bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 11
Matthew 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 12 →
1
Awo olwatuuka Yesu bwe yamaliriza okulagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri (12), n'avaayo n'agenda okuyigiriza n'okubuulira mu bibuga byabwe.
2
Naye Yokaana bwe yawulirira mu kkomera, Kristo by'akola, n'atuma abayigirizwa be,
3
okumubuuza nti, “Ggwe wuuyo ajja oba tulindirire mulala?”
4
Yesu n'abaddamu nti, “Muddeyo mutegeeze Yokaana bye muwulira ne bye mulaba;
5
abazibye amaaso balaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukizibwa, n'abanaku babuulirwa enjiri.
6
Naye alina omukisa oyo yenna atalinneesittalako.”
7
Nabo bwe baagenda, Yesu n'atandika okwogera n'ebibiina ku Yokaana nti, “Kiki kye mwagenderera mu ddungu okutunuulira? Olumuli olunyeenyezebwa n'empewo?
8
Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Omuntu ayambadde ezinekaaneka? Laba, abambala ezinekaaneka baba mu nnyumba za bakabaka.
9
Naye kiki kye mwagenderera? Kulaba nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi.”
10
“ Oyo ye yawandiikibwako nti,” “ ‘Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go. ’ ” “ ‘Alikukulembera alirongoosa ekkubo lyo.’ ”
11
“‘Ddala mbagamba nti Tevanga mu abo abazaalibwa abakazi omuntu asinga Yokaana Omubatiza; naye omuto mu bwakabaka obw'omu ggulu amusinga ye.
12
Okuva ku biro bya Yokaana Omubatiza okutuusa leero obwakabaka obw'omu ggulu buwaguzibwa, n'ababuwaguza babunyaga lwa maanyi.
13
Kubanga bannabbi bonna n'amateeka baayogeranga ebya Katonda okutuusa ku Yokaana, ebifa ku bwakabaka.
14
Era oba nga mwagala okukkiriza, oyo ye Eriya agenda okujja.’
15
Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
16
Naye emirembe gino nnaagifaananya ki? Gifaanana n'abaana abato abatuula mu butale abayita bannaabwe,
17
nga bagamba nti, ‘Twabafuuyira emirere, so nammwe temwazina; twabakubira ebiwoobe, so temwakaaba.’
18
Kubanga Yokaana yajja nga talya so nga tanywa, ne boogera nti, ‘Aliko dayimooni.’
19
Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne boogera nti, ‘Laba, omuluvu oyo, era omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi!’ Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa byago.”
20
Awo Yesu n'atandika okubuulirira ebibuga mwe yakolera eby'amagero eby'amaanyi, kubanga tebyenenya n'agamba nti,
21
“Zirikusanga ggwe Kolaziini! Zirikusanga ggwe Besusayida! Kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne Sidoni, singa byenenya dda, singa bali mu bibukutu ne mu vvu.
22
Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango Ttuulo ne Sidoni baliba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga mmwe.
23
Naawe, Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka ku ggulu? Olikka emagombe; kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu ggwe singa byakolerwa mu Sodomu, singa weekiri ne kaakano.
24
Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango ensi y'e Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga ggwe.”
25
Mu kiseera ekyo, Yesu yaddamu n'agamba nti, “Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga wakisa ebigambo bino ab'amagezi n'abakalabakalaba n'obibikkulira abaana abato;
26
weewaawo, Kitange, kubanga bwe kityo bwe kyasiimibwa mu maaso go.
27
Ebintu byonna byankwasibwa Kitange; so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumumubikkulira.
28
Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.
29
Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima, nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu myoyo gyammwe.
30
Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n'omugugu gwange mwangu.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28