bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 12
1 Kings 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 13 →
1
Rekobowamu yagenda e Sekemu, anti eyo Yisirayeli yenna gye yali akuŋŋaanidde bamufuule kabaka.
2
Yerobowamu mutabani wa Nebati, yali akyali mu buwaŋŋanguse mu Misiri, ng'adduse Solomoni; bwe yawulira amawulire ago, n'ava mu Misiri n'akomawo.
3
Ne bamutumyayo. Yerobowamu n'ajja n'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli ewa Rekobowamu, ne bamugamba nti:
4
“Kitaawo yatussaako ekikoligo ekizito; kale nno ggwe kendeeza ku kasanvu ka kitaawo akakakali ne ku kikoligo ekizito bye yatussaako, olwo tujja kukuweereza.”
5
Ye n'abagamba nti: “Mugende, mumaleyo ennaku ssatu, mukomeewo gye ndi.” Abantu ne bagenda.
6
Kabaka Rekobowamu n'ateesa n'abakadde abaaweerezanga Solomoni kitaawe ng'akyali mulamu, n'agamba nti: “Mumpa magezi ki bwe nnaayanukula abantu bano?”
7
Ne bamugamba nti: “Olwa leero bw'onooba omuweereza w'abantu bano, n'obaweereza, n'obaddamu bulungi, baliba baweereza bo ennaku zonna.”
8
Naye Rekobowamu n'asambajja amagezi abakadde ge baali bamuwadde, n'agenda yeebuuza ku bavubuka bwe baakula, abaali bamuweereza.
9
n'abagamba nti: “Mumpa magezi ki bwe tunaayanukula abantu bano abaŋŋamba nti: ‘Kendeeza ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ”
10
Abavubuka abaakula naye, ne bamugamba nti: “Abantu bano abakugamba nti: ‘Kitaawo yatussaako ekikoligo ekizito, ggwe kendeeza ku kikoligo kyaffe,’ ggwe bagambe nti: ‘Kannaswi kange kanene okusinga ekiwato kya kitange.
11
Kale nno kitange yabassaako ekikoligo ekizito, nze ekikoligo kyammwe ŋŋenda na kukyongerako obuzito. Kitange yababonerezanga na buswanyu, nze nzija kubabonerezanga na njaba.’ ”
12
Yerobowamu n'abantu bonna ne badda ewa Rekobowamu ku lunaku olwokusatu nga kabaka bwe yali abagambye nti: “Mudde gye ndi mu nnaku ssatu.”
13
Kabaka abantu n'abazzaamu lukaali. Yalekerera amagezi abakadde ge baali bamuwadde,
14
n'abagamba ng'abavubuka bwe baali bamuwadde amagezi nti: “Kitange yazitoya ekikoligo kyammwe, nze nno nzija kukizitoya n'okusingawo; kitange yabakubisanga buswanyu, naye nze nzija kubakubisa njaba.”
15
Kabaka bw'atyo teyawuliriza bantu, kubanga yali ntegeka ya Mukama, atuukirize ekigambo kye kye yali agambye Yerobowamu mutabani wa Nebati ng'ayita mu Akiya ow'e Silo.
16
Yisirayeli yenna bwe yalaba nga kabaka agaanyi okubawulira, ne bamwanukula, ne bagamba nti: “Tulina mugabo ki mu Dawudi, yadde busika ki mu mutabani wa Yesse? Yisirayeli, weddire mu weema yo, naawe Dawudi, weerabiririre ennyumba yo.” Abayisirayeli ne beddirayo mu weema zaabwe.
17
Naye Abayisirayeli abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, Rekobowamu ye yabafuganga.
18
Kabaka Rekobowamu n'atuma Adoramu, eyakuliranga akasanvu, kyokka Yisirayeli yenna n'amukuba amayinja n'afa. Kabaka Rekobowamu n'ayanguwa mangu n'alinnya ekigaali n'addukira mu Yeruzaalemu.
19
Bw'atyo Yisirayeli n'ajeemera ennyumba ya Dawudi n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
20
Yisirayeli yenna bwe yawulira nga Yerobowamu akomyewo, ne bamutumya mu lukuŋŋaana, ne bamufuula kabaka wa Yisirayeli yenna; tewaaliwo yagoberera Dawudi okuggyako ekika kimu kyokka ekya Yuda.
21
Rekobowamu bwe yajja e Yeruzaalemu n'akuŋŋaanya ennyumba yonna eya Yuda, n'ekika kya Benyamiini, abasajja abatabaazi abalondobe akasiriivu kamu mu emitwalo munaana, agende alwanyise ennyumba ya Yisirayeli, akomyewo obwakabaka ewa Rekobowamu mutabani wa Solomoni.
22
Naye ekigambo ky'Omukama ne kijjira Semaaya omuntu wa Katonda nti:
23
“Gamba Rekobowamu mutabani wa Solomoni kabaka wa Yuda, ennyumba yonna eya Yuda, Benyamiini, n'abantu abalala bonna nti:
24
‘Omukama bwati bw'agamba: Temugenda kulwanyisa baganda bammwe abantu ba Yisirayeli; buli musajja addeyo ewuwe, kubanga kino nze nkikoze.’ ” Baawulira ekigambo ky'Omukama, ne batagenda ng'Omukama bwe yali abalagidde.
25
Yerobowamu n'azimba Sekemu mu nsozi za Efurayimu, n'abeera eyo. Ate eyo n'avaayo, n'azimba Penuweli.
26
Yerobowamu n'agamba muli mu mutima gwe nti: “Obwakabaka bugenda okuddira Dawudi.
27
Abantu bwe banaayambukanga ne baweereza ebitambiro mu Kiggwa ky'Omukama mu Yeruzaalemu, omutima gw'abantu bano gujja kudda eri mukama waabwe Rekobowamu, kabaka wa Yuda; bajja kunzita, badde eri Rekobowamu kabaka wa Yuda.”
28
Bwe yeebuuza, n'akola obuyana bubiri obwa zaabu, n'agamba abantu nti: “Mu Yeruzaalemu mugenzeeyo ekimala; balubaale bo baabo, ayi Yisirayeli, abaabaggya mu nsi y'e Misiri.”
29
Akamu n'akateeka e Beteli, akalala n'akassa mu Daani.
30
Ekyo ne kiba kyesittazo ekyasuula abantu mu kibi; abantu baatambulanga ne bagenda n'ewala nga mu Daani okusinza mu maaso g'akamu.
31
Yakola ebiggwa mu bifo ebigulumivu, n'alonda ne bakabona okumala gava mu buli bantu, ne mu bataali bazzukulu ba Leevi.
32
Yassaawo embaga enkulu ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano mu mwezi ogwomunaana, nga lufaananako n'embaga ekuzibwa mu Yuda, n'atambira ku mwaliiro. Bw'atyo bwe yakola e Beteli, n'atambirira obuyana bwe yali akoze. Mu Beteli n'assaayo bakabona ku bifo ebigulumivu bye yali akoze.
33
Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwomunaana lwe yali yeesaliddewo yekka, yayambuka ku mwaliiro gwe yali azimbye mu Beteli, n'atambira. Bw'atyo n'ateerawo abantu ba Yisirayeli embaga enkulu, n'ayambuka ku mwaliiro n'anyookeza obubaani.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22