bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 4
1 Kings 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 5 →
1
Kabaka Solomoni yali afuga Yisirayeli yenna.
2
Bano be bakungu be yabeeranga nabo: Azariya, mutabani wa Zadoki, ye yali kabona;
3
Elikorefu ne Akiya batabani ba Sisa, nga bawandiisi; Yosafati mutabani wa Akiludi nga y'akuuma ebyafaayo;
4
Benaaya mutabani wa Yoyada nga y'ali ku ggye, ye Zadoki ne Abiyatari nga bakabona;
5
Azariya mutabani wa Natani nga ye mukulu w'abaamasaza; Zabudi mutabani wa Natani kabona, nga ye Munywanyi wa kabaka;
6
Akisari nga ye mulabirizi w'olubiri, ne Adoniramu mutabani wa Abuda nga y'akulira akasanvu.
7
Solomoni yali alina abaamasaza kkumi na babiri mu Yisirayeli yenna abaasakiriranga kabaka n'ennyumba ye emmere; buli omu yaleetanga ebyetaagibwa omwezi gumu mu mwaka.
8
Gano ge mannya gaabwe: Beni-Kuri mu nsozi za Efurayimu;
9
Beni-Dekeri mu Makazi ne mu Saalubimu, Beti-Semesi, ne Eloni-Beti-Kanaani.
10
Beni-Kesedi mu Arubboti, Soko kyalinga kikye n'ensi yonna ey'e Keferi.
11
Beni-Abinadabu nga y'alina ekitundu kyonna ekya Nafoti Dori; yali awasizza Tafati muwala wa Solomoni.
12
Baana, mutabani wa Akiludi, ng'ali mu Taanaki ne Megiddo ne Beti-Seyani yenna ekiri okumpi ne Zeretana emmanga wa Yezureeli, okuva e Beti-Sani okutuuka e Abeli-Mekola n'eri emitala wa Yokumewamu;
13
Beni-Geberi mu Ramoti-Gileyaadi yalinanga ebyalo bya Yayiri muzzukulu wa Manasse mu Gileyaadi, era ne mu kitundu kyonna eky'e Arugobu ekiri mu Basani, ebibuga nkaaga ebinene okuli ne bbugwe, enzigi n'emiyingo egy'ekikomo;
14
Akinadabu, mutabani wa Yiddo nga mu Makanayimu;
15
Akimaazi mu Nafutali naye yali awasizza Basemati muwala wa Solomoni;
16
Baana mutabani wa Kusayi mu Aseeri ne mu Beyaloti;
17
Yosafati, mutabani wa Paruwa mu Yissakari;
18
Semeyi, mutabani wa Ela mu Benyamiini;
19
Geberi, mutabani wa Wuri mu nsi y'e Gileyaadi, mu nsi y'e Sikoni kabaka w'Abaamori ne Ogi kabaka w'e Basani. Mu nsi ya kabaka eya Yuda mwalimu owessaza omu.
20
Abantu ba Yuda ne Yisirayeli baali bangi okwenkana omusenyu gw'ennyanja; balyanga ne banywa nga basanyufu.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22