bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 2
Matthew 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 3 →
1
Awo Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu eky'e Buyudaaya ku mirembe gya Kerode kabaka, laba, abasajja abagezigezi abaava ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi,
2
ne babuuza nti, “Kabaka w'Abayudaaya azaaliddwa ali ludda wa? Kubanga twalaba emmunyeenye ye mu buvanjuba, ne tujja okumusinza.”
3
Kerode kabaka bwe yawulira ne yeeraliikirira, era n'ab'e Yerusaalemi bonna.
4
N'akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna, n'abawandiisi ab'abantu, n'ababuuza Kristo gye yali agenda okuzaalirwa.
5
Nabo ne bamugamba nti, “Mu Besirekemu eky'e Buyudaaya,” kubanga bwe kyawandiikibwa nnabbi bwe kityo nti,
6
Naawe Besirekemu, mu nsi ya Yuda, Toli mutono mu balangira ba Yuda; Kubanga afuga aliva mu ggwe, Alirunda abantu bange Isiraeri.
7
Awo Kerode n'ayita abagezigezi kyama, n'ababuuliriza nnyo ebiro emmunyeenye bye yaakamala okuva lw'eyalabika.
8
N'abasindika e Besirekemu, n'abagamba nti, “Mugende, munoonye nnyo, mulabe omwana bw'afaanana; naye bwe mumulabanga, ne mujja mumbuulira nange ndyoke ŋŋende mmusinze.”
9
Bwe baamala okuwulira ebya kabaka, ne bagenda; laba ne baddamu okulaba emmunyeenye eyo, gye baalabira ebuvanjuba, n'ebakulembera, okutuusa lwe yajja n'eyimirira waggulu w'ekifo awaali omwana.
10
Bwe baalaba emmunyeenye, ne basanyuka essanyu lingi nnyo nnyini.
11
Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng'ali ne Malyamu nnyina; ne bavuunama, ne basinza omwana; ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo bya zaabu, n'obubaane, n'omugavu.
12
Katonda bwe yabalabulira mu kirooto baleme okuddayo eri Kerode, ne bakwata ekkubo eddala, ne baddayo ewaabwe.
13
Laba, bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto, n'amugamba nti, “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri obeere eyo okutuusa nze lwe ndikugamba, kubanga Kerode ajja okunoonya omwana okumutta.”
14
Awo Yusufu n'azuukuka, n'atwala omwana ne nnyina ekiro, n'agenda e Misiri;
15
n'abeera eyo, okutuusa Kerode bwe yafa; ekigambo kituukirire Mukama kye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti, “Nnayita omwana wange okuva mu Misiri.”
16
Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamwefulidde, n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaali bawezezza emyaka ebiri n'abatannagituusa, okusinziira ku biro bwe byali bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi.
17
Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira, bwe yagamba nti,
18
“Eddoboozi lyawulirwa mu Laama, Okukaaba n'okukuba ebiwoobe ebingi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; So tayagala kukubagizibwa, kubanga tebakyaliwo.”
19
Naye Kerode bwe yamala okufa, laba, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri,
20
n'agamba nti, “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, ogende mu nsi ya Isiraeri, kubanga abaali banoonya omwana okumutta bafudde.”
21
Awo Yusufu n'agolokoka, n'atwala omwana ne nnyina, n'agenda mu nsi ya Isiraeri.
22
Naye bwe yawulira nti Alukerawo ye kabaka w'e Buyudaaya ng'asikidde kitaawe Kerode, n'atya okuddayo. Awo Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, ne yeekooloobya, n'agenda mu kitundu ky'e Ggaliraaya.
23
N'ajja n'abeera mu kyalo erinnya lyakyo Nazaaleesi, ekigambo bannabbi kye baayogera kituukirire nti, “Aliyitibwa Munazaalaayo.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28