bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 13
Matthew 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 14 →
1
Ku lunaku olwo Yesu n'afuluma mu nju, n'atuula ku lubalama lw'ennyanja.
2
Ebibiina bingi ne bimukuŋŋaanirako, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atuula mu lyo; ekibiina kyonna ne kiyimirira ku lubalama.
3
N'ayogera nabo bingi mu ngero, ng'agamba nti, “Laba, omusizi yafuluma okusiga;
4
bwe yali ng'asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya.
5
Ensigo endala ne zigwa awali enjazi, awatali ttaka lingi; amangu ago ne zimera, kubanga tezaalina ttaka ggwanvu,
6
enjuba bwe yavaayo, ne ziwotookerera; kubanga tezaalina mmizi, ne zikala.
7
Ensigo endala ne zigwa mu maggwa; amaggwa ne gamera, ne gazizisa.
8
Ensigo endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala emmere, endala kikumi (100), endala nkaaga (60), endala asatu (30).
9
Alina amatu, awulire.”
10
Awo abayigirizwa ne bajja awali Yesu, ne bamubuuza nti, “Kiki ekikwogeza nabo mu ngero?”
11
N'abaddamu n'abagamba nti, “Mmwe muweereddwa okumanya ebigambo eby'ekyama eby'obwakabaka obw'omu ggulu, naye bo tebaweereddwa.
12
Kubanga buli alina, aliweebwa, era alisukkirirawo; naye buli atalina, aliggibwako ne kyali nakyo.
13
Kyenva njogera nabo mu ngero; kubanga batunula, naye tebalaba, bawuliriza, naye tebawulira, era tebategeera.
14
Naye Isaaya bye yalagula bibatuukiriridde, ebyayogera nti,” “ ‘Muliwulira buwulizi, naye temulitegeera;’” “ ‘Muliraba bulabi, naye temulyetegereza.’ ”
15
“‘Kuba omutima gw'abantu bano gusavuwadde,’” “ ‘N'amatu gaabwe gawulira bubi,’” “ ‘N'amaaso gaabwe bagazibye;’” “ ‘Baleme okulaba n'amaaso, n'okuwulira n'amatu,’” “‘N'okutegeera n'omutima,’” “‘N'okukyuka,’” “‘Ne mbawonya.’”
16
“‘Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba; n'amatu gammwe, kubanga gawulira.’”
17
“‘Kubanga mazima mbagamba nti Bannabbi bangi n'abantu abatuukirivu abeegombanga okulaba bye mutunuulira, so tebaabiraba; n'okuwulira bye muwulira, so tebaabiwulira.’”
18
“Kale nno mmwe muwulire amakulu g'olugero lw'omusizi.
19
Buli awulira ekigambo eky'obwakabaka, nga takitegedde, omubi oyo ajja, n'akwakula ekisigiddwa mu mutima gwe. Oyo ye yasigibwa ku mabbali g'ekkubo.
20
N'oyo eyasigibwa awali enjazi, ye oyo awulira ekigambo, amangu ago n'akikkiriza n'essanyu;
21
naye olw'okuba talina mmizi munda mu ye, bw'alwawo akaseera katono; bwe wabaawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago yeesittala.
22
N'oyo eyasigibwa mu maggwa, ye oyo awulira ekigambo; naye okweraliikirira ebintu eby'ensi, n'okulimbibwa eby'obugagga bizisa ekigambo, n'ekitabala.
23
N'oyo eyasigibwa ku ttaka eddungi, ye oyo awulira ekigambo, n'akitegeera; oyo abalira ddala ebibala, omulala aleeta kikumi (100), omulala nkaaga (60), n'omulala asatu (30).”
24
Awo Yesu n'abaleetera olugero olulala n'ayogera nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bufanaanyizibwa n'omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye;
25
naye abantu bwe baali beebase omulabe we n'ajja n'asigamu eŋŋaano ey'omu nsiko mu ŋŋaano ennungi, n'agenda.
26
Naye bwe yameruka, bwe yayanya, n'erabika n'eŋŋaano ey'omu nsiko.
27
Abaddu be ne bajja ne bagamba omwami nti, ‘Ssebo, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Kale yali etya okubaamu eŋŋaano ey'omu nsiko?’
28
N'abagamba nti, ‘Omulabe ye yakola atyo.’ Abaddu ne bamugamba nti, ‘Kale oyagala tugende tugikoolemu?’
29
Naye n'agamba nti, ‘Nedda; mpozzi bwe munaaba mukoolamu eŋŋaano ey'omu nsiko, munaggiramu n'eŋŋaano yennyini.
30
Muleke bikule byombi bituuse amakungula; mu biro eby'amakungula ndigamba abakunguzi nti Musooke mukuŋŋaanye eŋŋaano ey'omu nsiko, mugisibe emiganda eyokebwe, naye eŋŋaano yennyini mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.’ ”
31
Yesu n'abaleetera olugero olulala, ng'agamba nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'akaweke ka kaladaali, omuntu ke yaddira, n'akasiga mu nnimiro ye;
32
akasigo kano ke katono okusinga ensigo zonna; naye bwe kakula, kaba kanene okusinga ebimera byonna, ne kavaamu omuti, n'ennyonyi ez'omu bbanga ne zijja, ne zibeera ku matabi gaagwo.”
33
Yesu n'abagamba olugero olulala nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akissa mu bubbo busatu obw'obutta, n'okuzimbulukuka ne buzimbulukuka bwonna.”
34
Ebigambo ebyo byonna Yesu yabigamba ebibiina mu ngero; naye awatali lugero teyabagamba kigambo kyonna;
35
kituukirire ekyayogererwa mu nnabbi, ng'agamba nti, Ndyasamya akamwa kange mu ngero; Ndireeta ebigambo ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.
36
Awo Yesu n'asiibula ebibiina, n'ayingira mu nju, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Tutegeeze olugero olw'eŋŋaano ey'omunsiko eyali mu nnimiro.”
37
Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Asiga ensigo ennungi ye Mwana w'omuntu;
38
ennimiro ye nsi; ensigo ennungi, abo be baana b'obwakabaka; n'eŋŋaano ey'omu nsiko be baana b'omubi;
39
omulabe eyagisiga ye Setaani; amakungula ye nkomerero y'ensi; n'abakunguzi be bamalayika.
40
Kale ng'eŋŋaano ey'omu nsiko bw'ekuŋŋaanyizibwa n'eyokebwa mu muliro; bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi.
41
Omwana w'omuntu alituma bamalayika be, nabo baliggyamu mu bwakabaka bwe ebintu byonna ebisittaza, n'abo abakola obubi,
42
balibasuula mu kikoomi eky'omuliro; mwe muliba okukaaba amaziga n'okulumwa obujiji.
43
Kale abantu abatuukirivu balimasamasa ng'enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu, awulire.”
44
“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'eky'obugagga ekyakisibwa mu lusuku; omuntu kyeyalaba, n'akikweka; era olw'essanyu n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agula olusuku olwo.”
45
“Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu omusuubuzi anoonya eruulu ennungi,
46
bwe yalaba eruulu emu ey'omuwendo omungi, n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agigula.”
47
“Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ekiragala, kye basuula mu nnyanja, ne kikuŋŋaanya ebyennyanja ebya buli ngeri;
48
bwe kyajjula, ne bakiwalulira ku ttale; ne batuula, ne bakuŋŋaanyiza ebirungi mu nkanga, ebibi ne babisuula.
49
Bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi, bamalayika balijja, balyawulamu abantu ababi mu batuukirivu,
50
balibasuula mu kikoomi eky'omuliro; mwe muliba okukaaba amaziga n'okulumwa obujiji.”
51
“Mubitegedde ebigambo bino byonna?” Ne bamugamba nti, “Weewaawo.”
52
N'abagamba nti, “Buli muwandiisi eyayigirizibwa eby'obwakabaka obw'omu ggulu, kyava afaanana n'omuntu alina ennyumba ye, aggya mu tterekero lye ebintu ebiggya n'ebikadde.”
53
Awo olwatuuka Yesu bwe yamala engero zino, n'avaayo.
54
Bwe yatuuka mu nsi y'ewaabwe n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'okuwuniikirira ne bawuniikirira, ne bagamba nti, “Ono yaggya wa amagezi gano, n'eby'amaanyi bino?
55
Ono si ye mwana w'omubazzi? Nnyina si gwe bayita Malyamu? Ne baganda be Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni, ne Yuda?
56
Ne bannyina bonna tebali waffe? Kale ono yaggya wa ebigambo bino byonna?”
57
Ne bamunyiigira. Naye Yesu n'abagamba nti, “Nnabbi tabulwa kitiibwa, wabula mu nsi y'ewaabwe, ne mu nnyumba y'ewaabwe.”
58
Era teyakolerayo bya magero bingi olw'obutakkiriza bwabwe.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28