bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 6
1 Kings 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 7 →
1
Solomoni yatandika okuzimba Ekiggwa ky'Omukama mu mwaka ogw'ebikumi ebina mu kinaana okuva Abayisirayeli lwe baava mu nsi y'e Misiri, mu mwaka ogwokuna ogw'obwakabaka bwa Solomoni mu Yisirayeli, mu mwezi ogwokubiri, Zivu.
2
Ekiggwa Solomoni kye yali azimbira Omukama kyali kya mikono nkaaga mu buwanvu, emikono amakumi abiri mu bugazi n'emikono amakumi asatu mu busimba.
3
Ekisasi mu maaso g'ekisenge ekinene eky'Ekiggwa kyali kya mikono amakumi abiri obuwanvu okwenkana n'obugazi bw'Ekiggwa, n'emikono kkumi obugazi mu bwenyi bw'Ekiggwa.
4
Mu Kiggwa n'akoleramu amadirisa amafunda ag'olukabazzi.
5
Yazimba ekisenge ekyaliko obusenge ng'akikookedde ku kisenge ekibugiriza Eddiiro n'Ekisenge eky'Omunda okukyetooloola.
6
Omwaliiro ogwa wansi gwali gwa mikono ataano mu bugazi, ate ogw'omu makkati nga gwa mikono mukaaga mu bugazi, ogwokusatu nga gwa emikono musanvu mu bugazi. Yakola ebweru w'ekisenge ky'Ekigwa oluzizi okukyetooloola emiti egiwanirira gireme kuyingira mu bisenge bya Kiggwa.
7
Mu kuzimba Ekiggwa, amayinja agamaze okubajjibwa mu kirombe gokka ge gaakozesebwa; ennyondo, embazzi na buli kya kyuma kyonna, tebyawulirwako mu Kiggwa nga kizimbibwa.
8
Omulyango gw'oku mwaliiro ogusooka gwali ku luuyi olw'emaserengeta olw'Ekiggwa; amadaala ageenyooleza gaayambukanga okugenda ku mwaliiro ogwokubiri, ate ne gasinziira awo okwambuka ku gwokusatu.
9
Bw'atyo yazimba Ekiggwa n'akimaliriza, n'akisereka n'emikomba n'embaawo ez'entolookyo.
10
Yazimba obusenge obw'ebbali okwetooloola Ekiggwa kyonna, obugulumivu emikono etaano; yabugatta n'Ekiggwa n'emikiikiro egy'entolookyo.
11
Ekigambo ky'Omukama ne kijjira Solomoni nti:
12
“Wuuno ozimba ekiggwa kino; bw'onootambulira mu mateeka gange, n'otuusanga ennamula yange, n'okwatanga ebiragiro byange byonna, n'obiwulira, nzija kutuukiriza mu ggwe bye nagamba Dawudi kitaawo.
13
Nzija kubeeranga mu makkati g'Abayisirayeli, sigenda kwabulira bantu bange Yisirayeli.”
14
Solomoni bw'atyo n'azimba Ekiggwa, n'akimaliriza.
15
Ebisenge by'Ekiggwa munda yabibembekako embaawo z'entolookyo, okuva ku mwaliiro gw'Ekiggwa wansi okutuusa waggulu ebisenge gye bikoma ku mikomba. Omwaliiro gw'Ekiggwa yagubikka embaawo eza sipulaasi.
16
Munda eri Ekiggwa gye kikoma yakutulako ekitundu kya mikono amakumi abiri, n'akibikka n'embawo ez'entolookyo okuva ku mwaliiro wansi okutuukira ddala waggulu. Bw'atyo mu Kiggwa n'akolamu Ekisenge eky'Omunda, Awatukuvu Ennyo.
17
Eddiiro, mu maaso g'Ekisenge eky'Omunda, lyali lya mikono amakumi ana obuwanvu.
18
Ebisenge munda mu Kiggwa byali bibikkiddwa n'embaawo ez'entolookyo, nga kwoleddwako endeku n'ebimuli ebyanyizza. Byonna byali bibikiddwa n'embaawo ez'entolookyo, nga tewali jjinja lirabikako bweru n'akatono.
19
Ekisenge ky'Ekisenge eky'Omunda yali akikoze munda mu Kiggwa, alyoke ateeke omwo Ssanduuku y'Endagaano ey'Omukama.
20
Ekisenge ky'Awatukuvu Ennyo kyali kya mikono amakumi abiri mu buwanvu, n'emikono amakumi abiri mu bugazi, n'emikono amakumi abiri mu busimba. Munda mwonna n'amaalamu ne zaabu atatabuddwamu kirala. Wansi mu Watukuvu Ennyo yamaalawo ne zaabu. N'omwaliiro n'agubikka n'embaawo ez'entolookyo.
21
Ekiggwa munda Solomoni yakimaala ne zaabu atatabuddwamu kirala; mu maaso g'Ekisenge eky'Omunda n'assaawo enjegere ensiige zaabu.
22
Ekiggwa kyonna yakisiiga zaabu okutuusa nga kyonna akimaze, n'Omwaliiro gw'Ekisenge eky'Omunda n'agubikka ne zaabu.
23
Mu Kisenge eky'Omunda yakoleramu bakerubi babiri mu miti egy'oliva, ng'obugulumivu bwa mikono kkumi.
24
Ekiwaawaatiro eky'omukerubi omu nga kiweza emikono etaano, n'ekiwaawaatiro ekyokubiri emikono etaano; ng'okuva ku kasongezo k'ekiwaawaatiro ekimu okukoona ku kasongezo k'ekirala wawerawo emikono kkumi.
25
N'omukerubi owookubiri yaliko emikono kkumi; bakerubi bombi nga ba kigero kimu, n'enfaanana ye emu.
26
Omukerubi omu obusimba ng'aliko emikono kkumi, n'omukerubi owookubiri naye bw'atyo.
27
Yateeka bakerubi mu kisenge eky'omunda ddala eky'Ekiggwa. Ebiwaawaatiro byabwe byali byanjuluze; ekiwaawaatiro ky'omu nga kikwata ku kisenge eky'eno, n'ekiwaawaatiro eky'owookubiri nga kikwata ku kisenge eky'eri. Ebiwaawaatiro ebitunuuliraganye nga bikwataganira wakati w'Ekiggwa.
28
Ne bakerubi yabasiiga zaabu.
29
N'ebisenge byonna eby'Ekiggwa eby'omunda n'ebweru okwetooloola, yayolako ebifaananyi bya bakerubi, eby'enkindu n'eby'ebimuli ebyanyizza.
30
Ne wansi ku myaliiro gy'ebisenge ebyo munda n'ebweru yasiigako zaabu.
31
Omulyango oguyingira Awatukuvu Ennyo yagukolera enzigi mu miti gy'oliva ez'emyango etaano.
32
Ku nzigi bbiri ez'omuti gw'oliva yayolako ebifaananyi bya bakerubi, eby'enkindu n'eby'ebimuli ebyanyizza. Ebifaananyi ebya bakerubi, n'enkindu n'ebimuli ebyanyizza yabibikka zaabu.
33
Mu ngeri ye emu yakola emyango ena mu miti gy'oliva olw'omulyango oguyingira mu Ddiiro.
34
Yakola n'enzigi bbiri mu miti gy'obufaraawo ez'ebiwero bibiri nga buli lumu lweggulira ku ppata, era n'enzigi endala bbiri ez'ebiwero nga zeggulira ku ppata.
35
N'ayolako ebifaananyi bya bakerubi, eby'enkindu n'eby'ebimuli ebyanyizza; byonna n'abisiigako zaabu.
36
Yazimba oluggya olwomunda lwa mayinja ga mbu ssatu amabajje, n'olubu lumu olw'emiti egy'entolookyo emiwawule.
37
Omusingi gw'Ekiggwa ky'Omukama gwasooka okubangibwa mu mwaka ogwokuna, mu mwezi Zivu;
38
ate mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu, mu mwezi ogwomunaana, Buli, Ekiggwa ne kimalirizibwa, na byonna eby'okukizimba nga bwe byali bitegekeddwa; yakizimbira emyaka musanvu.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22