bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 18
Matthew 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 19 →
1
Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Kale ani omukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu?”
2
Awo Yesu n'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza wakati waabwe,
3
n'agamba nti, “Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka ne mufuuka ng'abaana abato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.
4
Kale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu.
5
Na buli alisembeza omwana omuto omu ng'ono mu linnya lyange ng'asembezezza nze.”
6
“Naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza, waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja.
7
Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza!
8
Oba ng'omukono gwo oba kugulu kwo nga kukwesittaza, kutemeko, okusuule wala; kye kirungi oyingire mu bulamu ng'obuzeeko omukono oba kugulu, okusinga okusuulibwa mu muliro ogw'emirembe n'emirembe, ng'olina emikono gyombi oba amagulu gombi.
9
Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala; kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi.
10
Mulabe nga temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu.
11
Kubanga Omwana w'omuntu yajja okulokola ekyabula.”
12
“Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi (100), emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda (99), n'agenda ku nsozi, n'anoonya eyo ebuzeeko?
13
Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda (99) ezitaabuze.
14
Bwe kityo, si kigendererwa kya Kitange ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.”
15
Muganda wo bw'akukola obubi, genda omubuulirire ggwe naye mwekka; bw'akuwulira, ng'ofunye muganda wo.
16
Naye bw'atakuwulira, twala omuntu omu omulala oba babiri, era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba abasatu buli kigambo kikakasibwa.
17
Era bw'agaana okuwulira abo, buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza.
18
Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mu ggulu, era byonna bye mulisumulula ku nsi birisumululibwa mu ggulu.
19
Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu.
20
Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe.
21
Awo Peetero n'ajja awali Yesu, n'amubuuza nti, “Mukama wange, muganda wange bw'annyonoonanga, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? Okutuusa emirundi musanvu?”
22
Yesu n'amuddamu nti, “Sikugamba nti Okutuusa emirundi musanvu, naye nti Okutuusa emirundi ensanvu (70) emirundi omusanvu (7).
23
Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaananyizibwa n'omuntu eyali kabaka, eyayagala okubala omuwendo gw'ebintu bye, n'abaddu be.
24
Bwe yasooka okubala, ne bamuleetera omu, gw'abanja ettalanta omutwalo gumu (10,000).
25
Naye kubanga teyalina kya kusasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'ebintu byonna by'ali nabyo, ebbanja lisasulwe.
26
Awo omuddu n'agwa wansi n'amusinza, ng'agamba nti, ‘Mukama wange, mmanja mpola, nange ndikusasula byonna.’
27
Mukama w'omuddu oyo n'amusaasira, n'amuta, n'amusonyiwa ebbanja.
28
Naye omuddu oyo n'afuluma, n'asanga muddu munne, gwe yali abanja eddinaali ekikumi (100), n'amukwata, n'amugwa mu bulago, ng'agamba nti, ‘Sasula ebbanja lyange.’
29
Awo muddu munne n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'agamba, nti, ‘Mmanja mpola, nange ndikusasula.’
30
N'atakkiriza naye n'agenda n'amuteeka mu kkomera, amale okusasula ebbanja.
31
Awo baddu banne bwe baalaba bwe bibadde, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebigambo byonna ebibaddewo.
32
Awo mukama we n'amuyita n'amugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi, nakusonyiwa ebbanja liri lyonna, kubanga wanneegayirira;
33
naawe tekikugwanidde kusaasira muddu munno, nga nze bwe nnakusaasira ggwe?’
34
Mukama we n'asunguwala, n'amukwasa abambowa, amale okusasula ebbanja lyonna.
35
Bw'atyo ne Kitange ali mu ggulu bw'alibakola mmwe, singa buli muntu tasonyiwa muganda we mu mutima gwe.”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28