bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Matthew 3
Matthew 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 4 →
1
Mu nnaku ezo, Yokaana Omubatiza n'ajja mu ddungu ery'e Buyudaaya, nga abuulira,
2
ng'agamba nti, “Mwenenye; kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.”
3
Kubanga Yokaana oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako, ng'agamba nti, “Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti, Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge.”
4
Naye Yokaana oyo yayambalanga engoye ez'ebyoya by'eŋŋamira, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato; n'emmere ye yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.
5
Awo abantu baavanga e Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna, n'ensi yonna eriraanye Yoludaani, ne bajja gy'ali;
6
n'ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.
7
Naye bwe yalaba Abafalisaayo abangi n'Abasaddukaayo abangi nga bajja gy'ali okubatizibwa, n'abagamba nti, “Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?”
8
Mubale ebibala ebisaanidde okwenenya;
9
muleme kulowooza n'okwogera mu mitima nti, “Tulina Ibulayimu ye jjajjaffe; kubanga mbagamba nti Katonda ayinza mu mayinja gano okufuuliramu Ibulayimu abaana.
10
Naye kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti; buli muti ogutabala bibala birungi gunaatemebwa, gunaasuulibwa mu muliro.
11
Nze mbabatiza n'amazzi olw'okwenenya; naye oyo ajja emabega wange ye ansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze; oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro.
12
Olugali lwe luli mu mukono gwe, naye alirongoosa nnyo egguuliro lye; alikuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika, naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira.”
13
Awo Yesu n'ava e Ggaliraaya, n'atuuka ku mugga Yoludaani eri Yokaana, amubatize.
14
Naye Yokaana yali ayagala okumugaana, ng'agamba nti, “Nze nneetaaga ggwe okumbatiza, naye ate ggwe ojja gye ndi?”
15
Naye Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kkiriza kaakano; kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n'alyoka amukkiriza.
16
Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi; laba, eggulu ne libikkuka, n'alaba Omwoyo gwa Katonda nga gukka ng'ejjiba, nga gujja ku ye;
17
laba, eddoboozi ne liva mu ggulu, nga ligamba nti, “Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28