bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 23
Matthew 23
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 24 →
1
Awo Yesu n'ayogera n'ebibiina awamu n'abayigirizwa be,
2
n'agamba nti, “Abawandiisi n'Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa;
3
kale ebigambo byonna bye babagamba, mubikwate mubikole, naye temukola nga bo bwe bakola; kubanga boogera naye tebakola.
4
Era basiba emigugu egizitowa egiteetikkika, bagitikka abantu ku kibegabega; sso nga bo bennyini tebaagala wadde okuginyenyako n'engalo yaabwe.
5
Naye ebikolwa byabwe byonna babikola, era abantu babirabe, kubanga bagaziya fulakuteri zaabwe, era bongerako n'amatanvuuwa gaabwe,
6
era baagala ebifo eby'oku mwanjo ku mbaga, n'entebe ez'ekitiibwa mu makuŋŋaaniro,
7
era baagala n'okulamusibwa mu butale, n'abantu okubayita nti Labbi.
8
Naye mmwe temuyitibwanga Labbi, kubanga, Omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda.
9
Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe, kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu.
10
So temuyitibwanga balagirizi, kubanga omulagirizi wammwe ali omu, ye Kristo.
11
Naye mu mmwe abasinga obukulu anaabanga muweereza wammwe.
12
Na buli aneegulumizanga alitoowazibwa; na buli eyeetoowaza anaagulumizibwanga.”
13
“Naye ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muggalira obwakabaka obw'omu ggulu mu maaso g'abantu; kubanga mmwe temuyingira, n'abo ababa bayingira temubaganya kuyingira.”
14
“Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! Kubanga munyaga ennyumba za bannamwandu, era ne mwefuula abasaba ennyo; n'olwekyo mulibaako omusango ogusinga obunene.”
15
“Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga mwetooloola mu nnyanja ne ku lukalu okukyusa omuntu omu, abe omugoberezi wammwe naye bwe mumala okumukyusa, mumufuula mwana wa Ggeyeena emirundi ebiri okusinga mmwe.”
16
“Ziribasanga mmwe, abasaale abazibe b'amaaso, abagamba nti Buli anaalayiranga Yeekaalu, taba na musango; naye buli anaalayiranga ezaabu ey'omu Yeekaalu, ng'azzizza omusango.
17
Mmwe abasiru era abazibe b'amaaso; kubanga ekisinga obukulu kiruwa, ezaabu, oba Yeekaalu efuula zaabu eyo okuba entukuvu?
18
Era mugamba nti Omuntu bw'anaalayiranga ekyoto, nga talina musango; naye buli anaalayiranga ekitone ekikiriko, ng'azzizza omusango.
19
Mmwe abazibe b'amaaso! kubanga ekisinga obukulu kiruwa, ekitone, oba ekyoto ekitukuza ekitone?
20
Naye alayira ekyoto, alayira kyo ne byonna ebikiriko.
21
Naye alayira Yeekaalu, alayira yo, era n'oyo agituulamu.
22
N'oyo alayira eggulu, aba alayidde ntebe ya Katonda, ne Katonda agituulako.”
23
“Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira ne aneta ne kkumino, ne mulekayo ebigambo ebikulu eby'amateeka, okubeera abenkanya, ekisa, n'okukkiriza; naye bino kyabagwanira okubikola, era na biri obutabirekaayo.
24
Mmwe abasaale abazibe b'amaaso abasengejja ensiri, naye ne mumira eŋŋamira.”
25
“Ziribasanga mmwe abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga munaaza kungulu ku kikompe n'ekibya, naye munda mujjudde obunyazi n'obuteegendereza.
26
Ggwe Omufalisaayo omuzibe w'amaaso, sooka onaaze munda mu kikompe ne mu kibya, ne kungulu kwabyo kulyoke kube kulungi.”
27
“Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga mufaanana amalaalo agasiigibwa langi enjeru ne gatukula, agalabika kungulu nga ganyiridde, naye munda mujjudde amagumba g'abafu, n'empitambi yonna.
28
Bwe mutyo nammwe kungulu mulabika mu bantu nga muli batuukirivu, naye munda mujjudde obunnanfuusi n'obujeemu.”
29
“Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, era munyiriza ebiggya by'abatuukirivu,
30
ne mugamba nti Singa twaliwo mu biro bya bajjajjaffe, tetwandissizza kimu nabo mu kuyiwa omusaayi gwa bannabbi.
31
Bwe mutyo ne mukakasa mwekka nti muli baana b'abo abatta bannabbi.
32
Kale mumalirize bajjajjammwe kye baatandika.
33
Mmwe emisota, abaana b'embalasaasa, mulidduka mutya omusango ogwa Ggeyeena?
34
Laba, kyenva mbatumira bannabbi, n'ab'amagezi, n'abawandiisi, n'abamu ku bo mulibatta mulibakomerera; n'abalala mulibakubira emiggo mu makuŋŋaaniro gammwe, mulibayigganya okubaggya mu kibuga ekimu okubazza mu kirala;
35
mulyoke mubuuzibwe omusaayi gwonna ogw'abatuukirivu ogwayiika ku nsi, okusookera ku musaayi gwa Abiri oyo omutuukirivu okutuusa ku musaayi gwa Zaakaliya omwana wa Balakiya, gwe mwattira wakati wa Yeekaalu n'ekyoto.
36
Mazima mbagamba nti Ebigambo bino byonna birituukirira eri abantu ab'emirembe gino.”
37
“Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akasuukirira amayinja abantu abatumibwa gy'ali! emirundi emeka gye nnayagalira ddala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo munda w'ebiwaawaatiro byayo, naye ne mutayagala!
38
Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa.
39
Kubanga mbagamba nti Okusooka leero temulindabako n'akatono, okutuusa lwe mulyogera nti Aweebwe omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.”
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28