bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 19
1 Kings 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 20 →
1
Akabu n'abuulira Yezebeli byonna Eliya bye yali akoze, nga bwe yali asse abalanzi bonna n'ekitala.
2
Yezebeli n'atuma omubaka ewa Eliya n'amugamba nti: “Balubaale bankole bwe batyo, ate basinze nawo, singa enkya mu budde nga buno obulamu bwo nnaaba sibufudde ng'obw'omu ku abo.”
3
Eliya n'atya, n'asituka, n'adduka awonye obulamu bwe. Bwe yatuuka e Beeriseba ekya Yuda, n'aleka awo omuweereza we,
4
ye ne yeeyongerayo mu ddungu olugendo lwa lunaku lumu. Yasanga oluvunvu, n'atuula wansi waalwo, ne yeesabira okufa. N'agamba nti: “Kimmala, ayi Mukama, leka nfe, anti nange sisinga bajjajjange bulungi.”
5
N'agalamira wansi w'oluvunvu, ne yeebaka. Malayika n'amukwatako, n'amugamba nti: “Situka olye.”
6
N'akebuka, emitwetwe we nga waliwo omugaati omukalirire ku manda n'ensumbi y'amazzi; n'alya, n'anywa, n'addawo ne yeebaka.
7
Malayika w'Omukama n'akomawo ogwokubiri n'amukwatako n'amugamba nti: “Situka olye, kubanga okyalina olugendo luwanvu.”
8
Bwe yazuukuka, n'alya, n'anywa; n'atambulira ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana ku maanyi g'emmere eyo okutuusa lwe yatuuka ku Korebu, olusozi lwa Katonda.
9
Bwe yatuukayo, n'ayingira mu mpuku n'asula omwo. Ekigambo ky'Omukama ne kimujjira nti: “Eliya, okola ki wano?”
10
Ye n'ayanukula nti: “Ntakabanidde Omukama Katonda w'Amagye, kubanga abantu ba Yisirayeli baabulidde endagaano yo, emyaliiro gyo bagimenyeewo, n'abalanzi bo babasse n'ekitala; nze nzekka nze nsigaddewo, ate nange bannoonya okunzita.”
11
Omukama n'amugamba nti: “Fuluma, yimirira ebweru ku lusozi mu maaso g'Omukama kubanga Omukama ajja kubeera ng'ayitawo.” Ne wajja kibuyaga omungi ow'amaanyi, n'alyebula ensozi, n'ayasayasa enjazi mu maaso g'Omukama; naye Omukama teyali mu kibuyaga. Nga kibuyaga ayise, ne wajja musisi; naye Omukama teyali mu musisi.
12
Musisi bwe yakoma, ne wajja omuliro; naye Omukama teyali mu muliro. Omuliro nga guyise, ne wabaawo akaloboozi akatono akasiiya.
13
Eliya olwakawulira, n'abikka amaaso ge n'omunagiro, n'afuluma, n'ayimirira ku mulyango gw'empuku. Eddoboozi ne limugamba nti: “Eliya, okola ki wano?”
14
Ye n'ayanukula nti: “Ntakabanidde Omukama Katonda w'Amagye, kubanga abantu ba Yisirayeli baabulidde endagaano yo, emyaliiro gyo bagimenyeewo, n'abalanzi bo babasse n'ekitala; nze nzekka nze nsigaddewo, ate nange bannoonya okunzita.”
15
Omukama n'amugamba nti: “Genda, kwata ekkubo lye limu eryakuleeta, olage mu ddungu ly'e Damasiko. Bw'otuukayo, siiga Kazayeli omuzigo abeere kabaka wa Aramu
16
Siiga ne Yewu mutabani wa Nimusi omuzigo abeere kabaka wa Yisirayeli, ate Elisa mutabani wa Safati, ali e Abeli-Mekola, musiige omuzigo abeere mulanzi, akusikire.
17
Laba, Yewu alitta buli yenna alisumattuka ekitala kya Kazayeli, ate aliba asumattuse Yewu, Elisa alimutta.
18
Kyokka mu Yisirayeli nzija kweterekeramu abantu kasanvu: amaviivi gaabo bonna abatafukaamiriranga Baali, n'ab'emimwa egitamunywegeranga.”
19
N'asitula n'avaayo, n'asanga Elisa, mutabani wa Safati ng'alima n'emigogo kkumi n'ebiri egy'ente, ye yali agoba gwa kkumi n'ebiri. Eliya n'agenda w'ali n'amukasukako omunagiro gwe.
20
Amangu ago naye n'aleka ente ze n'adduka ng'agoberera Eliya. N'amugamba nti: “Nkwegayiridde ndeka ŋŋende nnywegere taata ne maama, mbasiibule, nzije nkugoberere.” N'amugamba nti: “Ddayo, nze nkukoze ki?”
21
Elisa n'akyuka, n'agenda. N'akwata ebikoligo by'ente n'azitta, ebiti by'enkumbi n'abifumbisa ennyama, n'agiwa abantu ne balya. Awo n'asituka n'agoberera Eliya, n'amuweerezanga.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22