bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 5
Matthew 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 6 →
1
Awo Yesu bwe yalaba ebibiina by'abantu, n'alinnya ku lusozi: n'atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja w'ali;
2
n'ayasamya akamwa ke, n'abayigiriza ng'agamba nti:
3
“Balina omukisa abaavu mu mwoyo, kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.”
4
“Balina omukisa abali mu nnaku, kubanga abo balisanyusibwa.”
5
“Balina omukisa abateefu, kubanga abo balisikira ensi.”
6
“Balina omukisa abalumwa enjala n'ennyonta olw'obutuukirivu, kubanga abo balikkusibwa.”
7
“Balina omukisa ab'ekisa, kubanga abo balikwatirwa ekisa.”
8
“Balina omukisa abalina omutima omulongoofu, kubanga abo baliraba Katonda.”
9
“Balina omukisa abakolerera emirembe, kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.”
10
“Balina omukisa abayigganyizibwa olw'obutuukirivu, kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.
11
Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayirizanga buli kigambo kibi, nga babalanga nze.
12
Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga bwe batyo bwe baayigganyanga bannabbi abaasooka mmwe.”
13
“Mmwe muli munnyo gwa nsi; naye omunnyo bwe guggwaamu ensa, balirungamu munnyo nnabaki? Guba tegukyagasa nate, wabula okusuulibwa ebweru, abantu ne bagulinnyirira.
14
Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga bwe kizimbibwa ku lusozi, tekiyinzika kukisibwa.
15
So tebakoleeza ttabaaza okugivuunikira mu kibbo; wabula okugiteeka waggulu ku kikondo kyayo; nayo ebaakira bonna abali mu nju.
16
Kale omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g'abantu, balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu.”
17
“Temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi; sajja kubidibya, wabula okubituukiriza.
18
Kubanga mazima mbagamba nti, eggulu n'ensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakubadde akatonnyeze akamu ak'omu Mateeka tekaliggwaawo, okutuusa byonna lwe birimala okutuukirira.
19
Kale buli anaadibyanga erimu ku mateeka ago wadde erisinga obutono era anaayigirizanga abantu bw'atyo, aliyitibwa mutono mu bwakabaka obw'omu ggulu; naye buli anaagakwatanga era anaagayigirizanga, oyo aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu.
20
Kubanga mbagamba nti obutuukirivu bwammwe bwe butaasingenga butukiruvu bwa bawandiisi n'Abafalisaayo, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.”
21
“Mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti, ‘Tottanga; naye omuntu bw'anattanga, anazzanga omusango.’
22
naye nange mbagamba nti buli muntu asunguwalira muganda we, aba azizza omusango; n'oyo anaagambanga muganda we nti Laka, asaanidde okutwalibwa mu lukiiko, ate anaagambanga muganda nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro gwa Ggeyeena.
23
Kale, bw'obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw'osinzira eyo n'omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo ky'akwemulugunyiza,
24
leka awo ssaddaaka yo mu maaso g'ekyoto, oddeyo, osooke omale okutagabana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo.
25
Tabagananga mangu n'oyo akuwawaabira ng'okyali naye mu kkubo; akuwawaabira alemenga okukutwala eri katikkiro, so ne katikkiro alemenga okukuwa omumbowa, era olemenga okuteekebwa mu kkomera.
26
Mazima nkugamba nti Tolivaamu, okutuusa lw'olimala okukomekkereza okusasula n'eppeesa erisembayo.”
27
“Mwawulira bwe baagambibwa nti, ‘Toyendanga,’
28
naye nange mbagamba mmwe nti buli muntu atunuulira omukazi n'amwegomba, mu mutima gwe ng'amaze okumwendako.
29
Singa eriiso lyo erya ddyo likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala; kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gulisuulibwa mu muliro gwa Ggeyeena.
30
Era singa omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko, ogusuule wala; kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gulisuulibwa mu muliro gwa Ggeyeena.”
31
“Baagambibwa nate nti Omuntu bw'agobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'okumugoba;
32
naye nange mbagamba nti buli muntu anaagobanga mukazi we, wabula ng'amugobye lwa bwenzi, ng'amwenzezza, n'oyo anaawasanga gwe baagoba, ng'ayenze.”
33
“Era mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti, ‘Tolayiranga bya bulimba, naye otuukirizanga eri Mukama ebyo byolayidde;’
34
naye nange mbagamba nti Tolayiranga n'akatono, newakubadde eggulu, kubanga ye ntebe ya Katonda;
35
newakubadde ensi, kubanga ye gy'ateekako ebigere bye; newakubadde Yerusaalemi, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu.
36
So tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza kufuula luviiri lumu oba lweru oba luddugavu.
37
Naye ebigambo byammwe bibeerenga nti Weewaawo, weewaawo; si weewaawo, si weewaawo; naye ebisinga ebyo biva mu mubi.”
38
“Mwawulira bwe baagambibwa nti ‘Eriiso ligattibwenga liiso, n'erinnyo ligattibwenga linnyo,’
39
naye nange mbagamba mmwe nti Temuziyizanga mubi; naye omuntu bw'akukubanga ku luba olwa ddyo, omukyusizanga n'olwa kkono.
40
Omuntu bw'ayagalanga okuwoza naawe okutwala ekkanzu yo, omulekeranga n'ekizibaawo kyo.
41
Omuntu bw'akuwalirizanga okutambula naye mairo emu, tambulanga naye n'ey'okubiri.
42
Akusabanga omuwanga; omuntu bw'ayagalanga okumuwola, tomwegobangako.”
43
“Mwawulira bwe baagambibwa nti, ‘Oyagalanga munno, okyawanga omulabe wo;’
44
naye nange mbagamba mmwe nti Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya;
45
mulyoke mubeerenga abaana bakitammwe ali mu ggulu; kubanga enjuba ye agyakiza ababi n'abalungi, era atonnyeseza enkuba abatuukirivu n'abatali batuukirivu.
46
Kubanga bwe munaayagalanga abo ababaagala, mulina mpeera ki? N'abawooza tebakola bwe batyo?
47
Bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, olwo kye mukoze okusinga abalala ki? N'ab'amawanga tebakola bwe batyo?
48
Kale mmwe mubeerenga batuukirivu, nga Kitammwe ali mu ggulu bw'ali omutuukirivu.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28