusajja omulala, n'amugamba nti: “Nkwegayiridde ntema.” Omusajja n'amutema, n'amussaako ekiwundu.
38
Omulanzi n'agenda okulindirira kabaka ku kkubo, ne yeefuusa nga yeesibye ekiwero mu maaso.
39
Kabaka yali ayitawo, omulanzi n'akoowoola ng'agamba kabaka nti: “Omuweereza wo yabadde agenda olutalo we lwabadde lunyiinyittidde, omuntu omu n'ajja gye ndi n'omusibe, n'aŋŋamba nti: ‘Omusajja ono mukuume; bw'abula, obulamu bwo bwe bunamulirira; oba si ekyo, onoosasula talenta eya ffeeza emu.’
40
Bwe natawaanyiziddwa eno n'eri, omusibe n'abomba.” Kabaka wa Yisirayeli n'amugamba nti: “Ogwesalidde wennyini.”
41
Amangu ago omulanzi n'aggya ekiwero ku maaso, kabaka wa Yisirayeli n'amutegeera nga ye omu ku balanzi.
42
Omulanzi n'agamba kabaka nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Kubanga wata mu mikono gyo omusajja gwe nali nsalidde okuzikirizibwa, obulamu bwo bwe bunaasasulira obubwe, n'obw'abantu bo bwe bunaasasulira obw'abantu be.’ ”
43
Kabaka wa Yisirayeli n'addayo mu lubiri lwe mu Samariya nga munakuwavu era nga musunguwavu.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22