bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 5
1 Kings 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 6 →
1
Solomoni ye yafuganga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga okutuuka ku nsi y'Abafilisitiini, n'okutuuka ku nsalo za Misiri. Baamuwanga omusolo, era baamuweerezanga ennaku zonna ez'obulamu bwe.
2
Emmere ya Solomoni buli lunaku: kori amakumi asatu ez'obuwunga obukuŋŋunte, kori nkaaga ez'obuwunga bw'eŋŋano;
3
ente kkumi ensavuwaze, n'ente amakumi asatu ennundire ku ttale, endiga n'embuzi kikumi, nga tobaze ngabi, nnangaazi n'ensowe, ko n'enkoko ensavuwaze.
4
Anti yennyini yatwalanga ekitundu kyonna ekiri emitala w'eri ew'Omugga okuva e Tifusa okutuuka e Gaza, ne bakabaka bonna ab'emitala w'Omugga; yalina emirembe ku njuyi zonna.
5
Mu budde bwa Solomoni bwonna Yuda ne Yisirayeli, okuva ku Daani okutuuka e Beriseba, baalinga beetuulidde ntende awatali kutya kwonna, buli omu wansi w'omuzabbibu gwe, n'omukunyu gwe.
6
Solomoni yalina ebisibo enkumi nnya eby'embalaasi ez'ebigaali, n'abeebagazi omutwalo gumu mu enkumi bbiri.
7
Abaamasaza bano buli mwezi baaleeteranga Solomoni kabaka emmere n'abo be yalyanga nabo; tewali kye baalekangayo.
8
Baaleetanga mu bifo ebipimo by'eŋŋano n'essubi olw'embalaasi ng'etteeka bwe lyali ku buli omu.
9
Katonda yawa Solomoni amagezi, okutegeera ennyo, n'omutima omugazi obulala okwenkana obungi bw'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja.
10
Amagezi ga Solomoni gaasoolooba ku magezi g'abantu bonna ab'ebuvanjuba ne ku magezi g'omu Misiri.
11
Yali mugezi okusinga abantu bonna; yali asinga ne Etani Omwezira ne Emani, Kalukoli ne Daruda batabani ba Makooli. Erinnya lye ne limanyika mu mawanga gonna ageetooloddewo.
12
Solomoni yafumba engero enkumi ssatu; ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano.
13
Yayogera ku bifa ku miti, okuva ku ntolookyo z'omu Lebanoni okutuuka ku yissopo amera ku bisenge; n'attottola ebifa ku nsolo, ku binyonyi, ku byewalula, ne ku byennyanja.
14
Abantu baavanga mu mawanga gonna ne bajja okuwulira amagezi ga Solomoni; baavanga ewa bakabaka bonna ab'ensi abaali bawulidde ku magezi ge.
15
Ne Kiramu, kabaka w'e Tiiro bwe yawulira nti Solomoni bamusiize abeere kabaka okusikira kitaawe, n'atuma abaweereza be ewa Solomoni, kubanga Kiramu yali mukwano gwa Dawudi obudde bwonna.
16
Ne Solomoni n'aweereza obubaka ewa Kiramu, n'agamba nti:
17
“Omanyi nti kitange Dawudi teyasobola kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we kiggwa olw'entalo ezaali zimwetoolodde, okutuusa Omukama lwe yassa abalabe be wansi w'ebigere bye.
18
Kale nno Omukama Katonda wange ampadde emirembe ku njuyi zonna, mpaawo mulabe oba ekiguddewo kyonna.
19
Kale nno ndowooza eky'okuzimbira erinnya ly'Omukama Katonda wange ekiggwa, ng'Omukama bwe yagamba Dawudi Kitange nti: ‘Omwana wo gwe ndikusikiza ku nnamulondo yo, y'alizimbira erinnya lyange ekiggwa.’
20
Lagira nno bantemere entolookyo z'omu Lebanoni, abaweereza bange banaakola n'abaweereza bo; nnaakuwa empeera y'abaweereza bo bonna gy'onooba osabye. Naawe omanyi nga mu bantu bange temuli musajja amanyi kutema miti ng'Abasidoni.”
21
Kiramu bwe yawulira ebigambo bya Solomoni, n'asanyuka nnyo, n'agamba nti: “Omukama agulumizibwe olwa leero eyawa Dawudi omwana omugezi afuge eggwanga lye eddene.”
22
Awo Kiramu n'atuma ewa Solomoni, n'agamba nti: “Obubaka bwo bw'ompeerezza mbufunye. Nzija kukola kyonna ky'oyagala ku by'emiti gy'entolookyo ne sipulaasi.
23
Basajja bange bajja kugisika okugiggya ku Lebanoni bagireete ku nnyanja; ate nze nzija kugikolamu ekibaya ngiseeyeeyeze ku nnyanja, ngigobye ku kifo ky'onooba ombuulidde, ngigombolole, ogiggyewo. Ate ggwe ononkolera kye njagala ng'ompa ebyokuliisa amaka gange.”
24
Bwe kityo Kiramu n'awanga Solomoni endoddo z'entolookyo ne sipulaasi nga bwe yayagalanga,
25
ye Solomoni ng'awa Kiramu kori emitwalo ebiri ez'eŋŋano okuliisa amaka ge, ne kori emitwalo ebiri ez'omuzigo omukamule; ebyo Solomoni yabiwanga Kiramu buli mwaka.
26
Omukama era yawa Solomoni amagezi nga bwe yamugamba. Kiramu ne Solomoni ne bakolagananga bulungi, era bombi ne bakola endagaano.
27
Kabaka Solomoni n'alonda abakozi b'akasanvu mu Yisirayeli wonna, abasajja emitwalo esatu.
28
Yabasindikanga mu mpalo, omutwalo gumu gumu buli mwezi, nga bamala omwezi gumu mu Lebanoni ate emirala ebiri ne bagimala awaka. Adoniramu ye yakuliranga akasanvu ako.
29
Solomoni yalinanga abeetissi emitwalo musanvu, n'abakomozi b'amayinja mu nsozi emitwalo munaana,
30
nga tobaze bannampala enkumi ssatu mu bisatu abaali bateereddwa Solomoni ku mulimu, abaakuliranga abakozi ku mulimu.
31
Kabaka n'alagira ne baasa agayinja aganene ag'omuwendo olw'okubanga omusingi gw'Ekiggwa, ne bagabajja.
32
Baffundi ba Solomoni n'abazimbi ba Kiramu ne Gebali ne batema emiti ne babajja n'amayinja, ne bateekateeka okuzimba Ekiggwa.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22