bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 12
Matthew 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 13 →
1
Awo mu biro ebyo Yesu n'ayita mu nnimiro y'eŋŋaano ku ssabbiiti; abayigirizwa be ne balumwa enjala, ne batandika okunoga ebirimba by'eŋŋaano, ne balya.
2
Naye Abafalisaayo bwe baalaba, ne bamugamba nti, “Laba, abayigirizwa bo bakola eky'omuzizo ekitakkirizibwa kukolerwa ku ssabbiiti.”
3
Naye Yesu n'abagamba nti, “Temusomangako Dawudi kye yakola, bwe yalumwa enjala, ne be yali nabo;
4
bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya emigaati egy'okulaga egyali egy'omuzizo ye okugirya, newakubadde be yali nabo, wabula bakabona bokka?
5
Nantiki temusomanga mu mateeka nti, ku Ssabbiiti, mu Yeekaalu, bakabona baasobya ssabbiiti, so ne batazza musango?
6
Naye mbagamba nti ali wano asinga Yeekaalu obukulu.
7
Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti Njagala ekisa, so si ssaddaaka, temwandinenyezza abatazzizza musango.
8
Kubanga Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti.”
9
Awo Yesu n'avaayo, n'ajja mu kkuŋŋaaniro lyabwe;
10
era, laba, mwalimu omuntu eyalina omukono ogukaze, ne bamubuuza, nga bagamba nti, Kirungi okuwonyeza omuntu ku ssabbiiti?
11
Yesu n'abaddamu nti, “Ani mu mmwe, bw'aliba n'endiga ye emu, n'emala egwa mu bunnya ku ssabbiiti, ataligikwata n'agiggyamu?
12
Omuntu tasinga nnyo ndiga? Kale kirungi okukola obulungi ku ssabbiiti.”
13
N'alyoka agamba omuntu oyo nti, “Golola omukono gwo.” N'agugolola; ne guwona, ne guba ng'ogwokubiri.
14
Naye Abafalisaayo ne bafuluma, ne bamwekobaana bwe banaamuzikiriza.
15
Yesu bwe yategeera n'avaayo, abantu bangi ne bagenda naye; n'abawonya bonna,
16
n'abakomako baleme okumwatuukiriza.
17
Kino kituukirize ekyayogererwa mu Isaaya nnabbi nti,
18
“Laba omuweereza wange gwe nnalondamu; Gwe njagala, asanyusa emmeeme yange. Ndimuteekako Omwoyo gwange, Alibuulira amawanga eby'obwenkanya.
19
Taliyomba, so talireekaana; So tewaliba muntu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo.
20
Olumuli olwatifu talirumenya, So n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza, Okutuusa lw'alireetera obwenkanya okuwangula;
21
era mu linnya lye amawanga gonna mwe galisuubirira.”
22
Awo ne baleetera Yesu omuntu aliko dayimooni, ng'azibye amaaso n'omumwa, n'amuwonya, oyo eyali azibye omumwa n'ayogera, era n'alaba.
23
Ebibiina byonna ne bisamaalirira, ne byogera nti, “Ono ayinza okuba nga ye mwana wa Dawudi?”
24
Naye Abafalisaayo bwe baawulira, ne boogera nti, “Oyo tagoba dayimooni, nga akozesa obuyinza obulala bwonna wabula obwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.”
25
Yesu bwe yamanya okulowooza kwabwe n'abagamba nti, “Buli bwakabaka bwe bwawukanamu bwokka na bwokka buzikirira; na buli kibuga oba nnyumba bw'eyawukana yokka na yokka erisasika;
26
ne Setaani bw'agoba Setaani aba ayawukanye yekka na yekka; n'obwakabaka bwe bulisigalawo butya?
27
Oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? Kale abo be balibasalira omusango.
28
Naye oba nga nze ngoba dayimooni ku bw'Omwoyo gwa Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde.
29
Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nju y'omuntu ow'amaanyi, n'anyaga ebintu bye, wabula ng'asoose kusiba ow'amaanyi oli? N'alyoka anyaga enju ye.
30
Omuntu atabeera nange mulabe wange; era omuntu atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.
31
Kyenva mbagamba nti Abantu balisonyiyibwa buli kibi n'eky'okuvvoola, naye okuvvoola Omwoyo tekulisonyiyika.
32
Buli muntu alivvoola Omwana w'omuntu alisonyiyibwa; naye buli muntu alivvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa, newakubadde mu mirembe egya kaakano, newakubadde mu mirembe egigenda okujja.”
33
“Mufuule omuti okuba omulungi, n'ebibala byagwo bibe birungi; oba mufuule omuti omubi, n'ebibala byagwo bibe bibi; kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo.
34
Mmwe abaana b'emisota, muyinza mutya okwogera ebigambo ebirungi nga muli babi? Kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.
35
Omuntu omulungi ebirungi abiggya mu tterekero lye eddungi, n'omuntu omubi ebibi abiggya mu tterekero lye ebbi.
36
Era mbagamba nti Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw'omusango.
37
Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, n'ebigambo byo bye birikusinzisa omusango.”
38
Awo abawandiisi abalala n'Abafalisaayo ne bamuddamu ne bagamba nti, “Omuyigiriza, twagala tulabe akabonero akava gyoli.”
39
Naye Yesu, n'addamu n'abagamba nti, “Ab'emirembe gino emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; so tebaliweebwa kabonero wabula akabonero ka nnabbi Yona.
40
Kuba nga Yona bwe yamala ennaku essatu (3), emisana n'ekiro, mu lubuto lwa lukwata; bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'alimala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu mutima gw'ettaka.
41
Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era balibasinzisa omusango; kubanga Yona bwe yababuulira ne beenenya; era, laba, asinga Yona ali wano.
42
Kabaka omukazi ow'omu bukiikaddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era alibasinzisa omusango; kubanga yava ku nkomerero y'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano.”
43
“Naye omwoyo omubi bwava ku muntu, atambula mu nsenyi enkalu, nga anoonya aw'okuwummulira, naye n'abulwa.
44
Kale agamba nti, ‘N'addayo mu nnyumba yange mwe nnava;’ bw'atuukamu, agiraba nga njereere, enyiridde, era ng'erongoosebbwa.
45
Awo agenda, n'aleeterako dayimooni abalala musanvu abamusinga obubi, nabo bwe bayingira babeera omwo; n'eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo birisinga obubi eby'olubereberye. Bwe kiriba bwe kityo eri abantu ab'emirembe gino emibi.”
46
Yesu bwe yali ng'akyayogera n'ebibiina, laba, nnyina ne baganda be baali bayimiridde ebweru, nga baagala kwogera naye.
47
Omuntu omu n'amugamba nti, “Laba, nnyoko ne baganda bo bayimiridde ebweru, baagala kwogera naawe.”
48
Naye Yesu n'addamu n'agamba oyo amubuulidde nti, “Ani mmange? Era be baani baganda bange?”
49
N'agolola omukono ggwe eri abayigirizwa be, n'agamba nti, “Laba, mmange ne baganda bange!
50
Kubanga buli akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala, ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28