bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 26
Matthew 26
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 27 →
1
Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo byonna, n'agamba abayigirizwa be nti,
2
“Mumanyi nti oluvannyuma lw'ennaku bbiri walibaawo Okuyitako, n'Omwana w'omuntu aliweebwayo okukomererwa.”
3
Awo bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bakuŋŋaanira mu kigango kya kabona asinga obukulu, eyayitibwanga Kayaafa;
4
ne bateeseeza wamu okukwata Yesu mu magezi; bamutte.
5
Naye ne bagamba nti, “Tuleme okumukwatira ku lunaku olukulu, abantu baleme okwegugunga.”
6
Awo Yesu bwe yali mu Bessaniya, mu nju ya Simooni omugenge,
7
omukazi n'ajja gy'ali, eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi ennyo, n'agamufuka ku mutwe, ng'atudde alya.
8
Naye abayigirizwa bwe baalaba, ne banyiiga ne bagamba nti, “Gafudde ki gano?
9
Kubanga gano singa gatundiddwa gandivuddemu ensimbi nnyingi, ne zigabirwa abaavu.”
10
Naye Yesu bwe yategeera n'abagamba nti, “Mumunakuwaliza ki omukazi? Kubanga ankoze ekigambo ekirungi.
11
Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; naye nze temuli nange bulijjo.
12
Kubanga bw'afuse amafuta gano ku mubiri gwange, anziraze okunziika.
13
Mazima mbagamba nti Enjiri eno buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.”
14
Awo omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri (12), eyayitibwanga Yuda Isukalyoti, n'agenda eri bakabona abakulu,
15
n'abagamba nti, “Mukkiriza kumpa ki, nange ndimuwaayo gye muli?” Ne bamusasula ebitundu bya ffeeza asatu (30).
16
Okuva mu kiseera ekyo Yuda n'asookera awo okunoonya ebbanga bw'anaamuwaayo.
17
Awo ku lunaku olusooka olw'Embaga eriirwako emigaati egitazimbulukusiddwa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, “Oyagala tuteekereteekere wa Okuyitako gy'on'okuliira?”
18
Yesu n'abagamba nti, “Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti Ekiseera kyange kinaatera okutuuka; ewuwo gye nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange.’ ”
19
Abayigirizwa be ne bakola nga Yesu bw'abalagidde; ne bateekateeka Okuyitako.
20
Awo obudde bwe bwawungeera, Yesu n'atuula okulya n'abayigirizwa ekkumi n'ababiri (12).
21
Baali balya, Yesu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.”
22
Abayigirizwa ne banakuwala nnyo, ne batanula kinnoomu okumubuuza nti, “Mukama wange, ye nze?”
23
Yesu n'addamu n'agamba nti, “Oyo akozezza awamu nange mu kibya, ye anandyamu olukwe.”
24
“Omwana w'omuntu agenda, nga bwe kyamuwandiikibwako; naye zisanze omuntu oyo anaalyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”
25
Yuda, eyamulyamu olukwe, n'addamu n'agamba nti, “Labbi, ye nze?” Yesu n'amugamba nti, “Ggwe oyogedde.”
26
Era baali bakyalya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu; n'awa abayigirizwa, n'agamba nti, “Mutoole, mulye; guno gwe mubiri gwange.”
27
Ate n'atoola ekikompe, ne yeebaza, n'abawa ng'agamba nti, “Munywe ku kino mwenna;
28
kubanga kino gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika ku lw'abangi olw'okuggyawo ebibi.
29
Naye mbagamba nti Sirinywa n'akatono okusooka leero ku guno ogubala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya awamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange.”
30
Bwe baamala okuyimba ne bafuluma okugenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
31
Awo Yesu n'abagamba nti, “Mmwe mwenna muneesittala ku lwange ekiro kino; kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba, n'endiga ez'omu kisibo zirisaasaanyizibwa.’
32
Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.”
33
Naye Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Abalala bonna bwe baneesittala ku lulwo, nze seesittale n'akatono.”
34
Yesu n'amugamba nti, “Mazima nkugamba nti Mu kiro kino, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
35
Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono.” N'abayigirizwa abalala bonna ne boogera bwe batyo.
36
Awo Yesu n'agenda n'abayigirizwa be mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Mutuule wano, nze ŋŋende eri nsabe.”
37
N'atwala Peetero n'abaana ba Zebbedaayo bombi, n'atandika okunakuwala n'okweraliikirira ennyo.
38
Awo n'abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku ya kitalo, egenda kunzita; mubeere wano, mutunule wamu nange.”
39
N'atambulako katono, n'avuunama, n'asaba, n'agamba nti, “Ayi Kitange, oba kiyinzika ekikompe kino kinveeko; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.”
40
N'adda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti, “Kazzi temuyinzizza kutunula nange n'essaawa emu?
41
Mutunule musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa; omwoyo gwo gwagala naye omubiri gwe munafu.”
42
Era n'agenda omulundi ogwokubiri, n'asaba, ng'agamba nti, “Ayi Kitange, oba nga kino tekiyinza kunvaako, wabula nze okukinywa, ky'oyagala kikolebwe.”
43
Awo n'ajja nate n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira.
44
Yesu n'abaleka nate, n'agenda, n'asaba omulundi ogwokusatu, n'ayogera nate ebigambo bimu na biri ebyasooka.
45
Awo n'ajja eri abayigirizwa, n'abagamba nti, “Era mukyebase n'okuwumulira ddala? Mulabe ekiseera kituuse, n'Omwana w'omuntu aweereddwayo mu mikono gy'abalina ebibi.
46
Muyimuke tugende; laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.”
47
Awo Yesu yali akyayogera, laba, Yuda, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri (12), n'ajja ng'alina ekibiina ekinene ekirina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu n'abakadde b'abantu.
48
Naye oyo eyalya mu Yesu olukwe yabawa akabonero, ng'agamba nti, “Omuntu gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate.”
49
Amangwago Yuda n'ajja awali Yesu, n'agamba nti, “Mirembe, Labbi!” N'amunywegera nnyo.
50
Yesu n'amugamba nti, “Munnange, kola ky'ojjiridde.” Awo ne bajja, ne bavumbagira Yesu ne bamukwata ne bamunyweza.
51
Laba, omu ku abo abaali ne Yesu, n'agolola omukono, n'asowola ekitala kye, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu.
52
Awo Yesu n'amugamba nti, “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo; kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.
53
Olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n'ampeereza kaakano bamalayika abasoba mu liigyoni ekkumi n'ebbiri (12)?
54
Kale binaatuukirira bitya ebyawandiikibwa nti kigwanira okuba bwe bityo?”
55
Mu kiseera ekyo Yesu n'agamba ebibiina nti, “Muzze okunkwata nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi? Nnatuulanga buli lunaku mu Yeekaalu nga njigiriza, ne mutankwata.
56
Naye bino byonna bikoleddwa, bannabbi bye baawandiika bituukirizibwe.” Awo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira, ne badduka.
57
Awo bali abaakwata Yesu, ne bamutwala ewa Kayaafa kabona asinga obukulu, abawandiisi n'abakadde gye baali bakuŋŋaanidde.
58
Naye Peetero yagoberera Yesu ng'amuvaako emabega wala, okutuuka mu kigango kya kabona asinga obukulu, n'ayingira munda, n'atuula n'abaweereza, alabe we binakkira.
59
Naye bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulirwa obw'obulimba ku Yesu, balyoke bamutte;
60
ne batabulaba, newakubadde ng'abajulirwa ab'obulimba bangi abajja. Naye oluvannyuma ne wajjawo babiri (2),
61
ne bagamba nti, “Ono yagamba nti, ‘Nnyinza okumenya Yeekaalu ya Katonda, n'okugizimbira ennaku ssatu (3).’”
62
Awo Kabona asinga obukulu n'ayimirira, n'amubuuza nti, “Toyanukula n'akatono? Kigambo ki bano kye bakulumiriza?”
63
Naye Yesu n'asirika. Kabona asinga obukulu n'amugamba nti, “Nkulayiza Katonda omulamu, tubuulire oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”
64
Yesu n'amugamba nti, “Oyogedde, naye mbagamba nti Okusooka leero muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, era ng'ajjira ku bire eby'eggulu.”
65
Awo kabona asinga obukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti, “Avvodde Katonda, twagalira ki nate abajulirwa? Laba, muwulidde kaakano obuvvoozi bwe.
66
Mulowooza mutya?” Ne baddamu ne bagamba nti, “Agwanidde kufa.”
67
Awo ne bamuwandira amalusu mu maaso ge, ne bamukuba ebikonde; abalala ne bamukuba empi,
68
nga bagamba nti, “Tulagule, Kristo, ani akukubye?”
69
Naye Peetero yali atudde bweru mu kigango, omuwala n'ajja gy'ali, n'amugamba nti, “Naawe wali wamu ne Yesu Omugaliraaya.”
70
Naye Peetero ne yeegaanira mu maaso ga bonna, ng'agamba nti, “Ky'ogamba sikimanyi.”
71
Naye bwe yafuluma okutuuka mu kisasi, omuwala omulala n'amulaba n'agamba abantu abaali awo nti, “N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaaleesi.”
72
Peetero ne yeegaana nate, n'alayira nti, “Omuntu oyo simumanyi.”
73
Ne wayitawo ebbanga ttono, abaali bayimiridde awo ne bajja ne bagamba Peetero nti, “Mazima naawe oli munnaabwe; kubanga enjogera yo ekuloopa.”
74
Awo Peetero n'atandika okukolima n'okulayira nti, “Omuntu oyo simumanyi.” Amangwago enkoko n'ekookolima.
75
Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu kye yagamba nti, “Enkoko eneeba tennaba kukookolima ononneegaana emirundi esatu (3).” Awo Peetero n'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28