bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 27
Matthew 27
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 28 →
1
Awo obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n'abakadde b'abantu ne bateeseeza wamu ku by'okutta Yesu;
2
ne bamusiba, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato owessaza.
3
Awo Yuda, eyalya mu Yesu olukwe, bwe yalaba nga Yesu omusango gumusinze, ne yejjusa, n'addiza bakabona abakulu n'abakadde ebitundu ebyo asatu (30) ebya ffeeza,
4
nga bw'agamba nti, “Nnayonoona okulyamu olukwe omusaayi ogutalina kabi.” Naye bo ne bamugamba nti, “Guno guli ku ffe? Musango gwo.”
5
Effeeza n'azisuula mu Yeekaalu, n'afuluma, n'agenda yeetuga.
6
Naye bakabona abakulu ne batwala ebitundu biri ebya ffeeza, ne bagamba nti, “Kya muzizo okubiteeka mu ggwanika lya Katonda, kubanga muwendo gwa musaayi.”
7
Ne bateesa, ne bazigulamu olusuku lw'omubumbi, okuziikangamu abagenyi.
8
Olusuku luli kyeruva luyitibwa olusuku lw'omusaayi, ne kaakano.
9
Awo n'ekituukirira ekyayogerwa nnabbi Yeremiya ng'agamba nti, “Ne batwala ebitundu ebya ffeeza asatu (30), omuwendo abantu abamu ku baana ba Isiraeri gwe baamulamulamu;
10
ne babigulamu olusuku lw'omubumbi, nga Mukama bwe yandagira.”
11
Awo Yesu n'ayimirira mu maaso g'owessaza; owessaza n'amubuuza ng'agamba nti, “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti, “Oyogedde.”
12
Wadde Bakabona abakulu n'abakadde baamuloopa, naye ye n'ataddamu n'akatono.
13
Awo Piraato n'amugamba nti, “Towulira bigambo bino byonna bye bakulumiriza bwe biri?”
14
Naye Yesu teyamuddamu na kigambo na kimu; owessaza n'okwewuunya ne yeewuunya nnyo.
15
Naye ku mbaga ejjukirirwako Okuyitako, ow'essaza yalina empisa okusumululiranga ekibiina omusibe omu, gwe baayagalanga.
16
Era mu biro ebyo baalina omusibe eyali amanyiddwa ennyo ayitibwa Balaba.
17
Awo bwe baakuŋŋaana, Piraato n'abagamba nti, “Aluwa gwe mwagala mbasumululire? Balaba, oba Yesu ayitibwa Kristo?”
18
Kubanga yamanya nga bamuweesezzaayo buggya.
19
Naye bwe yatuula ku ntebe esaalirwako emisango, mukazi we n'amutumira, ng'agamba nti, “Omuntu oyo omutuukirivu tomukolako kabi n'akatono, kubanga olwaleero nnalumiddwa bingi mu kirooto ku lulwe.”
20
Naye bakabona abakulu n'abakadde ne bafukuutirira ebibiina okusaba Balaba, bazikirize Yesu.
21
Naye owessaza n'addamu n'ababuuza nti, “Ku abo bombi aluwa gwe mwagala mbasumululire?” Ne baddamu nti, “Balaba.”
22
Piraato n'abagamba nti, “Kale nnaakola ntya Yesu ayitibwa Kristo?” Bonna ne baddamu nti, “Akomererwe.”
23
Piraato n'ababuuza nti, “Lwaki? Ekibi ky'akoze kiruwa?” Naye ne bakaayana nnyo, ne bagamba nti, “Akomererwe.”
24
Naye Piraato bwe yalaba nga taasobole n'akatono, era nga bayinze okukaayana, n'addira amazzi, n'anaaba mu ngalo mu maaso g'ekibiina ng'agamba nti, “Nze siriiko kabi olw'omusaayi gw'omuntu ono omutuukirivu; musango gwammwe.”
25
Abantu bonna ne baddamu ne bagamba nti, “Omusaayi gwe gubeere ku ffe, ne ku baana baffe.”
26
Awo Piraato n'abasumululira Balaba, naye Yesu n'amukuba enkoba n'alyoka amuwaayo okukomererwa.
27
Awo basserikale b'owessaza ne batwala Yesu mu kigango eky'emisango, ne bamukuŋŋaanyizaako ekitongole kyonna.
28
Ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza olugoye olumyufu.
29
Ne baluka engule ey'amaggwa, ne bagissa ku mutwe gwe, ne bamukwasa n'olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo; ne bafukamira mu maaso ge, ne bamuduulira, nga bagamba nti, “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!”
30
Ne bamuwandira amalusu, ne batoola olumuli luli ne bamukuba mu mutwe.
31
Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu olugoye luli olumyufu, ne bamwambaza ebyambalo bye, ne bamutwala okumukomerera.
32
Awo bwe baali bafuluma, ne basisinkana omusajja Omukuleene, erinnya lye Simooni; ne bamuwaliriza oyo yeetikke omusalaba gwa Yesu.
33
Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo kifo kya kiwanga,
34
ne bawa Yesu omwenge okunywa ogutabuddwamu omususa; naye bwe yalegako, n'atayagala kunywa.
35
Bwe baamala okumukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu;
36
ne batuula awo ne bamukuuma.
37
Ne bassa waggulu ku mutwe gwe omusango ogumuvunaanibwa, nga guwandiikiddwa nti, “ONO YE YESU KABAKA W'ABAYUDAAYA.”
38
Awo abanyazi babiri (2) ne bakomererwa naye, omu ku mukono ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono.
39
N'abantu abaali bayitawo ne bamuvuma, nga banyeenya emitwe gyabwe,
40
nga bagamba nti, “Ggwe amenya Yeekaalu, n'ogizimbira ennaku essatu (3), weerokole! oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musalaba okke.”
41
Bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde ne baduula bwe batyo, nga bagamba nti,
42
“ Yalokolanga balala; tayinza kwerokola yekka. Ye Kabaka wa Isiraeri; ave kaakano ku musalaba, naffe tunaamukkiriza.”
43
“Yeesiga Katonda; amulokole kaakano, oba amwagala, kubanga yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ”
44
Abanyazi abaakomererwa naye era nabo ne bamuvuma bwe batyo.
45
Awo okuva ku ssaawa ey'omukaaga kyali kizikiza ku nsi yonna okutuuka ku ssaawa ey'omwenda.
46
Obudde bwe bwatuuka ng'essaawa ey'omwenda Yesu n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba nti, “Eri, Eri, lama sabakusaani?” Amakulu gaakyo nti, “Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?”
47
Abamu ku baali bayimiridde awo, bwe baawulira, ne bagamba nti, “Omusajja ono ayita Eriya.”
48
Amangwago munnaabwe omu n'adduka, n'atoola ekisuumwa, n'akijjuza omwenge omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amunywesa.
49
Naye abalala ne bagamba nti, “Leka tulabe oba nga Eriya anajja okumulokola.”
50
Naye Yesu n'ayogerera nate waggulu n'eddoboozi ddene, n'ata omwoyo gwe.
51
Laba, olutimbe olwali mu Yeekaalu ne luyulikamu wabiri okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana; enjazi ne zaatika;
52
entaana ne zibikkuka; emirambo mingi egy'abatukuvu abaali beebase ne gizuukizibwa;
53
ne bava mu ntaana. Yesu bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu kibuga ekitukuvu, abantu bangi ne ba balaba.
54
Naye omwami w'ekitongole, na bali abaali naye nga bakuuma Yesu, bwe baalaba ekikankano, n'ebigambo ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti, “Mazima ono abadde Mwana wa Katonda!”
55
Waaliwo n'abakazi bangi abaayitanga ne Yesu okuva e Ggaliraaya, era abaamuweerezanga abaayimirira ewalako nga balengera;
56
mu abo mwalimu Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo ne Yose, ne nnyina w'abaana ba Zebbedaayo.
57
Naye obudde bwali buwungeera, omusajja omugagga, eyava Alimasaya, erinnya lye Yusufu najja, era naye yali muyigirizwa wa Yesu.
58
Oyo n'agenda eri Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. Awo Piraato n'alagira okugumuwa.
59
Yusufu n'atwala omulambo, n'aguzinga mu bafuta enjeru,
60
n'aguteeka mu ntaana ye empya, gye yasima mu lwazi; n'ayiringisa ejjinja ddene n'alissa ku mulyango gw'entaana, n'agenda.
61
Malyamu Magudaleene, ne Malyamu omulala, baali nga batudde awo mu maaso g'entaana.
62
Naye enkeera, lwe lunaku olwaddirira olw'okuteekateeka, bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋaanira ewa Piraato,
63
ne bagamba nti, “Omwami, tujjukidde omulimba oyo ng'akyali mulamu, yagamba nti, ‘Ennaku bwe ziriyitawo essatu ndizuukira.’
64
Kale nno lagira bakuumire ddala entaana okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kujja kumubbamu, bagambe abantu nti, ‘Azuukidde mu bafu,’ era okukyama okw'oluvannyuma kulisinga kuli okwasooka.”
65
Piraato n'abagamba nti, “Mulina abakuumi; mugende, mugakuumire ddala nga bwe muyinza.”
66
Nabo ne bagenda, ne bagakuumira ddala entaana, ejjinja ne balissaako akabonero, ne balekawo abakuumi.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28