bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 6
Matthew 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 7 →
1
“Mwekuume obutakoleranga bikolwa byammwe eby'obutuukirivu mu maaso g'abantu balyoke babalabe; kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temuuweebwenga mpeera okuva eri Kitammwe ali mu ggulu.”
2
Kale, bw'ogabiranga abaavu, teweefuuyiranga ŋŋombe mu maaso go, ng'abannanfuusi bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti baba bamaze okuweebwa empeera yaabwe.
3
Naye ggwe bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo kye gukola,
4
okugaba kwo kubeerenga kwa kyama; kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.
5
Era bwe musabanga, temubanga nga bannanfuusi; kubanga baagala okusaba nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g'enguudo, era abantu babalabe. Mazima mbagamba nti Bamaze abo okuweebwa empeera yaabwe.
6
Naye ggwe bw'osabanga, yingiranga mu kisenge kyo munda, omalenga okuggalawo oluggi, olyoke osabe Kitaawo ali mu kyama, kale Kitaawo alaba mu kyama, alikuwa empeera.
7
Nammwe bwe musabanga, temudiŋŋananga mu bigambo, ng'ab'amawanga bwe bakola; kubanga balowooza nga banaawulirwa olw'ebigambo byabwe ebingi.
8
Kale, temufaanananga nga bo, kubanga Kitammwe amanyi bye mwetaaga nga temunnaba kumusaba.
9
Kale, musabenga bwe muti, nti, “Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe.
10
Obwakabaka bwo bujje. By'oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.
11
Otuwe leero emmere yaffe eya leero.
12
Otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatwewolako.
13
Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole mu bibi. [Kubanga obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, bibyo, emirembe n'emirembe, Amiina.”]
14
“Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, nammwe Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga.
15
Naye bwe mutaasonyiwenga bantu byonoono byabwe, ne Kitammwe taasonyiwenga byonoono byammwe.”
16
Nate bwe musiibanga, temubeeranga nga bannanfuusi, abalina amaaso ag'ennaku; kubanga beeyonoona mu ndabika yaabwe, abantu balyoke babalabe nga basiiba. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe.
17
Naye ggwe bw'osiibanga, osaabanga amafuta ku mutwe, onaabanga ne mu maaso;
18
abantu balemenga okulaba ng'osiiba, wabula Kitaawo ali mu kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.
19
Temweterekeranga bintu ku nsi, kwe byonoonekera n'ennyenje n'obutalagge, n'ababbi kwe basimira ne babba,
20
naye mweterekeranga ebintu mu ggulu, gye bitayonoonekera n'ennyenje newakubadde obutalagge, so n'ababbi gye batasimira, so gye batabbira.
21
Kubanga ebintu byo gye bibeera, omutima gwo nagwo gye gubeera.
22
“Ettabaaza y'omubiri lye liiso, eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'okutangaala.
23
Naye eriiso lyo bwe litaba ddamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'ekizikiza. Kale okutangaala okuli munda mu ggwe bwe kubeera ekizikiza, ekizikiza ekyo kiryenkana wa obunene!”
24
Tewali muntu ayinza kuweereza baami babiri; kuba oba anaakyawanga omu, n'ayagalanga omulala; oba anaanywereranga ku omu, n'anyoomanga omulala. Temuyinza kuweereza Katonda ne mamona.
25
Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti mulirya ki, mulinywa ki; newakubadde omubiri gwammwe, nti mulyambala ki. Obulamu tebusinga mmere, n'omubiri tegusinga byakwambala?
26
Mulabe ennyonyi ez'omu bbanga, nga tezisiga, so tezikungula, tezikuŋŋaanyiza mu mawanika; era Kitammwe ali mu ggulu aziriisa ezo. Mmwe temusinga nnyo ezo?
27
Ani mu mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okweyongerako ku bukulu bwe n'akaseera akamu?
28
Naye ekibeeraliikiriza ki eby'okwambala? Mutunuulire amalanga ag'omu ttale, bwe gamera; tegakola mulimu, so tegalanga lugoye;
29
naye mbagamba nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go.
30
Naye Katonda bw'ayambaza bw'atyo omuddo ogw'omu ttale, oguliwo leero, ne jjo bagusuula mu kyoto, talisinga nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono?
31
Kale temweraliikiriranga nga mwogera nti Tulirya ki? Oba tulinywa ki? Oba tulyambala ki?
32
Kubanga ebyo byonna amawanga bye ganoonya; kubanga Kitammwe ali mu ggulu amanyi nga mwetaaga ebyo byonna.
33
Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n'obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako.
34
Kale temweraliikiriranga bya jjo, kubanga olunaku olwa jjo lulyeraliikirira ebyalwo. Olunaku olumu ekibi kyalwo kirumala.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28