bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Kings 18
1 Kings 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 19 →
1
Nga wayise ebbanga ggwanvu, ekigambo ky'Omukama ne kijjira Eliya mu mwaka ogwokusatu nti: “Genda weeyoleke Akabu, ndyoke ntonnyese enkuba ku nsi”
2
Eliya n'agenda okweyoleka ewa Akabu. Enjala nno yali ekanyizza mu Samariya.
3
Akabu n'ayita Obadiya omuwanika w'ennyumba ye. Obadiya nno yali atya nnyo Omukama.
4
Yezebeli bwe yali atta abalanzi b'Omukama, Obadiya yaddira abalanzi kikumi n'abakweka mu mpuku bbiri, ataano ataano buli mpuku, n'abawanga emmere n'amazzi.
5
Kati nno Akabu n'agamba Obadiya nti: “Yitaayita mu nsi, ku nzizi zonna ne mu biwonvu byonna. Oboolyawo tunaasobola okusangayo ku muddo tuwonye embalaasi n'ennyumbu, tuleme kutta ku bisolo byaffe.”
6
Ne beegabanyizaamu ebitundu eby'okwetooloola, Akabu n'adda oludda olumu, ne Obadiya n'adda oludda olulala.
7
Obadiya aba ali mu kkubo, Eliya n'amusisinkana. Obadiya bwe yamutegeera, n'amuvunnamira, n'agamba nti: “Ddala ggwe mukama wange Eliya?”
8
Ye n'amwanukula nti: “Ye nze. Genda ogambe mukama wo nti: ‘Eliya ali wano.’ ”
9
Obadiya n'addamu nti: “Kibi ki kye nkoze kyovudde owaayo omuweereza wo mu mikono gya Akabu anzite?
10
Mazima Omukama Katonda wo nga mulamu, tewali ggwanga oba bwakabaka mukama wange gy'atatumye ng'akunoonya. Eggwanga oba obwakabaka gye baayanukulanga nti: ‘Eno taliiyo,’ ng'abalayiza nti tebakusangangako.
11
Kati wuuno oŋŋamba nti: ‘Genda ogambe mukama wo nti: “Eliya ali wano.” ’
12
Bwe tunaamala okwawukana omwoyo gwa Katonda gujja kukutwala mu kifo gye simanyi. Bwe nnaagamba Akabu n'atakusanga, nze gw'anatta, sso ng'omuweereza wo yatya Omukama okuviira ddala mu buvubuka.
13
Mukama wange, ggwe tomanyanga kye nakola luli Yezebeli lwe yali atta abalanzi b'Omukama, nga ku balanzi b'Omukama bwe nakwekako kikumi mu mpuku bbiri, ataano ataano mu buli mpuku, ne mbawanga emmere n'amazzi?
14
Ate kati ggwe oŋŋamba nti: ‘Genda ogambe mukama wo nti: “Eliya ali wano.” ’ Ajja kunzita.”
15
Eliya n'agamba nti: “ Mazima Omukama w'Amagye nga mulamu, gwe mpeereza, nzija kweraga Akabu olwa leero.”
16
Obadiya n'agenda okusisinkana Akabu, n'amugamba. Akabu n'ajja okusisinkana Eliya.
17
Bwe yalaba Eliya n'amugamba nti: “Ggwe wuuyo omutawaanya wa Yisirayeli?”
18
Eliya n'amuddamu nti: “Sitawaanya Yisirayeli, wabula ggwe n'ennyumba ya kitaawo, mmwe mukikola bwe mwaleka amateeka g'Omukama, ne mugoberera Baali.
19
Kale kati tuma, okuŋŋaanye Yisirayeli yenna bansisinkane ku lusozi Karumeli, ssaako n'abalanzi ba Baali ebikumi bina mu ataano, n'abalanzi ba Asera ebikumi bina abalya ku mmeeza ya Yezebeli.”
20
Akabu n'atuma wonna mu Yisirayeli, n'akuŋŋaanyiza abalanzi ku lusozi Karumeli.
21
Eliya n'asembera eri abantu bonna, n'agamba nti: “Munaatuusa wa okwebuukiza wakati w'enkulu ebbiri? Oba Omukama ye Katonda, mumugoberere, oba Baali, mumugoberere.” Abantu ne batabaako kye bamwanukula.
22
Eliya n'agamba abantu nti: “Nze nzekka nze mulanzi w'Omukama asigaddewo, naye abalanzi ba Baali bali abasajja bikumi bina mu ataano.
23
Batuwe ente bbiri; beerondereko ente emu, bagitemeeteme bagisse ku nku; naye tebakumako muliro. Nange ente endala nzija kugikola kye kimu; nzija kugissa ku nku, naye sijja kugikumako muliro.
24
Olwo mukoowoole erinnya lya lubaale wammwe, nange nzija kukowoola erinnya ly'Omukama; anaayanukula n'omuliro, ng'oyo ye Katonda.” Abantu bonna ne baanukula nti: “Oyogedde bulungi.”
25
Eliya n'agamba abalanzi ba Baali nti: “Mmwe muba musooka okweronderamu ente emu, kubanga mmwe bangi, mugitegeke; mukoowoole erinnya lya lubaale wammwe; naye temukuma muliro.”
26
Ne baddira ente gye yali abawadde, ne bagitegeka. Ne bakowoola erinnya lya Baali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu, nga bagamba nti: “Ayi Baali, tuwulire.” Naye nga teri kanyego, teri ayanukula. Ne bazina nga beebuukiza okwetooloola omwaliiro gwe baali bakoze.
27
Bwe bwatuuka mu ttuntu Eliya n'abakudaalira ng'abagamba nti: “Muleekaane okusingawo! Anti lubaale! Oboolyawo alina bingi ebimulabankanyizza, oba atawuka nnyo, oba ali mu lugendo! Akyayinza okuba nga yeebase nga yeetaaga kuzuukusa.”
28
Ne baleekaana okukirawo, ne beesalaasala n'ebitala n'amafumu okutuusa omusaayi okujja, ng'empisa yaabwe bwe yali.
29
Ettuntu ne liggwaako nga bali mu ebyo eby'okulanga ne batuusa ku budde obw'ekitambiro eky'akawungeezi. Naye tewaali ddoboozi, tewaali ayanukula, tewaali kanyego.
30
Eliya n'agamba abantu bonna nti: “Mujje we ndi.” Abantu bwe baasembera, n'ategeka omwaliiro gw'Omukama ogwali gwonooneddwa.
31
Yaddira amayinja kkumi n'abiri, omuwendo gw'ebika by'abaana abava mu Yakobo, beebo Omukama mu kigambo kye be yayogerako nti: “erinnya lyo liriba Yisirayeli.”
32
N'addira amayinja, n'azimbisa omwaliiro mu linnya ly'Omukama, n'akola olusalosalo okwetooloola omwaliiro nga lujjula seya bbiri ez'ensigo.
33
N'ategeka enku, ente n'agitemaatema ebiyingula, n'abissa ku nku. N'abagamba nti: “Ensuwa nnya muzijjuze amazzi, mugayiwe ku kitone eky'okwokya ne ku nku.”
34
N'ayongera n'agamba nti: “Mwongereeyo n'ogwokubiri;” ne bongerayo ogwokubiri. N'abalagira nti: “Mwongereeyo ogwokusatu;” ne bongera ogwokusatu.
35
Amazzi ne gakulugguka okwetooloola omwaliiro, olusalosalo ne lujjula.
36
Obudde bwe bwatuuka obw'okuweereza ekitambiro, Eliya omulanzi n'asembera, ne yeegayirira nti: “Ayi Mukama Katonda wa Yiburayimu, Yizaake ne Yisirayeli, olwa leero yoleka nga ggwe Katonda mu Yisirayeli, nange nga nze muweereza wo, nga na bino byonna mbikoze ng'ondagidde.
37
Nziraamu, ayi Mukama; nziraamu, abantu bano bayige nti: ayi Mukama, oli Katonda, ogezaako okukyusa emitima gyabwe.”
38
Awo omuliro gw'Omukama ne guwanuka wa ggulu ne gusenkenya ekitambiro ekyokye, enku, amayinja n'enfuufu, ne gukomba n'amazzi agaali mu lusalosalo.
39
Abantu bonna bwe baakiraba, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe, ne bagamba nti: “Omukama ye Katonda! Omukama ye Katonda!”
40
Eliya n'abagamba nti: “Mukwate abalanzi ba Baali; temuganya n'omu kudduka.” Bwe baabakwata, Eliya n'abatwala mu Kiwonvu Kisoni, n'abasanjagira eyo.
41
Eliya n'agamba Akabu nti: “Genda olye, onywe, kubanga waliwo okuduma okw'enkuba ey'amaanyi.”
42
Akabu n'agenda alye, anywe. Ye Eliya n'alinnya ku ntikko ya Karumeli, n'afukamira ku ttaka, omutwe n'agussa mu maviivi ge.
43
N'agamba omuweereza we nti: “Genda olengere ku nnyanja.” N'agenda, n'alengera, n'agamba nti: “Teri kantu.” Eliya n'amulagira emirundi musanvu nti: “Ddayo.”
44
Ku gwomusanvu, omuweereza n'amugamba nti: “Kati eriyo akale akatono ng'omukono gw'omuntu, kasituka mu nnyanja.” N'agamba nti: “Genda ogambe Akabu nti: ‘Tandiika ekigaali kyo okkirire ng'enkuba tennakukwata.’ ”
45
Mu kiseera ekyo eggulu ne likwata ebire, kibuyaga n'asituka, enkuba n'eyiika nnyingi. Akabu n'alinnya ekigaali kye n'agenda e Yezureeli.
46
Omukono gw'Omukama ne gujja ku Eliya, n'asiba ekimyu mu kiwato, n'adduka ng'akulembeddemu Akabu okutuukira ddala e Yezureeli.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22