bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 7
1 Kings 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 8 →
1
Solomoni olubiri lwe yaluzimbira emyaka kkumi n'esatu okutuukira ddala okulumaliriza.
2
Yazimba olubiri lwe yayita Ekibira kya Lebanoni. Lwali lwa mikono kikumi mu buwanvu, emikono ataano mu bugazi, ate obusimba emikono amakumi asatu, n'embu nnya ez'empagi ez'entolookyo ezaali ziwaniridde emikiikiro gy'emiti gy'entolookyo.
3
N'akasolya kaali ka miti gya ntolookyo, waggulu ku njaliiro ezaali ziwaniriddwa ku mpagi. Enjaliiro zaali amakumi ana mu ttaano mu mbu ssatu, nga ku buli lubu kuliko kkumi na ttaano.
4
Amadirisa gaali mawanike mu nnyiriri ssatu, nga gatunuuliganye.
5
Emiryango gyali gya myango ena buli gumu, nga giri mu nnyiriri ssatu mu maaso, nga gitunuuliganye.
6
Yazimbirako Eddiiro ery'Empagi lya mikono amakumi ataano obuwanvu, ate obugazi emikono amakumi asatu. Mu maaso gaayo yakookerako ebbalaza endala, mu maaso gaayo n'asimbawo empagi eziwaniridde akasasi.
7
Yazimba Ekisenge kya Nnamulondo, kye kisenge ky'Eggombolola, aw'okulamulira. Kyonna yakibikka n'embaawo ez'entolookyo okuva ku mwaliiro wansi okutuuka ku kasolya.
8
N'olubiri lwe olw'okusulamu lwali lwesuddeko mu luggya emabega ng'ovudde ku Ggombolola lwa nzimba ye emu. Solomoni era yakola n'ennyumba ya muwala wa Faraawo, Solomoni gwe yali awasizza, mu nkola ye emu ddala n'ey'Eggombolola.
9
Byonna ebizimbe bino, okuva ebweru okutuuka mu luggya olunene, okuva wansi okutuuka ku kasolya, byali bya mayinja ag'omuwendo, agabajjiddwa okutuukana n'ekigero ekyetaagibwa, ne gawoolebwa n'emisumeeni munda ne kungulu.
10
Emisingi gyabangibwa n'amayinja amanene, ag'omuwendo, emikono kkumi oba munaana obunene.
11
Ku ngulu kwa gano kwaliko olubu lw'amayinja ag'omuwendo, amabajje okutuukana n'ekigero ekyetaagibwa, n'embaawo ez'entolookyo.
12
Bbugwe w'oluggya olunene nga wa mbu ssatu ez'amayinja amabajje okwetooloola, n'olubu lumu olw'emiti gy'entolookyo emiyooyoote, okufaanana n'oluggya lw'Ekiggwa ky'Omukama munda, n'ekisasi ky'Ekiggwa.
13
Kabaka Solomoni yatumya n'aggya Kiramu e Tiiro.
14
Nnyina yali mukazi nnamwandu ow'omu kika kya Nafutali, kitaawe yali w'e Tiiro, nga muweesi wa bikomo. Kiramu yali ajjudde amagezi, okutegeera n'okumanya mu kuweesa n'ekikomo. Yajja ewa kabaka Solomoni, n'amukolera buli mulimu gwe gwonna.
15
Yaweesa empagi bbiri ez'ekikomo, buli emu nga ya mikono kkumi na munaana obuwanvu, nga buli emu ya bwetooloovu bwa mikono kkumi n'ebiri, n'empagi eyookubiri yali efaanana bw'etyo.
16
Yaweesezaako enkata ez'ekikomo bbiri ez'okussa ku ntwe z'empagi. Enkata emu yali ya mikono etaano obuwanvu, n'enkata endala nayo yali ya mikono etaano obuwanvu.
17
Enkata waggulu ku mpagi yazikolera obutimba obuluke mu mikuufu, buli nkata n'etimbibwako musanvu musanvu.
18
Yakola embu bbiri ez'amakomamawanga okwetooloola buli katimba, okuwoomesa enkata ezaali ku ntwe z'empagi zombi; buli nkata yagikolera kye kimu.
19
Enkata ezaali ku mpagi mu kisasi zaakolebwa mu kifaananyi ky'ekimuli ky'eddanga, nga za mikono ena obuwanvu.
20
Ate era waggulu ku mpagi, mu kibya ky'enkata, ng'ovudde ku katimba, kwaliko embu bbiri ez'amakomamawanga ebikumi bibiri okwetooloola buli nkata; kye kimu ne ku mpagi endala.
21
N'asimba empagi mu kisasi ky'Ekiggwa; empagi emu n'agissa ku mukono ogwa ddyo, n'agiyita Yakini; empagi endala n'agissa ku mukono ogwa kkono, n'agiyita Bowazi.
22
Enkata ku mitwe gy'empagi nga ziri mu kifaananyi ky'ekimuli ky'amalanga. N'amaliriza bw'atyo omulimu gw'empagi.
23
Yaweesa Ennyanja mu kyuma ekisaanuuse, nga neekulungirivu; okuva ku mugo okutuuka ku mugo nga ya mikono kkumi obugazi. Obugulumivu nga ya mikono etaano; okugyetoolooza olukoba olupima nga luba lwa mikono asatu obuwanvu.
24
Ate wansi w'omugo okwetooloola Ennyanja kwali kusibiddwako endeku, ze ndeku kkumi buli mukono. Endeku zaali ziweeseddwa mu nnyiriri bbiri, nga zonna n'Ennyanja biri ekintu kimu.
25
Ennyanja yali etuuziddwa ku nte ennume kkumi na bbiri, essatu nga zitunudde mambuka, essatu buvanjuba, essatu maserengeta, n'essatu bugwanjuba. Ennyanja okwo kwe yali etudde, ng'ebyensuti byazo bitunuulidde entobo y'Ennyanja.
26
Omubiri gw'Ennyanja nga gwenkana obugazi bw'ekibatu; omugo gwayo nga guli ng'omugo gw'ekikopo, era nga guli ng'omugo gw'ekimuli ky'eddanga ekyanyizza. Yali egendamu bati z'amazzi enkumi bbiri.
27
Yakolawo obutandaalo kkumi obw'ekikomo, nga buli kamu ka mikono ena obuwanvu, emikono ena obugazi, ate emikono esatu obusimba.
28
Obutandaalo bwali bukoleddwa mu ngeri eno: bwalina enzizi ez'obukiika nga zigatta n'enzizi ez'obusimba.
29
Ku migo, wakati w'enzizi ez'obusimba, nga waliwo empologoma, ente ne bakerubi, era ne ku ngulu ku mbaati; ku ngulu ku mpologoma ne ku nte ne wansi waazo ng'eriyo emige gy'ebimuli emiweese.
30
Buli katandaalo kaalina nnamuziga nnya ez'ekikomo, n'emisingi egy'ekikomo kwe zeetooloolera. Buli katandaalo kaalina ekinaabirwamu nga kiteredde ku magulu gaako ana, ku buli kugulu nga kuweesereddwako omuge ogw'ekimuli.
31
Munda w'akatandaalo waaliyo omumwa omwekulungirivu, nga gukka munda omukono gumu. Omumwa ogwo nga gusse okutuuka ku ntobo yaagwo, nga guweza omukono gumu n'ekitundu, ne ku mumwa nga kwetooloddwako ebifaananyi ebyole. Zo enzizi z'obutandaalo zaali za nsonda nnya, nga si neekulungirivu.
32
Nnamuziga ennya zaali wansi wa mbaati, ng'emisingi gyazo giyungiddwa ku katandaalo. Nnamuziga emu yali ya mukono gumu n'ekitundu obusimba.
33
Nnamuziga zaakolebwa ng'ez'ebigaali; emisingi, empanka, empagi n'enkata, byonna nga biweese.
34
Buli katandaalo kaalina emikono ena, gumu ku buli nsonda, emikono n'akatandaalo byali byonna ekintu kimu.
35
Ku ngulu ku katandaalo kwaliko akagongo okwetooloola, akaweza ekitundu ky'omukono obuwanvu. Amagulu n'enzizi byonna byali biyungiddwa ku ngulu kw'akatandaalo.
36
Ku magulu n'enzizi yayolako bakerubi, empologoma, n'enkindu buli we yasobolanga, n'emige gy'ebimuli okubyetoolooza.
37
Bw'atyo bwe yakola obutandaalo bwonna ekkumi; bwonna n'abuweesa mu nfaanana ye emu n'ebipimo bye bimu.
38
Yakola ebinaabirwamu kkumi eby'ekikomo, nga buli kimu kigendamu bati amakumi ana ez'amazzi. Buli kinaabirwamu nga kya mikono amakumi ana obwagaagavu; buli kimu kyali kya kutuula ku kamu ku butandaalo.
39
Obutandaalo butaano yabusimba ku luuyi olw'emaserengeta, ate n'obulala butaano ku luuyi olw'emambuka g'Ekiggwa. Ennyanja yagissa ku luuyi olw'amaserengeta g'Ekiggwa we kitunuuliridde ebuvanjuba.
40
Kiramu yakola ensuwa, ebitiiyo, n'ebibya ebikozesebwa mu kumansira. Kiramu bw'atyo n'amaliriza omulimu gwonna ogwa kabaka Solomoni mu Kiggwa ky'Omukama:
41
empagi bbiri, enkata ezaakula ng'ebibya, ku ntwe z'empagi ebbiri; obutimba obubiri obutimbiddwa ku nkata ebbiri ezaakula ng'ebibya, ezaali ku ntwe z'empagi;
42
amakomamawanga ebikumi ebina ku lw'ennyiriri ebbiri ez'obutimba; amakomamawanga aga buli lubu lwa butimba gaali nago mu nnyiriri bbiri ezaali zitimbiddwa ku nkata ezaakula ng'ebibya ezaali ku ntwe z'empagi;
43
obutandaalo ekkumi n'ebinaabirwamu byakwo ekkumi;
44
Ennyanja n'ente ekkumi n'ebbiri wansi waayo;
45
ensuwa, ebitiiyo, n'ebibya ebikozesebwa mu kumansira. Ebintu byonna Kiramu bye yakolera kabaka Solomoni olw'Ekiggwa ky'Omukama yabikola mu kikomo ekizigule.
46
Kabaka yabikozeseza mu butiba obw'ebbumba mu lusenyi lwa Yorudani, wakati wa Sukkoti ne Zaretani.
47
Solomoni ebintu byonna teyabipimisa, kubanga byali bingi nnyo nnyo; obuzito bw'ekikomo tebwamanyika.
48
Solomoni yakola byonna eby'okukozesa mu Kiggwa ky'Omukama: Omwaliiro ogwa zaabu; emmeeza eya zaabu okw'okuteekebwa Emigaati egy'Okwolesebwa;
49
ebikondo by'ettawaaza mu zaabu atatabuddwamu kirala: bitaano ku ddyo, bitaano ku kkono mu maaso g'Awatukuvu Ennyo; ebimuli, ettawaaza ne magalo ebya zaabu;
50
makansi, ebibya, ebijiiko n'ebyoterezo, nga bya zaabu atatabuddwamu kirala; n'eppata ez'oku miryango gy'ekisenge eky'omunda, Awatukuvu Ennyo, n'ez'oku miryango gy'Eddiiro, nga nazo za zaabu.
51
Omulimu gwonna Solomoni gwe yali akola ku Kiggwa ky'Omukama bwe gwamalirizibwa, n'ayingiza ebintu bya kitaawe Dawudi: ffeeza, zaabu n'eby'okuwoomesa, n'abissa mu nkuluze y'Ekiggwa ky'Omukama.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22