bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 17
Matthew 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 18 →
1
Ennaku omukaaga (6) bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero, n'ab'oluganda Yakobo ne Yokaana, n'abakulembera ne balinnya ku lusozi oluwanvu bokka.
2
Awo n'afuusibwa mu maaso gaabwe, amaaso ge ne gamasamasa ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omuzira.
3
Laba, Musa ne Eriya ne babalabikira nga boogera naye.
4
Peetero n'agamba Yesu nti, “Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano; bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu (3), emu yiyo, n'endala ya Musa, n'endala ya Eriya.”
5
Bwe yali ng'akyayogera, laba, ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza, era, eddoboozi ne liva mu kire, nga ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire.”
6
Abayigirizwa bwe baaliwulira, ne batya nnyo, ne bagwa wansi nga beevuunise.
7
Awo Yesu n'ajja we bali, n'abakwatako, n'agamba nti, “Muyimuke, temutya.”
8
Bwe bayimusa amaaso gaabwe, ne batalaba muntu mulala, wabula Yesu yekka.
9
Bwe baali nga bakka okuva ku lusozi, Yesu n'abalagira ng'agamba nti, “Temubuulirako muntu yenna bye mwolesebbwa, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alimala okuzuukira mu bafu.”
10
Abayigirizwa be ne bamubuuza, nti, “Kale kiki ekigambya abawandiisi nti Eriya kimugwanidde okusooka okujja?”
11
Yesu n'abaddamu n'abagamba nti, “Kituufu Eriya ajja ddala, era alirongoosa byonna;
12
naye mbagamba nti Eriya amaze okujja, nabo tebaamumanya, naye baamukola nga bwe baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'omuntu naye balimubonyaabonya.”
13
Awo abayigirizwa ne bategeera nti yali ayogera nabo ku Yokaana Omubatiza.
14
Bwe baatuuka awali ekibiina ky'abantu, omuntu n'ajja awali Yesu, n'amufukaamirira, ng'agamba nti,
15
“Mukama wange, saasira omwana wange, kubanga agwa ensimbu, zimubonyabonya nnyo; emirundi mingi ng'agwa mu muliro, era emirundi mingi agwa mu mazzi.
16
N'amuleetedde abayigirizwa bo, ne batayinza kumuwonya.”
17
Yesu n'abaddamu nti, “Mmwe ab'emirembe egitakkiriza emikyamu, ndituusa wa okubeera nammwe? Ndituusa wa okubagumiikiriza? Mumundeetere wano.”
18
Awo Yesu n'amuboggolera; dayimooni n'amuvaako, omulenzi n'awona okuva mu kiseera ekyo.
19
Awo abayigirizwa ne bajja eri Yesu kyama, ne bamubuuza nti, “Kiki ffe ekyatulobedde okumugoba?”
20
Yesu n'abagamba nti, “Olw'okukkiriza kwammwe okuba okutono; kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; era tewali kigambo kye mutaliyinza.
21
Naye kyokka eky'engeri eno tekiyinza kuvaawo awatali kusaba na kusiiba.”
22
Bwe baali nga bakyatudde e Ggaliraaya, Yesu n'abagamba nti, “Omwana w'omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu;
23
balimutta, ne ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Abayigirizwa ne banakuwala nnyo.
24
Bwe baatuuka e Kaperunawumu, abantu abasolooza ediderakima ne bajja eri Peetero, ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa diderakima?”
25
N'abaddamu nti, “Awa.” Bwe yayingira mu nju, Yesu n'amwesooka ng'agamba nti, “Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi bawooza oba basolooza ku bantu ki? Ku baana baabwe nantiki ku bannamawanga?”
26
Peetero n'addamu nti, “Ku bannamawanga.” Yesu n'amugamba nti, “Kale abaana ba ddembe.”
27
“Naye, tuleme okubesittaza, genda mu nnyanja, osuule eddobo, onnyulule ekyennyanja ekinaasooka okubbulukuka; bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoolabamu esutateri; otwale eyo, ogibawe ku lwange ne ku lulwo.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28