bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 14
1 Kings 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 15 →
1
Mu budde obwo Abiya mutabani wa Yerobowamu n'alwala.
2
Yerobowamu n'agamba mukazi we nti: “Situka, weebuzeebuze nga totegeerekeka nti ggwe muka Yerobowamu, ogenda mu Silo; omulanzi Akiya abeera eyo, oyo eyaŋŋamba nti nzija kubeera kabaka w'abantu bano.
3
Twala emigaati kkumi, obundaazi n'ensumbi y'omubisi gw'enjuki ogende gy'ali; oyo ajja kukumanyisa ekinaatuuka ku mwana.”
4
Mukazi wa Yerobowamu n'akola nga bwe yagamba, n'agenda e Silo, n'ajja mu nnyumba ya Akiya. Kati nno Akiya yali tasobola kulaba, amaaso ge gaali gazibye olw'obukadde.
5
Omukama yali agambye Akiya nti: “Muka Yerobowamu wuuyo ajja okukwebuuzaako ebifa ku mutabani we kubanga mulwadde; mugambe bino na bino. Bw'anaayingira ajja kubeera nga yeebuzizzabuzizza.”
6
Akiya olwawulira ebigere bye ng'ayingira mu mulyango, n'agamba nti: “Yingira, muka Yerobowamu. Lwaki weebuzaabuza? Ntumiddwa gy'oli n'amawulire, naye nga si malungi.
7
Genda ogambe Yerobowamu nti: ‘Omukama, Katonda wa Yisirayeli agamba kino: “Nakugulumiza mu bantu, ne nkufuula omukulembeze w'abantu bange Yisirayeli.
8
Obwakabaka nabuyuza ku nnyumba ya Dawudi ne mbukuwa, naye ggwe tobadde nga muweereza wange Dawudi eyakwata ebiragiro byange, n'angoberera n'omutima gwe gwonna, ng'akola bituufu byokka mu maaso gange.
9
Oyonoonye n'okukira bonna abaakukulembera. Weekolera ne balubaale, n'ebifaananyi byabwe ebisaanuuse. Onnyiizizza, n'onkuba amabega.
10
Olw'ensonga eyo nzija kukola ennyumba ya Yerobowamu akabi. Nzija kukutulako buli ayitibwa omusajja mu nnyumba ya Yerobowamu, abeere muddu oba omwana ow'eddembe mu Yisirayeli; nzija kwokya mmalewo ennyumba ya Yerobowamu ng'obusa bwe bwokebwa okutuusa nga busirisse.
11
Abava mu Yerobowamu abaliba bafiiridde mu kibuga, embwa ziribakavvula, abaliba bafiiridde ku ttale ebinyonyi by'omu bbanga biribalya, kubanga Omukama ayogedde.” ’
12
Kale nno ggwe situka, odde ewammwe; olunaalinnya oti ekigere mu kibuga kyo, ng'omwana afa;
13
Yisirayeli yenna ajja kumukungubagira, amuziike. Ku bava mu Yerobowamu, oyo yekka y'aliziikibwa mu ntaana, kubanga ye yekka mu nnyumba ya Yerobowamu Omukama Katonda wa Yisirayeli mwe yasanga ekimusanyusa.
14
Omukama ajja kwesitusizaawo kabaka ow'okufuga Yisirayeli alizikiriza ennyumba ya Yerobowamu.
15
Omukama ajja kukuba Yisirayeli, abeere ng'olumuli bwe luyuuga mu mazzi; ajja kusimbula Yisirayeli mu nsi eno ennungi gye yawa bajjajjaabwe, abasaasaanyize emitala w'Omugga, kubanga baanyiiza Omukama nga beekolera empagi za Asera.
16
Omukama ajja kuwaayo Yisirayeli olw'okubeera ebibi bya Yerobowamu bye yakola n'aleetera ne Yisirayeli okubigwamu.”
17
Muka Yerobowamu n'asituka, n'agenda, n'ajja mu Tiruza. Olwabuuka bw'ati omulyango ayingire ennyumba, omwana n'afa,
18
ne bamuziika, ne Yisirayeli yenna n'amukungubagira ng'ekigambo ky'Omukama bwe kyali kye yali ayogedde ng'ayita mu muweereza we Akiya omulanzi.
19
Ebirala mu bifaayo bya Yerobowamu, entabaalo ze, ne nga bwe yafuga, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
20
Yerobowamu yafugira emyaka amakumi abiri mu ebiri; n'agalamira ne bajjajjaabe. Nadabu mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
21
Rekobowamu, mutabani wa Solomoni ye yali kabaka mu Yuda. Rekobowamu yafuuka kabaka nga wa myaka ana mu gumu. Yafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yeruzaalemu, ekibuga Omukama kye yalonda mu bika byonna ebya Yisirayeli gy'aba ateeka erinnya lye. Nnyina yali ayitibwa Naama, nga Mwammoni.
22
Yuda n'akola ekibi mu maaso g'Omukama; basiikuula obuggya bw'Omukama n'ebyonoono byabwe okusinga ne bajjajjaabwe bwe baali bakoze.
23
Beezimbira ebifo ebigulumivu, ne basimba amayinja n'empagi za Asera ku buli kasozi ne wansi wa buli muti oguggumizza.
24
Mu nsi mwalimu ne bamalaaya ab'omu biggwa abasajja; ne bakola ebyenyinyalwa eby'amawanga Omukama ge yagoba mu maaso g'Abayisirayeli.
25
Mu mwaka ogwokutaano ogw'obwakabaka bwa Rekobowamu, Sisaki kabaka w'e Misiri yalumba Yeruzaalemu,
26
n'atwala amakula g'Ekiggwa ky'Omukama n'amakula ga kabaka, na byonna omwali n'engabo zonna eza zaabu Solomoni ze yali akoze.
27
Mu kifo kyazo kabaka Rekobowamu n'akola engabo ez'ekikomo, n'azikwasa abaduumira abakuumi abaakuumanga mu maaso g'olubiri lwa kabaka.
28
Kabaka bwe yabanga agenda mu Kiggwa ky'Omukama, abakuumi nga bambalira engabo, oluvannyuma baazizzangayo mu buzigo bw'abakuumi.
29
Ebirala mu bifaayo bya Rekobowamu ne bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
30
Entalo tezaatanga wakati wa Rekobowamu ne Yerobowamu bulijjo.
31
Rekobowamu n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa nabo mu Kibuga kya Dawudi. Erinnya lya nnyina ye yali Naama, Omwammoni. Abiya mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22